ABEEBUREEYI 11
11
Okukkiriza
1Okukkiriza kitegeeza okukakasa nti ebyo ebisuubirwa tulibifuna, era bwe butabuusabuusa mu ebyo bye tutalaba. 2Okukkiriza, kwe kwaleetera abantu ab'edda okusiimibwa Katonda.
3Okukkiriza, kwe kutusobozesa okutegeera nti ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggyibwa mu bitalabika.#Laba ne Nta 1:1; Zab 33:6,9; Yow 1:3
4Okukkiriza, kwe kwaleetera Abeli okuwaayo eri Katonda ekitambiro ekirungi okusinga ekya Kayini, ne kikakasa nti Abeeli mutuukirivu, kubanga Katonda yasiima ebirabo bye. Era olw'okukkiriza kwe, newaakubadde yafa, akyayogera.#Laba ne Nta 4:3-10
5Okukkiriza, kwe kwaleetera Enoka okutwalibwa eri Katonda, nga tamaze kufa. Era oluvannyuma tewali yamulabako, kubanga Katonda yamutwala. Ekyo kyaba bwe kityo, kubanga bwe yali nga tannatwalibwa, kyakakasibwa nti yasanyusa Katonda.#Laba ne Nta 5:21-24 6Tewali ayinza kusanyusa Katonda awatali kukkiriza, kubanga ajja eri Katonda, ateekwa okukkiriza nti Katonda waali, era nti agabira empeera abo abamunoonya.
7Noowa bwe yalabulwa Katonda ku byali bitannalabika, okukkiriza kwe kwamusobozesa okuwulira Katonda, n'azimba eryato okuwonya amaka ge. Bw'atyo yasalira ensi omusango, n'afuna obutuukirivu obuleetebwa okukkiriza.#Laba ne Nta 6:13-22
8Okukkiriza, kwe kwaleetera Aburahamu okuwulira Katonda, bwe yamuyita ave ewaabwe alage mu nsi gye yali agenda okuweebwa. Bw'atyo n'agenda nga tamanyi gy'alaga.#Laba ne Nta 12:1-5 9Era okukkiriza, kwe kwamuleetera okubeera mu nsi eyamusuubizibwa, n'agibeeramu ng'eri ng'etali yiye, ng'asula mu weema awamu ne Yisaaka ne Yakobo, nabo Katonda be yasuubiza ekintu kye kimu ekyo.#Laba ne Nta 35:27 10Aburahamu yalindirira ekibuga Katonda kye yategeka, era kye yazimba, ekirina emisingi emigumu.
11Okukkiriza, kwe kwasobozesa Saara okuba olubuto, newaakubadde nga yali akaddiye. Yakkiriza nti Katonda eyamusuubiza, mwesigwa.#Laba ne Nta 18:11-14; 21:2
12N'olwekyo omuntu oyo omu Aburahamu, newaakubadde yali ng'afudde, yasibukamu abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, ogutabalika.#Laba ne Nta 15:5; 22:17; 32:12
13Abo bonna baafiira mu kukkiriza, nga tebannafuna ebyo Katonda bye yasuubiza, wabula nga babirengerera wala, ne babyaniriza, nga bakakasa nti bagenyi era bayise ku nsi kuno.#Laba ne Nta 23:4; 1 Byom 29:15; Zab 39:12 14Abo aboogera bwe batyo, balaga nti waliwo awalala gye basuubira okusanga obutaka bwabwe. 15Era singa baajulirira ensi gye baavaamu, bandisobodde okuddayo. 16Naye kaakano beegomba obutaka obusinga obulungi, bwe bw'omu ggulu. Katonda kyava takwatibwa nsonyi kuyitibwa Katonda waabwe, kubanga yabateekerateekera ekibuga.
17Aburahamu, Katonda gwe yali asuubizza, bwe yagezebwa, okukkiriza kwe kwamusobozesa okuwaayo Yisaaka, omwana we omu yekka, abe ekitambiro.#Laba ne Nta 22:1-14 18Katonda yali amugambye nti: “Mu Yisaaka mw'olifunira abazzukulu.”#Laba ne Nta 21:12 19Aburahamu yamanya nti Katonda ayinza okuzuukiza abafu. Ne Katonda kyeyava amuddiza Yisaaka, ng'ali ng'avudde mu bafu.
