2 ABAMAKKABEEWO 4
4
Simooni awaayiriza Oniya
1Simooni ayogeddwako emabega nti ye yategeeza Apolloniyo ebifa ku nsimbi n'aleetera eggwanga lye emitawaana, era yayogera bubi ku Oniya nti ye yavaako akabi akaatuuka ku Heliyodoro, era n'emitawaana egyaddirira. 2Yaguma okuyita Oniya omuntu asekeeterera obufuzi sso nga Oniya ye muntu eyakoleranga ekibuga ebirungi, eyataasanga abantu b'eggwanga lye, era eyafubanga okukwasisa amateeka.
3Obukyayi bwa Simooni bweyongera nnyo, n'omu ku mikwano gya Simooni gwe yeesiga n'atta abantu. 4Oniya n'alaba ng'akakuubagano bwe kali ak'akabi. Era n'alaba nga ne Apolloniyo mutabani wa Menesteewo, omufuzi wa Kelesiriya ne Fenikiya awagira Simooni mu bubi bw'akola. 5Kyeyava agenda eri kabaka, si kuloopayo batuuze banne, naye ku lw'obulungi bwa buli omu, n'obw'Abayudaaya bonna, 6kubanga yalaba nga kabaka bw'ataabiyingiremu, tewajja kubaawo ssuubi lya kuzzaawo mirembe, era nga Simooni tajja kukomya busiru bwe.
Yasoni aleeta empisa z'Abayonaani
7Selewuko bwe yafa, Antiyooko eyayitibwanga Epiifane n'afuuka kabaka, Yasoni muganda wa Oniya n'afuna obwa Ssaabakabona mu makubo agatali matuufu.#Laba ne 1 Bamak 1:10 8Yagenda eri kabaka n'amusuubiza okumuwa ensimbi eza ffeeza, talanta#4:8 talanta: Talanta emu yenkana ssilingi mitwalo na mitwalo. ebikumi bisatu mu nkaaga eziwera kilo omutwalo gumu mu enkumi bbiri, n'endala talanta kinaana, eziva mu makubo amalala ag'okufunamu ensimbi. 9N'amusuubiza n'endala talanta kikumi mu ataano eziweza kilo enkumi ttaano singa amuwa obuyinza okukola ekisaawe ky'emizannyo egyonoona empisa z'Ekiyudaaya, agunjuliremu abavubuka, n'okuwandiisa ab'omu Yerusaalemu babalibwe ng'enzaalwa z'omu Antiyookiya.
10Kabaka n'akkiriza. Yasoni olwafuna obwa Ssaabakabona, n'aleetera abantu b'eggwanga lye okukwata empisa z'Abayonaani. 11Yatandikira ku kuggyawo migabo, bakabaka ba Siriya gye baali balekedde Abayudaaya ku mirembe gya Yowanne kitaawe wa Ewupolemo eyatumibwa okukola omukwano n'Abarooma. Yasoni era yadibya amateeka g'Ekiyudaaya, n'ateekawo empisa ezigalwanyisa.#Laba ne 1 Bamak 8:17 12Yajjumbira nnyo okuzimba ekifo ky'emizannyo okumpi n'ekigo eky'okwerindiramu, n'ayagazisa abavubuka baffe abatutumufu okwenyigira mu by'emizannyo. 13Olw'obubi obutagambika obwa Yasoni atassangamu Katonda kitiibwa era ataali Ssaabakabona mutuufu, empisa z'Abayonaani n'ez'ab'amawanga amalala ne zeeyongera nnyo, 14okutuusa ne bakabona lwe baalekayo okunyumirwa omulimu gwabwe, nga tebakyafa ku Ssinzizo na ku bitambiro. Olwawuliranga eddoboozi eriyita abantu mu kifo ky'emizannyo, nga banguwa mangu okwetaba mu mizannyo egigaanibwa amateeka g'Ekiyudaaya. 15Nga tebakyafa ku ebyo bajjajjaabwe bye baayitanga eby'omuwendo. Ebitiibwa eby'Abayonaani nga bye bagulumiza. 16Naye ekyo ne kibaviiramu emitawaana, kubanga abantu abo bennyini be baagobereranga mu mpisa zaabwe, era be beegombanga okufaanana, be baafuuka abalabe baabwe ne bababonyaabonya. 17Amateeka ga Katonda tegamenyebwa ne wataba kibonerezo, nga bwe tunaalaba obulungi mu biddirira.
