Bible App logo
Search Icon

TITO Ennyanjula

Ennyanjula
Tito yali mugoberezi wa Kristo, kyokka teyali Muyudaaya. Yali akolera wamu ne Pawulo, nga ye omu ku bamuyambako ku mulimu gw'obutume ogw'okubunyisa Amawulire Amalungi. Pawulo awandiikira omuyambi we ono, omuvubuka gwe yali alese mu Kureete okulabirira ekibiina kyayo eky'abakkiriza Kristo.
Ebbaluwa eyogera ku bintu bisatu ebikulu. Ekisooka, ebuulira Tito abantu abalondebwa ku bukulembeze mu kibiina ky'abakkiriza Kristo nga bwe basaanye okubeera, naddala nga bwe kimanyiddwa ng'ab'e Kureete bangi beeyisa bubi.
Ekyokubiri, Tito abuulirwa nga bw'asaanye okuyigiriza abantu ab'emitendera egyenjawulo mu kibiina ky'abakkiriza Kristo: abasajja abakulu, n'abakazi abakulu (nabo abateekwa okuyigiriza abakazi abakyali abato), abavubuka n'abaddu.
Omuwandiisi asembyayo okubuulirira Tito enneeyisa esaanira omugoberezi wa Kristo, naddala okuba ow'omukwano era ow'emirembe, eyeewala obukyayi n'empaka era n'okweyawulayawulamu mu kibiina ky'abakkiriza Kristo.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1-4
Abakulembeze mu kibiina ky'abakkiriza Kristo 1:5-16
Emirimu egyenjawulo mu kibiina ekyo 2:1-15
Okubuulirira n'okulabula 3:1-11
Okufundikira 3:12-15

Currently Selected:

TITO Ennyanjula: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in