EBIKOLWA 26
26
Pawulo awoleza mu maaso ga Agripa
1Agripa n'agamba Pawulo nti: “Okkiriziddwa okuwoza.” Awo Pawulo n'agolola omukono, n'atandika okuwoza nti: 2“Kabaka Agripa, neesiimye nnyo okuwoleza mu maaso go olwaleero ebyo byonna Abayudaaya bye banvunaana, 3n'okusingira ddala kubanga omanyi bulungi empisa z'Abayudaaya, n'ebyo bye bawakanamu, n'enjawukana zaabwe. Kyenva nkwegayirira ompulirize n'obugumiikiriza.
4“Abayudaaya bonna bamanyi obulamu bwange okuva mu buto. Bamanyi nga bwe nabeera okuva olubereberye nga ndi mu bantu bange, era ne bwe nali mu Yerusaalemu. 5Okuva edda bamanyi, era singa baagala, bayinza okukakasa nga okuva olubereberye nali mu kibiina ekisingira ddala okukwata eddiini yaffe, nali Mufarisaayo.#Laba ne Bik 23:6; Baf 3:5 6Kaakano nnyimiridde wano okusalirwa omusango kubanga nsuubira ekyo Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe, 7era ebika byaffe ekkumi n'ebibiri kye birindirira nga bisinza Katonda emisana n'ekiro. Olw'okusuubira bwe ntyo, Abayudaaya kyebavudde bampawaabira, ayi kabaka. 8Lwaki mugamba nti Katonda okuzuukiza abafu kye kintu kye mutayinza kukkiriza?
9“Nze nzennyini nalowoozanga nti nteekwa okukola kyonna kye nsobola okuyigganya erinnya lya Yesu Omunazaareeti.#Laba ne Bik 8:3; 22:4-5 10Era ekyo kye nakola mu Yerusaalemu. Nafuna obuyinza okuva eri bakabona abakulu, ne nteeka abakkiriza bangi mu kkomera, era bwe baasalirwanga emisango egy'okuttibwa, nange nasiimanga. 11Emirundi mingi nababonerezanga mu makuŋŋaaniro gonna, nga mbawaliriza beegaane enzikiriza yaabwe. Ate bwe neeyongera okubasunguwalira, ne mbayigganyanga ne mu bibuga eby'ebweru.
Pawulo ayogera ku kukyuka kwe
(Laba ne Bik 9:1-19; 22:6-16)
12“Bwe nali ku ekyo, nga ŋŋenda e Damasiko, nga mmaze okufuna obuyinza n'ebiragiro okuva eri bakabona abakulu, ayi kabaka, nga ndi mu kkubo 13mu budde obw'ettuntu, ne ndaba okwakaayakana okwava mu ggulu nga kusinga okwaka kw'enjuba, ne kunneetooloola nze n'abaali nange mu lugendo. 14Ffenna ne tugwa wansi. Ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba mu lulimi Olwebureeyi nti: ‘Sawulo, Sawulo! Lwaki onjigganya? Kirumya ggwe okusamba ku miwunda.’ 15Ne ŋŋamba nti: ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama n'addamu nti: ‘Nze Yesu gw'oyigganya. 16Kyokka golokoka oyimirire. Nkulabikidde ndyoke nkufuule omuweereza wange, akakasa ebyo mw'ondabidde, n'ebyo mwe nnaakulabikiranga. 17Ndikuwonya abantu b'eggwanga lyo n'ab'amawanga amalala gye ndikutuma 18okubazibula amaaso, balyoke bave mu kizikiza, badde mu kitangaala, era bave mu buyinza bwa Sitaani, badde eri Katonda, balyoke basonyiyibwe ebibi byabwe, era bafunire wamu omugabo n'abo abatukuzibwa olw'okukkiriza.’
Pawulo ayogera ku mulimu gwe
19“N'olwekyo, Kabaka Agripa, saawakanya kulabikirwa okwava mu ggulu. 20Nasookera ku b'omu Damasiko, nzuuyo ku b'omu Yerusaalemu, ne ku b'omu Buyudaaya bwonna ne ku b'amawanga amalala, ne mbategeeza beenenye, badde eri Katonda, era bakole ebikolwa ebiraga nti beenenyezza.#Laba ne Bik 9:20,28-29 21Abayudaaya kyebaava bankwata nga ndi mu Ssinzizo, ne bagezaako okunzita. 22Kyokka Katonda ankuumye okutuusa ku lunaku lwaleero, era nnyimiridde nga ntegeeza abakulu n'abato ebyo byennyini abalanzi ne Musa bye baayogera nti bigenda kubaawo. 23Baagamba nti Kristo ateekwa okubonyaabonyezebwa abe omubereberye mu kuzuukira, atuuse ku Bayudaaya ne ku b'amawanga amalala ekitangaala eky'obulokozi.”#Laba ne Yis 42:6; 49:6; 1 Kor 15:20
24Pawulo bwe yawoza bw'atyo, Festo n'agamba n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Pawulo olaluse! Ebingi bye wayiga bikulalusizza.” 25Pawulo n'agamba nti: “Oweekitiibwa Festo, siraluse. Ebigambo bye njogera bya mazima era bya magezi. 26Kabaka bino abimanyi era mbimubuulira nga sitya, kubanga nkakasa nti tewali na kimu ku byo ky'atamanyi, kubanga tebyakolebwa mu nkiso. 27Kabaka Agripa, okkiriza abalanzi? Mmanyi ng'obakkiriza.”
28Agripa n'agamba Pawulo nti: “Mu kaseera akatono oyagala okunsendasenda onfuule omugoberezi wa Kristo!”
29Pawulo n'agamba nti: “Akaseera ne bwe kaba katono oba kanene, nze kye nsaba Katonda, si ggwe wekka naye n'abo bonna abampuliriza olwaleero, bafuuke nga nze, okuggyako okusibibwa kuno.”
30Awo kabaka, n'omufuzi, ne Berunike, n'abalala bonna, ne basituka. 31Bwe baafuluma ne bagambagana nti: “Omuntu oyo takolanga kintu na kimu kimusaanyiza kufa oba kusibibwa.” 32Agripa n'agamba nti: “Omuntu oyo yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaari.”
Currently Selected:
EBIKOLWA 26: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.