18Emizannyo gya buli myaka ena bwe gyali gizannyibwa e Tiiro nga kabaka w'ali, 19Yasoni oyo omubi n'atumayo ababaka abaava e Yerusaalemu abaali beewandiisizza ng'abatuuze b'e Antiyookiya, batwale ebitundu bya ffeeza talanta ebikumi bisatu ebiweza kilo omutwalo gumu eby'okugulamu eky'okutambirira lubaale Herukule. Naye abaabitwala ne balaba nga tekisaana ensimbi ezo zonna okuzigulamu kitambiro. Ne basalawo okuzikolamu ekintu ekirala. 20N'olwekyo newaakubadde ng'eyaziweereza yali agenderedde zigulwemu eky'okutambirira Herukule, bo ne bazigulamu amaato agagobwa enkasi essatu.
Antiyooko Epiifane ne Menelaawo
21Apolloniyo mutabani wa Menesteewo bwe yatumibwa mu Misiri okubeerawo nga Filometori atikkirwa ku bwa kabaka, Antiyooko n'akimanya nti Filometori tasemba bufuzi bwe. Kyeyava asala amagezi ag'okwenyweza. N'ajja e Yoppa, n'oluvannyuma n'ayambuka e Yerusaalemu. 22Yasoni n'ab'omu kibuga ne bamwaniriza n'ekitiibwa kinene nga bayimba era nga bakutte emimuli mu ngalo. Eyo gye yava n'eggye lye n'asiisira e Fenikiya.
23Bwe waayitawo emyaka esatu, Yasoni n'atuma Menelaawo muganda wa Simooni ayogeddwako engulu, okutwalira kabaka ensimbi, n'okusaba okumukakasa ebikulu ebyetaagibwa okukola. 24Kyokka Menelaawo bwe yatuuka mu maaso ga kabaka, ne yeeragayo ng'omuntu ow'obuyinza, ne yeefunirayo obwa Ssaabakabona ng'awaayo ensimbi ebitundu bya ffeeza ebiweza kilo omutwalo gumu, okusinga ku za Yasoni ze yawaawo okufuna ekifo ekyo. 25Menelaawo n'akomawo e Yerusaalemu ng'alina ebbaluwa ya kabaka emukakasa ku bwa Ssaabakabona, newaakubadde teyalina kirala kibumusaanyiza. Yalina obukambwe bw'omufuzi nnantagambwako, n'obusungu bw'ensolo enkambwe. 26Bw'atyo Yasoni eyalyazaamaanya muganda we n'amutwalako Obwassaabakabona naye ne babumutwalako. N'awalirizibwa okudduka n'okunoonya obubudamo mu nsi y'Abammoni.
27Menelaawo yafuna Obwassaabakabona, kyokka n'atasasula nsimbi ze yasuubiza kabaka. 28Sositurato omukulu w'abakuumi b'ekigo eky'okwerindiramu eyakwasibwa ogw'okuzimuggyako yazimusabanga n'atazimuwa. Kabaka kyeyava abayita bombi okubabuuza ku nsonga eyo. 29Menelaawo n'asigira muganda we Lisimako ku mulimu gw'Obwassaabakabona. Ne Sositurato ogugwe n'agulekako Kuraate omukulu w'amagye g'e Kipuro.
