EBIKOLWA 25
25
Pawulo ajulira ewa Kayisaari
1Festo bwe yatuuka mu kitundu kye, n'amala ennaku ssatu, n'ava e Kayisaariya n'ayambuka e Yerusaalemu. 2Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamutegeeza bye bavunaana Pawulo. Ne basaba Festo ono 3abakwatirwe ekisa, Pawulo aleetebwe e Yerusaalemu. Baali bategese olukwe okuttira Pawulo mu kkubo. 4Festo n'addamu nti: “Pawulo akuumirwa mu Kayisaariya, era nze njija kuddayo mangu. 5Kale abakulembeze mu mmwe bagende nange, oba ng'omusajja oyo yakola ekintu ekitasaana, bamulumirize.”
6Festo bwe yamala nabo ennaku nga munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaariya. Olunaku olwaddirira, n'atuula ku ntebe ey'obulamuzi, n'alagira baleete Pawulo. 7Bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemu ne bayimirira nga bamwetoolodde, ne bamulumiriza emisango mingi era eminene, gye bataasobola kukakasa. 8Pawulo ne yeerwanako n'agamba nti: “Sikolanga kintu na kimu ekimenya amateeka g'Abayudaaya, oba ekyonoona Essinzizo, wadde okujeemera Kayisaari.”
9Festo olw'okwagala okusiimibwa Abayudaaya, n'agamba Pawulo nti: “Oyagala okugenda e Yerusaalemu owozesebwe eyo emisango gino mu maaso gange?” 10Pawulo n'agamba nti: “Nnyimiridde mu maaso g'entebe ya Kayisaari ey'obulamuzi, era we nteekwa okuwozesebwa. Sirina kintu na kimu kye nasobya ku Bayudaaya, nga naawe bw'omanyidde ddala obulungi. 11Oba nga namenya etteeka, ne nkola ekintu ekinsaanyiza okuweebwa ekibonerezo eky'okuttibwa, sigaana kufa. Naye oba nga bye bannumiriza si bya mazima, tewali ayinza kumpaayo gye bali. Njulidde Kayisaari.” 12Awo Festo bwe yamala okuteesaamu n'ab'olukiiko n'addamu nti: “Ojulidde Kayisaari, kale eri Kayisaari gy'oligenda.”
Pawulo mu maaso ga Kabaka Agripa
13Bwe waayitawo ennaku ntonotono, Kabaka Agripa ne mukazi we Berunike ne bajja e Kayisaariya okwaniriza Festo. 14Bwe baamalayo ennaku eziwera, Festo n'ayogera ku Pawulo, n'agamba nti: “Wano waliwo omusajja, Felikisi gwe yaleka nga musibe. 15Bwe nagenda e Yerusaalemu, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga ly'Abayudaaya ne bamulumiriza, ne basaba mmusalire omusango okumusinga. 16Nze ne mbaddamu nti: ‘Si mpisa y'Abarooma okusalira omuntu omusango okumusinga, nga tannasisinkana na bamuwawaabira, n'asobola okwerwanako mu musango gwe bamuvunaana.’
17“N'olwekyo bwe bajja wano, ssaalwa. Ku lunaku olwaddirira, ne ntuula mu ntebe ey'obulamuzi, ne ndagira baleete omusajja oyo. 18Abamuvunaana bwe baayimirira ne batamuvunaana musango na gumu omubi, nga nze bwe nali ndowooza. 19Wabula baawakana naye ku bintu ebimu ebifa ku ddiini yaabwe, ne ku muntu Yesu eyafa, Pawulo ye gw'ategeeza abantu mulamu.
20“Bwe nasoberwa ku bigambo ebyo, ne mmubuuza oba ng'ayagala okugenda e Yerusaalemu awoleze eyo emisango egyo. 21Kyokka Pawulo n'ajulira, n'asaba akuumibwe okutuusa Kayisaari lw'alimusalira omusango. Nze kwe kulagira akuumibwe okutuusa lwe ndimuweereza ewa Kayisaari.” 22Agripa n'agamba Festo nti: “Nange nandyagadde okuwulira omuntu oyo.” Festo n'addamu nti: “Onoomuwulira enkya.”
23Enkeera Agripa ne Berunike ne bajjira mu kitiibwa kinene, ne bayingira mu kifo awasalirwa emisango, nga bali wamu n'abakulu b'abaserikale n'abantu abeekitiibwa mu kibuga ekyo. Festo n'alagira, Pawulo n'aleetebwa. 24Awo Festo n'agamba nti: “Kabaka Agripa, era nammwe mwenna abali naffe wano, mulaba omusajja ono, Abayudaaya bonna gwe bansaba mu Yerusaalemu ne wano, nga baleekaana nti: ‘Tasaana kuba mulamu!’ 25Naye nze nalaba nti talina kye yakola kimusaanyiza kuttibwa. Kyokka bwe yajulira Kayisaari, ne nsalawo okumuweerezaayo. 26Wabula sirina kikakafu kye nnaawandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta mu maaso gammwe, naddala mu maaso go Kabaka Agripa. Bw'anaamala okubuuzibwa, ndyoke nfune kye mpandiika, 27kubanga ndaba nga si kituufu okuweereza omusibe n'otolaga bimuvunaanibwa.”
Currently Selected:
EBIKOLWA 25: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.