ABEEBUREEYI 13
13
Ebisiimibwa Katonda
1Mwongere okwagalananga ng'abooluganda mu Kristo. 2Temwerabiranga kwaniriza bagenyi, kubanga waliwo abaayaniriza bamalayika nga tebamanyi.#Laba ne Nta 18:1-8; 19:1-3 3Mujjukirenga abasibe, nga muli ng'abaasibirwa awamu nabo. Era mujjukirenga abo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe mulina omubiri.
4Okufumbiriganwa kussibwengamu abantu bonna ekitiibwa, era obufumbo bukuumibwenga nga butukuvu, kubanga abakaba n'abenzi, Katonda alibasalira omusango.
5Mulemenga kuba ba mululu, bye mulina bibamalenga, kubanga Katonda yagamba nti: “Sirikuleka, era sirikwabulira n'akatono”.#Laba ne Ma 31:6,8; Yos 1:5 6Kyetuva twogera n'obwesige nti: “Mukama ye mubeezi wange, siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?”#Laba ne Zab 118:6
7Mujjukire abakulembeze bammwe, abaabategeeza ekigambo kya Katonda. Mwetegereze ebyo bye baayitamu mu bulamu bwabwe, mugoberere okukkiriza kwabwe. 8Yesu Kristo nga bwe yali jjo, bw'ali ne leero, era bw'aliba emirembe n'emirembe. 9Mulemenga kuwubisibwa kuyigiriza okutali kumu, abantu kwe baleetereza. Kirungi okuba n'omutima ogunyweredde ku kisa kya Katonda, sso si ku bulombolombo bwa byakulya, obutagasa abo ababugoberera.
10Tulina alutaari, abo abaweereza mu weema gye batakkirizibwa kuliirako. 11Ssaabakabona atwala omusaayi gw'ensolo mu Kifo Ekitukuvu, n'aguwaayo olw'ebibi, naye zo ne zookerwa ebweru w'olusiisira.#Laba ne Leev 16:27
12Ne Yesu kyeyava abonaabonera ebweru wa wankaaki w'ekibuga, alyoke atukuze abantu n'omusaayi gwe. 13Kale tufulume, tugende gy'ali ebweru w'olusiisira, tuswale wamu naye. 14Kubanga ku nsi kuno tetulinaako kibuga kya lubeerera, wabula tunoonya ekyo ekigenda okujja.
15Kale tuweeyo eri Katonda ekitambiro eky'okumutenda, nga tukiyisa mu Yesu, nga twatula erinnya lye n'emimwa gyaffe. 16Era temwerabiranga okukola obulungi n'okuyambagana. Ebyo bye bitambiro ebisanyusa Katonda.
17Muwulirenga abakulembeze bammwe, era mubagonderenga, kubanga be balabirira emyoyo gyammwe, nga ba kugibuuzibwa. Mubasobozese okukikolanga n'essanyu, sso si na buwaze, kubanga ekyo tekiribaako kye kigasa mmwe.
18Mutusabirenga, kubanga tumanyi nti tulina omwoyo omulungi era twagala okukola obulungi mu buli kimu. 19Era mbeegayirira okunsabiranga ennyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli.
20Kale Katonda ow'emirembe, eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w'endiga omukulu, olw'endagaano eteggwaawo, eyanywezebwa n'omusaayi gwe, 21abawe buli kirungi kyonna, mulyoke mukolenga by'ayagala, Katonda oyo akolere mu ffe by'asiima, ng'abiyisa mu Yesu Kristo, asaanidde okuweebwa ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
22Abooluganda, mbasaba mugumiikirize bye mbabuuliridde, kubanga ebbaluwa eno gye mbawandiikidde, si mpanvu. 23Mbategeeza nti muganda waffe Timoteewo yateebwa. Era bw'alijja amangu, aliba wamu nange lwe ndibalaba mmwe.
24Mulamuse abakulembeze bammwe bonna, n'abantu ba Katonda bonna. Ab'omu Yitaliya babalamusizza.
25Katonda abakwatirwenga ekisa mmwe mwenna. Amiina.
Currently Selected:
ABEEBUREEYI 13: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.