ABEEBUREEYI 12
12
Katonda Kitaffe
1Kale naffe nga bwe tulina abajulirwa abangi bwe batyo abatwetoolodde, tweyambule buli kintu ekituzitoowerera, era n'ekibi ekitwesibako. Twetabe mu mpaka ez'okudduka ezituteereddwawo, era tudduke nga tuli bagumiikiriza, 2nga tutunuulira Yesu yekka eyatandika era atuukiriza okukkiriza kwaffe. Yesu oyo, olw'essanyu lye yali alindirira, yagumira omusaalaba, n'atatya kuswala. Kaakano atudde ku ludda olwa ddyo olw'entebe ya Katonda.
3Mulowoozenga ku kuwakanyizibwa okwenkana awo, aboonoonyi kwe baamuwakanyaamu, mulyoke mulemenga okukoowa n'okuterebuka. 4Mu kulwanyisa ekibi, temunnalwana kutuuka ku kuyiwa musaayi gwammwe. 5Mwerabidde ebigambo ebibabuulirirwa Katonda ng'ayogera nammwe ng'abaana? Agamba nti:
“Mwana wange,
togayanga kukangavvula kwa Mukama.
Era toddiriranga bw'akunenyanga,#Laba ne Yob 5:17; Nge 3:11-12
6kubanga oyo Mukama gw'ayagala,
amukangavvula,
era abonereza
buli gw'ayita omwana we.”
7Mugumiikirizenga okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng'abaana be. Kale mwana ki kitaawe gw'atakangavvula? 8Naye bwe mutakangavvulwa ng'abalala bwe bakangavvulwa, muba beeboolereze, sso si baana ddala.
9Twalina bakitaffe mu mubiri, abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa. Kale tetulisingawo nnyo okugondera Kitaffe mu mwoyo, ne tuba balamu? 10Bakitaffe abo baatukangavvuliranga ekiseera kitono olw'ebyo bye baayagalanga. Kyokka Katonda atukangavvula olw'okutugasa, tulyoke tugabane ku butukuvu bwe.
11Bwe tuba tukangavvulwa, mu kiseera ekyo okukangavvulwa kufaanana ng'okutaleeta ssanyu wabula obulumi. Naye oluvannyuma, abo abagunjulwa okukangavvulwa okwo, bafuna eddembe n'obutuukirivu.
Okulabula
12Kale muyimuse emikono gyammwe egiragaya, munyweze amaviivi gammwe agajugumira.#Laba ne Yis 35:3 13Mutambulirenga mu makubo amagolokofu, awenyera aleme kulemala, wabula awone.#Laba ne Nge 4:26
14Mufubenga okuba n'emirembe mu bantu bonna, era mufubenga okuba n'obutukuvu, kubanga we butali tewali aliraba Mukama. 15Mwerinde, waleme kubaawo yeefiiriza kisa kya Katonda. Mwerinde, waleme kubaawo bubi busituka mu mmwe, ne bubatabulatabula, era ne bwonoona bangi.#Laba ne Ma 29:18 16Mwerinde, waleme kubaawo mwenzi, oba alulunkanira eby'ensi nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw'olulya olumu.#Laba ne Nta 25:29-34 17Mumanyi nti oluvannyuma, bwe yayagala okufuna omukisa, tegwamuweebwa, kubanga teyafuna ngeri ya kujjulula kye yali akoze, newaakubadde yagusaba ng'akaaba.#Laba ne Nta 27:30-40
Sinaayi ne Siyooni
18Temuzze ng'Abayisirayeli bwe bajja ku Lusozi Sinaayi lwe muyinza okukwatako, era olwaka omuliro. Era temuzze eri ekizikiza ekikutte zzigizigi, ne kibuyaga,#Laba ne Kuv 19:16-22; 20:18-21; Ma 4:11-12; 5:22-27 19n'okuvuga kw'eŋŋombe, n'eddoboozi ly'ebigambo, eryaleetera abaaliwulira okwegayirira baleme kweyongera kuliwulira. 20Tebaasobola kugumira kiragiro ekyabaweebwa, ekigamba nti: “Ne bw'eba nsolo n'etuuka ku lusozi, eteekwa okukubibwa amayinja efe!”#Laba ne Kuv 19:12-13 21Ddala ebyalabibwa byali bya ntiisa nnyo, Musa n'atuuka n'okugamba nti: “Ntidde nnyo, ne nkankana!”#Laba ne Ma 9:19
22Naye mmwe muzze ku Lusozi Siyooni, era mu kibuga kya Katonda Nnannyinibulamu, Yerusaalemu eky'omu ggulu, bamalayika enkumi n'enkumi gye bakuŋŋaanidde. 23Muzze mu lukuŋŋaana olunene olw'abaggulanda abaawandiikibwa mu ggulu. Muzze eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n'eri emyoyo gy'abatukuvu, abaatuukirizibwa. 24Muzze eri Yesu Omutabaganya ow'endagaano empya. Muzze eri omusaayi ogw'okumansira, ogwogera ebirungi okusinga ogwa Abeeli.#Laba ne Nta 4:10
25Mwerinde, muleme kugaana okussaayo omwoyo ku oyo ayogera. Abo abaagaana okuwulira eyabalabula ng'ali ku nsi, tebaawona, n'olwekyo ffe bwe tugaana okuwulira oyo atulabula ng'ali mu ggulu, tetulina we tuliwonera.#Laba ne Kuv 20:22 26Eddoboozi lye lyanyeenya ensi, naye kaakano yasuubiza nti: “Njija kuddamu okukankanya ensi, ku luno si nsi yokka, naye n'eggulu.”#Laba ne Hag 2:6 27Okugamba nti “Njija kuddamu,” kitegeeza nti ebitonde ebinyeenyezebwa biriggyibwawo, olwo ebyo ebitanyeenyezebwa biryoke bisigalewo.
28Kale nga bwe tufuna obwakabaka obutanyeenyezebwa, twebazenga Katonda, era tumusinzenga nga bw'asiima, nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya, 29kubanga Katonda waffe, muliro, ayokya!#Laba ne Ma 4:24
Currently Selected:
ABEEBUREEYI 12: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.