Oniya attibwa
30Mu kiseera ekyo abatuuze b'omu bibuga by'omu Taruso ne Mallo baali beediimye, kubanga ebibuga ebyo kabaka yali abigabidde muganzi we Antiyooko. 31Kabaka n'alekawo Anduroniiko omu ku bakungu be okulabirira obwakabaka, ye n'alaga mangu mu Kilikiya okutereeza ebyayo. 32Menelaawo n'alaba ng'afunye omukisa okukola ky'ayagala. N'abba ebimu ku bikopo ebya zaabu eby'omu Ssinzizo, n'abigabira Anduroniiko, ebirala n'abiguza ab'e Tiiro n'ab'omu bibuga ebiriraanyeewo. 33Oniya bwe yakimanya, n'addukira mu kifo ekyekusifu e Dafune okumpi n'ekibuga Antiyookiya, n'ayatuukiriza Menelaawo. 34Menelaawo n'asemberera Anduroniiko, n'amuwooyawooya okutta Oniya. Awo Anduroniiko n'agenda eri Oniya, n'amulimbalimba ng'amulamusa nga mukwano gwe, era ng'amusuubiza okumuyamba. Newaakubadde nga Oniya yeekengeramu, Anduroniiko yamukkirizisa okuva mu kifo mwe yali addukidde. Era n'amutta amangwago awatali nsonga ntuufu gy'amulanze.#Laba ne Dan 9:26
35Ekikolwa ekyo eky'okutemula Oniya tekyasunguwaza Bayudaaya bokka, naye n'ab'amawanga amalala bangi. 36N'olwekyo kabaka bwe yakomawo okuva mu Kilikiya, Abayudaaya ab'omu Antiyookiya ne bagenda gy'ali ne beemulugunyiza eky'okutta Oniya awatali nsonga. N'ab'amawanga amalala ne beetaba nabo okuwakanya obutemu obwo. 37Kabaka Antiyooko n'anakuwala nnyo era ne yennyamira mu mutima, n'akaaba amaziga, ng'ajjukira amagezi n'okwefuga Oniya attiddwa bye yalaganga nga mulamu. 38Awo n'asunguwalira nnyo Anduroniiko, n'alagira bamwambulemu ebyambalo by'obukulu bwe, era n'engoye ze zonna asigale bwereere, bamuyise mu kibuga okutuuka mu kifo kyennyini mwe yatemulira Oniya, era naye mw'aba attirwa. Bw'atyo Mukama bwe yawa Anduroniiko ekibonerezo ekimusaanidde.
Lisimako attibwa
39Mu kiseera ekyo Lisimako emirundi mingi yakola ebibi bingi ng'abba ebintu by'omu Ssinzizo, ng'akolagana ne Menelaawo. Ekyo bwe kyamanyibwa mu lwatu, abantu bangi ne bakuŋŋaana okulwanyisa Lisimako, kubanga yali abbye ebikopo ebya zaabu bingi. 40Abantu baawera ebbiina eddene nga bajjudde obusungu, Lisimako n'abasindikira abasajja enkumi nga ssatu nga balina ebyokulwanyisa, era nga bakulemeddwa omusajja eyitibwa Awuraano ayimbye obukulu mu myaka n'obusiru. 41Abayudaaya bwe baamanya Lisimako ky'ayagala okukola, ne balonda amayinja n'enkonyogo, n'abamu ne bayoola evvu, ne babikuba Lisimako ne basajja be. 42Abamu ku bo ne battibwa. Bangi ne batuusibwako ebisago, n'abalala bonna ne badduka. Lisimako yennyini eyabbanga eby'omu Ssinzizo n'attirwa kumpi n'eggwanika.
Menelaawo awozesebwa
43Olw'ebyo ebyagwawo, Menelaawo n'awozesebwa. 44Kabaka bwe yajja e Tiiro, abantu basatu abaatumibwa abakulu b'Abayudaaya ne bamuwawaabira. 45Menelaawo bwe yalaba ng'omusango gumusinga, n'asuubiza okuwa Putoleme mutabani wa Dorimeene enguzi ennene, amuwooyewooyeze kabaka, okumusalira asinge. 46Awo Putoleme n'asaba kabaka afulumeko wabweru abe ng'assa ku mukka. Nga bali eyo n'amuwooyawooya 47yejjeereze Menelaawo. Bw'atyo Menelaawo n'ateebwa newaakubadde ng'emisango yali agizzizza. Abantu bali abasatu abandibadde basinga omusango ne bwe bandibadde nga bawoleza mu maaso g'Abasikiiti abakambwe, ne basalirwa ogw'okuttibwa. 48Abantu abo abasatu abaasalirwa omusango okubasinga mu butali bwenkanya nga bawoza okutaasa Yerusaalemu n'ebyalo ebiriraanyeewo era n'ebintu ebitukuvu ebyabbibwa, ne battibwa amangwago. 49Naye abatuuze be Tiiro ne balaga okwennyamira kwabwe nga baziika abantu abo mu kitiibwa.
50Olw'omulugube gw'abaali mu buyinza, Menelaawo n'asigalawo mu bukulu bwe. Ne yeeyongera okuba omubi n'okutigomya bannansi banne.
Currently Selected:
2 ABAMAKKABEEWO 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.