ABAGALATIYA 5
5
Munywerere mu ddembe
1Kristo yatufuula ba ddembe. Kale munywere, muleme okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu.
2Laba, nze Pawulo mbagamba nti bwe munaakomolebwa, kitegeeza nti Kristo taliiko ky'abagasa. 3Era ntegeeza buli muntu akomolebwa nti ateekwa okutuukiriza ebyo byonna Amateeka bye galagira. 4Mmwe abaagala okuba abatuukirivu olw'okutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, mwesaze ku Kristo, era mweggye ku kisa kya Katonda. 5Naye ffe tusuubira nti Katonda alitufuula abatuukirivu, era ekyo kye tulindirira olw'amaanyi ga Mwoyo wa Katonda akolera mu kukkiriza kwaffe. 6Bwe tuba nga twegasse ne Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekiriiko kye kifuula. Ekikulu kwe kukkiriza, okukolera mu kwagala.
7Mwali bulungi. Ani eyabaziyiza okugondera amazima? 8Okusendasenda okwo, si kwa Katonda abayita. 9Ekizimbulukusa ekitono, kizimbulukusa ekitole kyonna.#Laba ne 1 Kor 5:6 10Naye neesiga Mukama nti mujja kulowooza nga nze, era nti oyo abateganya ne bw'aba ani, alibonerezebwa.
11Naye nze, abooluganda, oba nga nkyayigiriza abantu nti okukomolebwa kwetaagibwa, lwaki nkyayigganyizibwa? Singa ddala njigiriza ekyo, olwo omusaalaba guba tegukyali kyesittazo. 12Nandyagadde abo ababateganya beeraawe!
13Abooluganda, mmwe mwayitibwa kuba ba ddembe. Kyokka muleme kufugibwa kwegomba kwa mubiri, nga mwesiga eddembe eryo, wabula mwagalanenga, era buli omu abeerenga muweereza wa munne. 14Amateeka gonna gatuukirizibwa mu kiragiro kimu ekigamba nti: “Yagalanga muntu munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.”#Laba ne Leev 19:18 15Naye oba nga mulumagana era mulyaŋŋana, mwekuume, sikulwa nga mwezikiriza.
Mwoyo n'ebikolwa by'omubiri
16Naye ŋŋamba nti mugobererenga Mwoyo, lwe mutaatuukirizenga ebyo omubiri bye gwegomba. 17Ebyo omubiri bye gwegomba birwanagana n'ebyo Mwoyo by'ayagala. Ate ebyo Mwoyo by'ayagala, birwanagana n'ebyo omubiri bye gwegomba. N'ekivaamu, ne mutasobola kukola ebyo bye mwagala.#Laba ne Bar 7:15-23 18Naye bwe munaagobereranga Mwoyo, olwo nga temukyafugibwa Mateeka.
19Ebikolwa by'omubiri bimanyiddwa bulungi, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, 20okusinza ebitali Katonda, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, obutakkaanya, okwesalamu, 21ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebirala ebiri ng'ebyo. Ne kaakano nnyongera okubalabula, nga bwe nabalabula okusooka, nti abo abakola ebifaanana ng'ebyo, tebaliba na mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda.
22Naye Mwoyo aleeta kwagala, kusanyuka, mirembe, kugumiikiriza, kisa, bulungi, bwesigwa, 23buwombeefu, na kwegendereza. Ebyo tebiriiko tteeka libiwakanya. 24Era abo aba Kristo Yesu, baakomerera ku musaalaba omubiri gwabwe n'omululu gwagwo, n'okwegomba kwagwo. 25Oba nga Mwoyo ye atuwa obulamu, Mwoyo ye abanga atufuga. 26Tulemenga okwenyumiriza, wadde buli omu okusosonkereza munne, n'okumukwatirwa obuggya.
Currently Selected:
ABAGALATIYA 5: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.