ABEEBUREEYI 10
10
1Amateeka g'Ekiyudaaya, kisiikirize busiikirize eky'ebirungi ebigenda okujja, sso si kifaananyi kyabyo ekituufu. Tegasobola kutukuliza ddala abo abaddiŋŋana ebitambiro bye bimu, buli mwaka. 2Singa gaali gasobola okubatukuliza ddala, ebitambiro byandibadde tebikyaweebwayo, kubanga ababiwaayo bandibadde batukuliziddwa ddala omulundi gumu, nga tebakyemanyiiko kibi. 3Naye mu bitambiro ebyo, mulimu kujjukizibwa ebibi buli mwaka, 4kubanga omusaayi gw'ente ennume n'ogw'embuzi teguyinza kuggyawo bibi. 5Kristo ng'ajja mu nsi, kyeyava agamba Katonda nti:
“Ebitambiro n'ebiweebwayo tewabyagala,
naye wanteekerateekera omubiri.#Laba ne Zab 40:6-8
6Ebyokebwa nga biramba,
n'ebyo ebiweebwayo olw'ebibi,
tewabisiima.
7Kyennava ŋŋamba nti: Nzuuno.
Nzize okukola by'oyagala,
ayi Katonda,
ng'ekyawandiikibwa bwe kinjogerako
mu kitabo ky'Amateeka.”
8Asooka kugamba nti: “Ebitambiro n'ebiweebwayo, n'ebyokebwa ebiramba, n'ebyo ebiweebwayo olw'ebibi, tewabyagala era tewabisiima.” Ekyo yakyogera, newaakubadde ng'ebyo byonna byaweebwangayo ng'Amateeka bwe galagira. 9Ate n'agamba nti: “Nzuuno. Nzize okukola by'oyagala.” N'olwekyo aggyawo ekisooka, alyoke anyweze ekyokubiri. 10Twatukuzibwa kubanga Yesu yakola ekyo Katonda ky'ayagala, bwe yawaayo omubiri gwe omulundi ogumu.
11Buli omu ku bakabona bali, ayimirira buli lunaku, n'awaayo emirundi mingi ebitambiro bye bimu, ebitayinza kuggyawo bibi.#Laba ne Kuv 29:38 12Naye Kristo yawaayo ekitambiro kimu kyokka ekyamala okuddaabiriza olw'ebibi, n'alyoka atuula emirembe gyonna, ng'aliraanye Katonda, ku ludda olwa ddyo.#Laba ne Zab 110:1 13Eyo gy'alindira, okutuusa abalabe be lwe balifuulibwa ekirinnyibwako ebigere bye. 14Olw'okuwaayo ekitambiro ekyo ekimu, abo b'atukuza yabafunira obutuukirivu obw'emirembe gyonna.
15Era ne Mwoyo Mutuukirivu kino akitutegeeza. Asooka n'agamba nti:
16“Eno ye ndagaano
gye ndikola nabo,
ennaku ezo bwe zirituuka.
Bw'atyo Mukama bw'ayogera.
Nditeeka amateeka gange
mu mitima gyabwe,
era ndigawandiika
mu magezi gaabwe.”
Ate n'agamba nti:#Laba ne Yer 31:33
17“N'ebibi byabwe n'obujeemu bwabwe
siribijjukira nate.”#Laba ne Yer 31:34
18Ebyo bwe bimala okusonyiyibwa, waba tewakyaliwo kuwangayo kitambiro olw'ebibi.
Tusembere eri Katonda
19Kale abooluganda, kaakano tuyinza okuyingira mu Kifo Ekitukuvu nga tetulina kutya, kubanga Kristo yafa ku lwaffe, 20n'atuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe. 21Tulina kabona omukulu bw'atyo, afuga ennyumba ya Katonda. 22Kale tusembere eri Katonda n'omwoyo ogutaliimu bukuusa, ogujjudde okukkiriza, nga tulina emitima egitukuziddwa, ne giggwaamu omwoyo omubi, nga n'emibiri gyaffe ginaaziddwa n'amazzi amatukuvu.#Laba ne Leev 8:30; Ezek 36:25
23Tunyweze essuubi lye tulina tuleme kulivaako, kubanga Katonda eyasuubiza mwesigwa. 24Tussenga omwoyo ku kukubiriza bannaffe okwagalana n'okukola ebikolwa ebirungi. 25Tuleme kugayaaliriranga nkuŋŋaana z'abagoberezi ba Kristo, ng'abamu bwe bakola. Naye buli omu agumye munne, naddala nga bwe mulaba nti Olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka. 26Kuba singa twonoona mu bugenderevu nga tumaze okutegeezebwa amazima, waba tewakyaliwo kitambiro ekiweebwayo olw'ebibi. 27Ekiba kisigadde, kwe kuba mu kutya, nga tulindirira okusalirwa omusango, era n'obukambwe bw'omuliro ogugenda okwokya abalabe ba Katonda.#Laba ne Yis 26:11
28Omuntu ajeemera amateeka ga Musa, attibwa awatali kusaasirwa, kasita wabaawo abajulirwa babiri oba basatu abamusingisa omusango.#Laba ne Ma 17:6; 19:15 29Kale omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era omusaayi ogw'endagaano ogwamutukuza, n'agulaba ng'ogutali mutukuvu, era n'anyoomoola Mwoyo ow'ekisa, mulowooza nti talisaanira ekibonerezo ekisingawo obukambwe?#Laba ne Kuv 24:8 30Tumanyi oyo eyagamba nti:
“Okuwoolera eggwanga kwange,
nze ndisasula.”
Era nti:
“Mukama alisalira abantu omusango.”#Laba ne Ma 32:35-36
31Kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda Nnannyinibulamu!
32Mujjukire ebiseera ebyayita, bye mwafuniramu ekitangaala kya Katonda, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw'amaanyi. 33Emirundi egimu mwavumibwa era ne mubonyaabonyezebwa mu lwatu, emirundi emirala ne mulumirwa wamu n'abo abaakolebwa bwe batyo. 34Mwalumirwa wamu n'abasibe, era mwagumiikiriza n'essanyu nga munyagiddwako ebyammwe, kubanga mwamanya nti mmwe mulina ebisingawo obulungi, era eby'olubeerera. 35Kale temusuulanga buvumu bwammwe, kubanga empeera yaabwo nnene.
36Mwetaaga okugumiikiriza, mulyoke mukole ebyo Katonda by'ayagala, era muweebwe kye yasuubiza.
37“Wasigadde akaseera katono nnyo,
oyo ow'okujja,
ajje, era talirwa.#Laba ne Hab 2:3-4
38Omutuukirivu wange
anaabeeranga mulamu,
lwa kukkiriza.
Kyokka bw'addayo emabega,
sirimusaasira.”
39Naye ffe tetuli mu abo abadda emabega, ne bazikirira, wabula tuli mu abo abakkiriza, ne balokolebwa.
Currently Selected:
ABEEBUREEYI 10: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.