1
ABAGALATIYA 6:9
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Kale tuleme okukoowa mu kukolanga obulungi, kubanga bwe tutaddirira, ekiseera kirituuka ne tukungula.
Compare
Explore ABAGALATIYA 6:9
2
ABAGALATIYA 6:10
Kale nga bwe tulina ebbanga, tukolerenga abantu bonna ebirungi, naddala abo bwe tuli awamu mu kukkiriza.
Explore ABAGALATIYA 6:10
3
ABAGALATIYA 6:2
Mugumiikirizaganenga, kubanga bwe mukola bwe mutyo, muba mutuukirizza etteeka lya Kristo.
Explore ABAGALATIYA 6:2
4
ABAGALATIYA 6:7
Temulimbibwanga, Katonda tabuzaabuzibwa: omuntu ky'asiga era ky'alikungula.
Explore ABAGALATIYA 6:7
5
ABAGALATIYA 6:8
Asiga mu mubiri gwe, mu mubiri mw'alikungula okufa. Kyokka oyo asiga mu Mwoyo, mu Myoyo mw'alikungula obulamu obutaggwaawo.
Explore ABAGALATIYA 6:8
6
ABAGALATIYA 6:1
Abooluganda, bwe wabangawo agudde mu kibi, mmwe abafugibwa omwoyo, muyambenga omuntu oyo nga muli bakkakkamu. Mwekuumenga, sikulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.
Explore ABAGALATIYA 6:1
7
ABAGALATIYA 6:3-5
Omuntu bwe yeerowooza ng'aliko bw'ali, sso nga taliiko bw'ali, aba yeerimbalimba. Kyokka buli omu akeberenga ebikolwa bye, alyoke alabe oba nga mu ye mulimu ekimwenyumirizisa, nga teyeegeraageranya na mulala, kubanga buli omu alyetikka mugugu gwe.
Explore ABAGALATIYA 6:3-5