1
2 TIMOTEEWO 4:7
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Nnwanye bulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange.
Compare
Explore 2 TIMOTEEWO 4:7
2
2 TIMOTEEWO 4:2
tegeezanga abantu ekigambo kya Katonda, ng'onyiikira okuyigirizanga mu biseera ebirungi n'ebitali birungi. Nenyanga, kangavvulanga, era buuliriranga abantu, ng'oli mugumiikiriza.
Explore 2 TIMOTEEWO 4:2
3
2 TIMOTEEWO 4:3-4
Ekiseera kijja, abantu lwe baligaana okuwulira enjigiriza ey'amazima, era olw'okugoberera okwegomba kwabwe, balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, ababayigiriza ebyo bye baagala. Baligaana okuwuliriza eby'amazima, ne bagoberera enfumo obufumo.
Explore 2 TIMOTEEWO 4:3-4
4
2 TIMOTEEWO 4:5
Naye ggwe beeranga mwetegefu bulijjo, gumiranga okubonyaabonyezebwa, okolenga omulimu ogw'okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, otuukirize omulimu gwe waweebwa.
Explore 2 TIMOTEEWO 4:5
5
2 TIMOTEEWO 4:8
Kye nsigazza kwe kufuna engule ey'obutuukirivu, Mukama omulamuzi omwenkanya gy'alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n'abo bonna, abeegomba okujja kwe.
Explore 2 TIMOTEEWO 4:8