Musa bwe yakula, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okugaana okuyitibwa omwana wa muwala wa Faraawo. Yasiima okubonaabonera awamu n'abantu ba Katonda, okusinga okuba mu ssanyu ery'ekibi eriggwaawo amangu. Yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kusingira ddala wala obugagga bw'e Misiri, kubanga yamanya empeera gy'aliweebwa.
Okukkiriza, kwe kwasobozesa Musa okuva e Misiri, n'atatya busungu bwa kabaka, kubanga yanywera, ng'ali ng'alaba Katonda atalabika.