20Okukkiriza, kwe kwasobozesa Yisaaka okusabira Yakobo ne Esawu omukisa mu ebyo ebyali bigenda okujja.#Laba ne Nta 27:27-29,39-40
21Yakobo bwe yali ng'anaatera okufa, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okusabira abaana ba Yosefu omukisa kinnoomu, n'akutama ku muggo gwe, n'asinza Katonda.#Laba ne Nta 47:31–48:20
22Yosefu bwe yali ng'anaatera okufa, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okwogera nti Abayisirayeli baliva mu Misiri, era n'alagira ebirikolebwa ku magumba ge.#Laba ne Nta 50:24-25; Kuv 13:19
23Musa bwe yazaalibwa, okukkiriza, kwe kwaleetera bazadde be okumukwekera emyezi esatu. Baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kuwakanya kiragiro kya kabaka.#Laba ne Kuv 2:2; 1:22 24Musa bwe yakula, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okugaana okuyitibwa omwana wa muwala wa Faraawo.#Laba ne Kuv 2:10-12 25Yasiima okubonaabonera awamu n'abantu ba Katonda, okusinga okuba mu ssanyu ery'ekibi eriggwaawo amangu. 26Yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kusingira ddala wala obugagga bw'e Misiri, kubanga yamanya empeera gy'aliweebwa.
27Okukkiriza, kwe kwasobozesa Musa okuva e Misiri, n'atatya busungu bwa kabaka, kubanga yanywera, ng'ali ng'alaba Katonda atalabika.#Laba ne Kuv 2:15 28Okukkiriza, kwe kwamusobozesa okuteekawo Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'amansira omusaayi, Omuzikiriza aleme kutta baggulanda ba Bayisirayeli.#Laba ne Kuv 12:21-30
29Okukkiriza, kwe kwasobozesa Abayisirayeli okuyita mu Nnyanja Emmyufu, ng'abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako, amazzi ne gabasaanyaawo.#Laba ne Kuv 14:21-31
30Okukkiriza, kwe kwaleetera ebisenge by'Ekibuga Yeriko okugwa, nga bimaze ennaku musanvu nga byetooloolwa Abayisirayeli.#Laba ne Yos 6:12-21 31Okukkiriza, kwe kwawonya malaaya Rahabu n'atazikiririra wamu n'abo abatakkiriza, kubanga yayaniriza abakessi.#Laba ne Yos 2:1-21; 6:22-25
32Nnyongereko ki ate? N'obudde bunaanzigwako bwe njogera ku Gidiyoni, Baraki, Samusooni, Yefuta, Dawudi, Samweli, ne ku balanzi.#Laba ne Balam 6:11–8:32; 4:6–5:31; 13:2–16:31; 11:1–12:7; 1 Sam 16:1 Bassek 2:11; 1 Sam 1:1–25:1
33Olw'okukkiriza, abo baawangula obwakabaka, ne bakola eby'obutuukirivu, era ne bafuna ebyo Katonda bye yasuubiza. Baabuniza obumwa bw'empologoma,#Laba ne Dan 6:1-27 34ne bazikiza omuliro ogw'amaanyi, ne bawona obwogi bw'ekitala. Baali banafu, ne bafuuka ba maanyi. Baafuuka bazira mu ntalo, ne bagoba eggye ly'ab'amawanga amalala.#Laba ne Dan 3:1-30 35Abakazi ne baweebwa abantu baabwe abazuukidde.
Abantu abalala baabonyaabonyezebwa, ne bagaana okuteebwa, balyoke bazuukire okufuna obulamu obusinga obulungi.#Laba ne 1 Bassek 17:17-24; 2 Bassek 4:25-37 36N'abalala baasekererwa ne bakubibwa era ne basibibwa, ne bateekebwa mu makomera.#Laba ne 1 Bassek 22:26-27; 2 Byom 18:25-26; Yer 20:2; 37:15 38:6: 37Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi, nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, ne bayisibwa bubi,#Laba ne 2 Byom 24:21 38ensi nga tebasaanira. Ne batambulatambulanga mu malungu ne mu nsozi, nga basula mu mpuku ne mu binnya.
39Abo bonna Katonda yabasiima olw'okukkiriza kwabwe. Naye tebaafuna ebyo bye yasuubiza, 40kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi: bo baleme okutuukirizibwa, ffe nga tetuliiwo.
Currently Selected:
ABEEBUREEYI 11: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.