ESITEERI 3
3
Hamani akola olukwe okuzikiriza Abayudaaya
1Ebyo bwe byaggwa, Kabaka Ahaswero n'awa Hamani obwakatikkiro. Hamani yali mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi. 2Abaweereza ba kabaka bonna abaali ku mulyango gwa kabaka, ne bavuunamiranga Hamani okumuwa ekitiibwa, nga kabaka bwe yali alagidde. Kyokka Moruddekaayi n'atamuvuunamira, era n'atamuwa kitiibwa. 3Awo abaweereza ba kabaka ne babuuza Moruddekaayi nti: “Lwaki ojeemera ekiragiro kya kabaka?” 4Awo olwatuuka, bwe baamala okumugambanga buli lunaku, n'agaana okubawulira, ne babuulira Hamani, okulaba oba nga anaagumiikiriza empisa za Moruddekaayi, kubanga Moruddekaayi yali ababuulidde nti Muyudaaya. 5Hamani bwe yalaba nga Moruddekaayi teyamuvuunamira wadde okumuwa ekitiibwa, n'ajjula obusungu. 6Era bwe yakitegeera nti Moruddekaayi Muyudaaya, n'amalirira obutabonereza Moruddekaayi yekka, wabula n'okuzikiriza abantu ba Moruddekaayi, Abayudaaya bonna, mu bwakabaka bwa Ahaswero bwonna.
7Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogw'obufuzi bwa Kabaka Ahaswero, mu mwezi ogusooka, gwe mwezi ogwa Nisani, Hamani n'alagira okukubisa akalulu, ako ke kayitibwa Puri, okulaba olunaku n'omwezi, okuzikiririzaako Abayudaaya bonna mu lunaku lumu. Olunaku olwasalibwawo lwali olw'ekkumi n'essatu#3:7 …olw'ekkumi n'essatu…: Ebiwandiiko ebirala eby'edda bye biwa olunaku. Eky'Olwebureeyi kiwa mwezi gwokka, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri ogwa Adaari.
8Awo Hamani n'agamba Kabaka Ahaswero nti: “Waliwo eggwanga ly'abantu erimu erisaasaanye ne libuna mu bantu, mu bitundu byonna eby'obwakabaka bwo. Amateeka gaabwe, maawufu ku g'abantu abalala bonna, era tebakwata mateeka go, ayi Ssaabasajja. N'olwekyo tekiyamba kabaka okubagumiikiriza. 9Oba ng'osiima, ayi Ssaabasajja, yisa etteeka eriragira bazikirizibwe. Kino bw'onookikola, nja kuleeta mu ggwanika ly'obwakabaka talanta omutwalo gumu eza ffeeza, nzikwase abo abalabirira emirimu gy'obwakabaka.”
10Awo kabaka n'anaanula ku ngalo ye, empeta eyakozesebwanga okussa akabonero ku birangiriro ebitongole, n'agiwa Hamani, omulabe w'Abayudaaya, mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi. 11Kabaka n'amugamba nti: “Ensimbi zisigaze, n'abantu nkukkirizza obakoleko ky'oyagala.”
12Awo ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogusooka, abawandiisi ba kabaka ne bayitibwa. Ne bawandiika ekirangiriro, omuli byonna Hamani bye yalagira abakungu ba kabaka, n'abaami abafuga buli kitundu, n'abakulu ba buli ggwanga. Buli kitundu ne kiwandiikirwa mu mpandiika yaakyo, na buli ggwanga mu lulimi lwalyo. Ekirangiriro kyawandiikibwa mu linnya lya Kabaka Ahaswero, era ne kiteekebwako akabonero k'empeta ye. 13Ababaka ne batwala ekirangiriro mu buli kitundu ky'obwakabaka. Ekirangiriro kyalimu okulagira okutta, okuzikiriza, n'okumalirawo ddala Abayudaaya bonna, abato n'abakulu, abakazi n'abaana, mu lunaku lumu olw'ekkumi n'essatu, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi ogwa Adaari, n'okunyaga ebintu byabwe. 14Ebyakirimu byali bya kuba tteeka mu buli kitundu, birangirirwe eri abantu bonna beeteekereteekere olunaku olwo.
15Kabaka n'alagira ababaka ne bagenda, ne babunyisa mangu etteeka mu kibuga ekikulu Susa. Awo kabaka ne Hamani ne batuula okunywa, kyokka ng'ekibuga kyonna ekikulu Susa, kiguddemu akasattiro.
Currently Selected:
ESITEERI 3: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.