2 TIMOTEEWO 4
4
1Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira abalamu n'abafu omusango, era nkukuutira olw'okujja kwe, n'olw'Obwakabaka bwe, 2tegeezanga abantu ekigambo kya Katonda, ng'onyiikira okuyigirizanga mu biseera ebirungi n'ebitali birungi. Nenyanga, kangavvulanga, era buuliriranga abantu, ng'oli mugumiikiriza. 3Ekiseera kijja, abantu lwe baligaana okuwulira enjigiriza ey'amazima, era olw'okugoberera okwegomba kwabwe, balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, ababayigiriza ebyo bye baagala. 4Baligaana okuwuliriza eby'amazima, ne bagoberera enfumo obufumo.
5Naye ggwe beeranga mwetegefu bulijjo, gumiranga okubonyaabonyezebwa, okolenga omulimu ogw'okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, otuukirize omulimu gwe waweebwa.
6Nze ndi kumpi okutambirwa. Ekiseera kyange eky'okuva ku nsi kituuse. 7Nnwanye bulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. 8Kye nsigazza kwe kufuna engule ey'obutuukirivu, Mukama omulamuzi omwenkanya gy'alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n'abo bonna, abeegomba okujja kwe.
9Fuba okujja amangu gye ndi, 10kubanga Dema yandekawo ng'ayagala eby'oku nsi kuno, n'agenda e Tessalonika. Kuresike yagenda Galatiya, ne Tito n'agenda e Dalumatiya.#Laba ne 2 Kor 8:23; Bag 2:3; Bak 4:14; Tit 1:4; Fil24 11Lukka yekka ye ali nange. Ggyayo Mariko omuleete, kubanga annyamba nnyo ku mulimu.#Laba ne Bik 12:12,25; 13:13; 15:37-39; Bak 4:10,14; Fil 24 12Tukiko namutuma mu Efeso.#Laba ne Bik 20:4; Beef 6:21-22; Bak 4:7-8
13Bw'obanga ojja, ondeeteranga ekkooti yange gye naleka e Turoowa ewa Karipo. Ondeeteranga n'ebitabo, naddala ebyo eby'amaliba.#Laba ne Bik 20:6
14Alekizanda omuweesi w'ebikomo yankola bubi nnyo. Mukama alimusasula olw'ebyo bye yakola.#Laba ne Zab 62:12; Bar 2:6; 1 Tim 1:20 15Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe.
16Mu kuwoza kwange okwasooka, tewali n'omu yannyamba, bonna banjabulira. Nsaba Katonda, ekyo kireme kubavunaanibwa. 17Naye Mukama yabeera nange, n'ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala ab'amawanga amalala bonna ekigambo kya Katonda, ne bakiwulira, bw'atyo n'anzigya mu kamwa k'empologoma. 18Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu Bwakabaka bwe obw'omu ggulu. Mukama oyo aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
19Lamusa Priska ne Akwila, n'ab'omu maka ga Onesiforo.#Laba ne Bik 18:2; 2 Tim 1:16-17 20Erasto yasigala mu Korinto, ate Turofimo namuleka mu Mileeto nga mulwadde.#Laba ne Bik 19:22; 20:4; 21:29; Bar 16:23 21Fuba nnyo ojje ng'ekiseera eky'obutiti tekinnatuuka. Ewubulo ne Pudente ne Liino ne Kulawudiyo, awamu n'abooluganda bonna bakulamusizza.
22Mukama abeere naawe, era akukwatirwe ekisa.
Currently Selected:
2 TIMOTEEWO 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.