Bible App logo
Search Icon

ESITEERI 2

2
Esiteeri afuuka Nnaabagereka
1Kabaka Ahaswero bwe yamala okukkakkana obusungu, n'asigala ng'alowooza ku kikolwa kya Vasuti, ne ku kirangiriro kye yali amufulumizzaako. 2Awo abaweereza ba kabaka, abaali okumpi naye, ne bagamba nti: “Ayi Ssaabasajja, bakunoonyeze abawala abato abalungi era embeerera. 3Tuma abaami bo mu bitundu byonna eby'omu bwakabaka bwo, bakuŋŋaanyize abawala bonna abato abalungi era embeerera, mu nnyumba yo ey'abakazi mu kibuga ekikulu Susa, bakwasibwe omulaawe wo Hegayi, alabirira abazaana, era bafumbirirwe bulungi. 4Olwo nno onoosobola okulondamu omuwala abasinga bonna, omufuule Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.”
Kabaka n'asiima amagezi ago era n'agakolerako.
5Mu kibuga ekikulu Susa, mwalimu Omuyudaaya ng'ayitibwa Moruddekaayi mutabani wa Yayiri, Yayiri mutabani wa Simeeyi, Simeeyi mutabani wa Kiisi ow'omu Kika kya Benyamiini. 6Moruddekaayi yali omu ku abo abaanyagibwa okuva mu Yerusaalemu, Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni bwe yawangula era n'awaŋŋangusa Yekoniya, kabaka wa Buyudaaya.#Laba ne 2 Bassek 24:10-16; 2 Byom 36:10 7Yalina omuwala Esiteeri, muganda we gw'azaala, omuwala oyo ng'ayitibwa Hadasa mu Lwebureeyi. Yali alabika bulungi, nga mubalagavu. Bazadde be bwe baafa, Moruddekaayi n'amutwala n'amwola nga muwala we yennyini.
8Ekiragiro kya kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi ne baleetebwa mu kibuga ekikulu Susa. Mu abo ne Esiteeri mwe yajjira. Era naye n'ateekebwa mu lubiri, mu mikono gya Hegayi eyali alabirira abakazi. 9Omuwala oyo n'asanyusa nnyo Hegayi, Hegayi n'amuyisa bulungi n'ekisa. Teyalwa, n'atandika okumufumbirira, ng'asiimuulwa n'omuzigo, n'okuweebwa emmere ey'enjawulo. N'ateekebwa mu kifo ekisinga obulungi mu kisulo ky'abazaana, ng'alina n'abawala musanvu abaalondebwa mu b'omu lubiri okumuweerezanga.
10Esiteeri yali tayogedde ggwanga lye, wadde amaka mw'asibuka, kubanga Moruddekaayi yali amukuutidde okubisirikira. 11Buli lunaku, Moruddekaayi yeeyisaayisanga mu maaso g'oluggya lw'ekisulo ky'abazaana, asobole okumanya ebifa ku muwala we.
12Oluwalo olwa buli muwala okutwalibwa eri Kabaka Ahaswero nga terunnatuuka, omuwala yamalanga kufumbirirwa okumala omwaka mulamba, ng'etteeka ku bakazi bwe lyali: emyezi mukaaga ng'asiimuulwa n'omuzigo ogwa mmira, ate emyezi emirala omukaaga ng'asiimuulwa n'ebyobuwoowo, era n'ebirala ebikola ku bakazi. 13Omuwala bwe yabanga agenda eri kabaka mu ngeri eyo, buli ky'asaba ave nakyo mu nnyumba y'abazaana, okugenda mu lubiri lwa kabaka, kyamuweebwanga. 14Yatwalibwanga ewa kabaka akawungeezi, ate enkeera n'aggyibwayo, n'atwalibwa mu nnyumba y'abazaana endala, erabirirwa Saasugazi omulaawe. Omuwala teyaddangayo ewa kabaka, okuggyako nga kabaka amutumizza ng'amuyita n'erinnya.
15Esiteeri, muwala wa Abihayili, kitaawe omuto owa Moruddekaayi, era Moruddekaayi gwe yayola ng'omwana we ddala, bwe yatuusa ekiseera kye eky'okugenda eri kabaka, talina bye yasaba, okuggyako ebyo Hegayi omulaawe wa kabaka, era eyali alabirira abakazi, bye yamugamba, era ne yeewuunyisa buli eyamulabako. 16Mu mwaka ogw'omusanvu ogw'obufuzi bwa Kabaka Ahaswero mu mwezi ogw'ekkumi, gwe mwezi ogwa Tebeti, Esiteeri n'atwalibwa mu lubiri eri Kabaka Ahaswero. 17Awo kabaka n'ayagala Esiteeri okusinga abakazi bonna. N'amusiima era n'amuganza okukira abawala abalala. Bw'atyo n'amutikkira engule ey'obwakabaka, era n'amufuula Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti. 18Awo kabaka n'akola embaga nnene eyaliko abaami be bonna, n'abaweereza be ng'awasizza Esiteeri. Kabaka n'alangirira olunaku olw'okuwummula mu matwale ge, era n'agaba n'ebirabo bingi ebyatuukana n'ekitiibwa kye nga kabaka.
Moruddekaayi avumbula olukwe olw'okutemula kabaka
19Awo abawala bwe baali bakuŋŋaanye omulundi ogwokubiri, Moruddekaayi yali atudde ku mulyango gwa kabaka. 20Esiteeri yali tayogeranga maka mw'asibuka, wadde eggwanga lye, kubanga Moruddekaayi yali amukuutidde obutabuulirako muntu n'omu. Esiteeri n'amugondera ne mu kino, nga bwe yamugonderanga mu byonna mu buto, ng'akyali mu maka ge.
21Mu kiseera ekyo, Moruddekaayi ng'atudde ku mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka, Bigitaana ne Teresi abaggazi, ne basunguwala, ne bakola n'olukwe okutemula Kabaka Ahaswero. 22Moruddekaayi n'agwa mu lukwe olwo, n'alutegeezaako Nnaabagereka Esiteeri, Esiteeri n'abuulira kabaka mu linnya lya Moruddekaayi. 23Bwe baabuuliriza, ne basanga nga bwe kityo bwe kiri. Abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Ne kiwandiikibwa, nga kabaka alaba, mu kitabo ky'ebibaawo buli lunaku.

Currently Selected:

ESITEERI 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in