YouVersion Logo
Search Icon

ABAGALATIYA 6

6
Muyambaganenga
1Abooluganda, bwe wabangawo agudde mu kibi, mmwe abafugibwa omwoyo, muyambenga omuntu oyo nga muli bakkakkamu. Mwekuumenga, sikulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. 2Mugumiikirizaganenga, kubanga bwe mukola bwe mutyo, muba mutuukirizza etteeka lya Kristo. 3Omuntu bwe yeerowooza ng'aliko bw'ali, sso nga taliiko bw'ali, aba yeerimbalimba. 4Kyokka buli omu akeberenga ebikolwa bye, alyoke alabe oba nga mu ye mulimu ekimwenyumirizisa, nga teyeegeraageranya na mulala, 5kubanga buli omu alyetikka mugugu gwe.
6Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, atoole ku bibye by'alina, aweeko amuyigiriza.
7Temulimbibwanga, Katonda tabuzaabuzibwa: omuntu ky'asiga era ky'alikungula. 8Asiga mu mubiri gwe, mu mubiri mw'alikungula okufa. Kyokka oyo asiga mu Mwoyo, mu Myoyo mw'alikungula obulamu obutaggwaawo. 9Kale tuleme okukoowa mu kukolanga obulungi, kubanga bwe tutaddirira, ekiseera kirituuka ne tukungula. 10Kale nga bwe tulina ebbanga, tukolerenga abantu bonna ebirungi, naddala abo bwe tuli awamu mu kukkiriza.
Okubuulirira n'okusiibula
11Mulabe bwe mbawandiikidde n'omukono gwange mu nnukuta ennene. 12Abo abaagala okwenyumiririza mu byokungulu, be baagala okubawaliriza okukomolebwa. Bakikola balyoke baleme kuyigganyizibwa olw'omusaalaba gwa Kristo. 13N'abo abakomolebwa, tebagoberera ebyo Amateeka bye galagira, wabula baagala mukomolebwe, bo balyoke beenyumirize olw'okukomolebwa kwammwe. 14Nze sigenda kwenyumiriza n'akatono, okuggyako okwenyumiririza mu musaalaba gwa Kristo. Olw'omusaalaba ogwo, ensi ngiraba ng'ekomereddwa, nayo endaba ng'omukomerere. 15Oba ng'omuntu akomolebwa oba takomolebwa, ekyo si nsonga, wabula ekyetaagibwa kwe kufuuka ekitonde ekiggya. 16Emirembe n'okusaasira bibeerenga ku bantu ba Katonda, abo bonna abagoberera ekiragiro kino.
17Okuva kaakano tewabanga muntu n'omu anteganya, kubanga enkovu ze nnina ku mubiri gwange za Yesu,
18Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga ekisa mmwe, abooluganda. Amiina.

Currently Selected:

ABAGALATIYA 6: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in