2 TIMOTEEWO 3
3
Ennaku ez'oluvannyuma
1Kale manya kino nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo ebiseera eby'akabi, 2kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ebyokufuna, nga beenyumiriza, nga beepanka, nga bavvoola, era nga tebawulira babazaala. Baliba tebeebaza, nga tebafa ku bya Katonda, 3nga tebaagalana, era nga tebatabagana; nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi. 4Baliba nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala amasanyu okusinga bwe baagala Katonda; 5nga kungulu balabika ng'abassaamu eddiini ekitiibwa, sso nga tebakkiriza maanyi gaayo. Abantu abo beewalenga.
6Mu abo mulimu abasensera mu mayumba, ne bawamba abakazi abasirusiru, abajjudde ebibi, era abatwalibwa okwegomba okubi okwa buli ngeri, 7abayiga bulijjo, naye ne batayinziza ddala kutegeera mazima. 8Bali nga Yene ne Yambure abaawakanya Musa. Ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka amagezi, abatakyalina kukkiriza kutuufu.#Laba ne Kuv 7:11 9Naye tebalina gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng'obwa Yane ne Yambure bwe bwamanyibwa.
10Naye ggwe wagoberera okuyigiriza kwange, n'empisa zange, ne kye nduubirira. Era wagoberera okukkiriza kwange, n'okwagala kwange. Era omanyi nga bwe nagumira 11okuyigganyizibwa n'okubonyaabonyezebwa, ebyantuukako mu Antiyookiya, mu Yikoniyo ne mu Lisitura. Ddala nayigganyizibwa nnyo! Kyokka Mukama yamponya mu byonna.#Laba ne Bik 13:14-52; 14:1-20
12Era bonna abaagala okuba mu bulamu obussaamu Katonda ekitiibwa nga bali mu Kristo Yesu, ba kuyigganyizibwanga. 13Naye abantu ababi, n'abalimba balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babuzibwabuzibwa. 14Naye ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n'obikkiririza ddala, ng'omanyi abaabikuyigiriza. 15Okuva mu buto bwo, wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza, n'olokolebwa olw'okukkiriza Kristo Yesu.
16Ebyawandiikibwa byonna Ebitukuvu, Katonda ye yabiruŋŋamya, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya, ne mu kugunjula omuntu akolenga ebituufu,#3:16 Oba “Buli ekyawandiikibwa ga Katonda ye akiruŋŋamya, kigasa…” 17omuntu wa Katonda alyoke abe ng'atuukiridde, ng'alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.
Currently Selected:
2 TIMOTEEWO 3: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.