Ndikuwonya abantu b'eggwanga lyo n'ab'amawanga amalala gye ndikutuma okubazibula amaaso, balyoke bave mu kizikiza, badde mu kitangaala, era bave mu buyinza bwa Sitaani, badde eri Katonda, balyoke basonyiyibwe ebibi byabwe, era bafunire wamu omugabo n'abo abatukuzibwa olw'okukkiriza.’