Bible App logo
Search Icon

ESITEERI 4

4
1Moruddekaayi bwe yamanya byonna ebyali bikoleddwa, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne yeesiba ebikutiya, ne yesiiga omutwe gwe gwonna evvu, n'ayita mu kibuga ng'akuba ebiwoobe eby'amaanyi, 2okutuuka lwe yatuuka ku mulyango gw'olubiri, naye n'atayingira, kubanga omuntu ayambadde ebikutiya teyakkirizibwanga kuyingira mu lubiri. 3Mu bitundu by'amatwale byonna, etteeka lya kabaka n'ekiragiro kye gye byatuuka, Abayudaaya ne beesaasaabaga nnyo, ne basiiba, ne bakaaba amaziga, ne bakuba ebiwoobe, era bangi ne bagalamira mu vvu nga bambadde ebikutiya.
4Esiteeri ne yennyamira nnyo, abaweereza be abakazi n'abalaawe bwe baamubuulira Moruddekaayi bye yali akola. N'amuweereza engoye ez'okwambala mu kifo eky'ebikutiya, naye Moruddekaayi n'atazikkiriza. 5Awo Esiteeri n'ayita omu ku balaawe ba kabaka eyali ateekeddwawo okumuweereza, eyayitibwanga Hataki, n'amutuma agende amanye byonna ebiriwo. 6Hataki n'agenda eri Moruddekaayi mu makkati g'ekibuga ku mulyango gw'olubiri. 7Moruddekaayi n'amutegeeza byonna ebyali bimutuuseeko, n'omuwendo gw'ensimbi Hamani gwe yali asuubizza okuleeta mu ggwanika ly'obwakabaka, singa Abayudaaya bonna bazikirizibwa. 8Moruddekaayi n'awa Hataki ebyali mu kirangiriro ekyali kifulumiziddwa mu Susa, ekiragira okusaanyaawo Abayudaaya. N'amugamba abitwalire Esiteeri era abimunnyonnyole, era amukuutire okugenda eri kabaka amwegayirire, era amusabe okukwatirwa abantu be Abayudaaya ekisa. 9Awo Hataki n'agenda n'abuulira Esiteeri, Moruddekaayi by'agambye. 10Ne Esiteeri n'awa Hataki obubaka obw'okuddiza Moruddekaayi nti: 11“Singa wabaawo omuntu, k'abe musajja oba mukazi, ayingira munda mu luggya, n'alaba kabaka nga tayitiddwa, omuntu oyo ateekwa kuttibwa. Etteeka lino buli omu alimanyi, okuva ku baweereza ba kabaka, okutuukira ddala ku bantu bonna ab'omu bitundu kabaka by'afuga. Wabula singa kabaka agololera omuntu omuggo gwe ogwa zaabu, olwo omuntu oyo tattibwa. Naye mmaze ennaku amakumi asatu nga siyitibwanga kugenda eri kabaka.”
12Awo ne babuulira Moruddekaayi Esiteeri by'agambye. 13Moruddekaayi n'abagamba okuddamu Esiteeri nti: “Tolowooza nti mu Bayudaaya bonna, ggwe onoowonawo kubanga oli mu lubiri lwa kabaka. 14Kubanga bw'onoosirika mu kiseera nga kino, Abayudaaya bajja kufuna obuyambi obw'okubawonya nga buva awalala, naye ggwe n'ab'ennyumba ya kitaawo, muzikirire. Ye ani amanyi oba nga wafuulibwa Nnaabagereka lwa biseera ebiri nga bino?”
15Esiteeri n'addamu Moruddekaayi nti: 16“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susa, musiibe ku lwange. Temulya wadde okubaako kye munywa, okumala ennaku ssatu. Nze n'abaweereza bange abakazi, tujja kukola ekintu kye kimu. Oluvannyuma nja kugenda eri kabaka newaakubadde nga tekikkirizibwa. Oba kufa, kale nnaafa!”
17Moruddekaayi n'agenda n'akola nga Esiteeri bwe yamulagira.

Currently Selected:

ESITEERI 4: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in