YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAMAKKABEEWO 5

5
Okulabikirwa eby'olutalo
1Mu biseera ebyo Antiyooko Owookuna n'alumba Misiri omulundi ogwokubiri. 2Okumalira ddala ennaku amakumi ana ab'omu Kibuga Yerusaalemu kyonna ne balabikirwa abeebagadde embalaasi era abambadde ebya zaabu nga balwanira waggulu mu bbanga, nga bakutte amafumu era nga basowodde ebitala. Abeebagadde embalaasi abo, nga basimbye ennyiriri, ab'oludda olumu nga boolekedde ab'oludda olulala okubalwanyisa. 3Engabo nga zikoonagana, amafumu nga gayiika ng'enkuba, n'obusaale nga buwandagala waggulu mu bbanga. Ebyokulwanyisa byonna ebya buli ngeri n'ebyambalo ebya zaabu ne bimyansa nga byakiddwamu enjuba. 4Ab'omu kibuga bonna ne basaba Katonda okulabikirwa okwo kubeere akabonero akalungi.
Yasoni alumba Yerusaalemu
5Olugambo olutaali lutuufu bwe lwasaasaana nti Antiyooko afudde, Yasoni n'atwala abantu abasoba mu lukumi, n'alumba Yerusaalemu amangwago. Abaali bakuuma ebisenge by'ekibuga n'abawangula, ekibuga n'akiwamba. Menelaawo n'addukira mu kigo eky'okwerindiramu. 6Yasoni n'agenda ng'atta batuuze banne awatali kusaasira n'akatono. N'atamanya nti okufufuggaza abantu bo bennyini kwe kuwangulwa okusingira ddala obubi. Ye yalowooza nti awangudde balabe be, sso si bantu ababe bennyini. 7Newaakubadde nga yakola ekyo teyasobola kutwala bufuzi. Naye engeri embi gye yayisaamu banne n'emuviiramu ensonyi okuswala, n'awalirizibwa okuddukira mu nsi y'Abammoni, 8enkomerero ye n'eba ya buyinike bungi. Bwe yawawaabirwa mu maaso ga Areta, kabaka w'Abawarabu, era n'awalirizibwa okudduka okuva mu kibuga ekimu okudda mu kirala. Bonna ne bamukyawa nga bamuyita mumenyi wa mateeka era nga bamunyooma, kubanga yalyamu abantu b'eggwanga lye olukwe. Oluvannyuma n'addukira mu Misiri. 9Awo eyali agobye abantu abangi mu nsi yaabwe, n'afiira ku ggwanga mu Siparita gye yali addukidde ng'asuubira okufunayo obuwonero, kubanga abaayo baaluganda n'Abayudaaya.
10Yasoni ono eyali asse abantu abangi n'abaleka nga tebaziikiddwa, yabulwa amukaabira. Teyafuna mukolo gumukolebwako, wadde okuziikibwa ne bajjajjaabe.
Antiyooko azinda Yerusaalemu
(Laba ne 1 Bamak 1:20-63)
11Antiyooko bwe yamanya ebiguddewo, n'alowooza nti Abayudaaya beediimye. N'ava e Misiri ng'asunguwadde ng'ensolo, n'awamba ekibuga n'amagye ge. 12N'alagira abaserikale be okutta awatali busaasizi buli muntu gwe basanga, n'okutta abasangibwa nga beekukumye mu mayumba gaabwe. 13Ne batta buli muntu: abasajja n'abakazi n'abaana abawere. 14Mu nnaku ssatu zokka Yerusaalemu ne kifiirwa abantu emitwalo munaana. Emitwalo ena be battibwa. N'omuwendo gw'abaatwalibwa okutundibwa obuddu ne gwenkana ogw'abattibwa.
15Ekyo Antiyooko tekyamumatiza. N'aguma n'okuyingira mu Ssinzizo erisingira ddala okuba ettukuvu mu nsi yonna. Yayingiramu ng'akulembeddwa Menelaawo eyali aliddemu eddiini ye n'eggwanga lye olukwe. 16Ebintu ebitukuvu ebikozesebwa mu kusinza, bakabaka abalala bye baawaayo okwongera ekitiibwa mu Ssinzizo, Antiyooko n'abikwasa engalo ze ennyonoonefu, n'abinyaga.
17Antiyooko yeegulumiza nnyo olw'obuwanguzi bwe n'atamanya nti Mukama yaleka Essinzizo lye ettukuvu lijaajaamizibwe, kubanga ebibi by'abantu b'omu Yerusaalemu byali bimusunguwazizza okumala akaseera. 18Singa abantu b'omu Yerusaalemu baali tebakoze bibi bingi, Katonda yandiziyizizza Antiyooko okukola ebyo eby'ekisiru, era yandimubonerezza nga yaakayingira, nga bwe yakola Heliyodoro, kabaka Selewuko gwe yatuma okuketta eby'omu ggwanika. 19Naye Mukama teyalondamu bantu be lwa ssinzizo, wabula essinzizo lye yateekawo olw'abantu be. 20Essinzizo kyeryava ligabana ku bibonoobono ebyatuuka ku bantu, n'oluvannyuma ne ligabana ku mikisa gyabwe. Mukama Omuyinzawaabyonna yalyabulira ng'asunguwadde, oluvannyuma n'azzaawo ekitiibwa kyalyo ng'obusungu bwe bukkakkanye.
Yerusaalemu kizimbibwa nate
21Antiyooko bwe yamala okunyaga talanta lukumi mu lunaana#5:21 talanta…lunaana: Ze kilo ng'emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri. eza ffeeza mu Ssinzizo, n'ayanguwa mangu okuddayo mu Antiyookiya. Yeekulumbaza nnyo, n'atuuka n'okulowooza nti ayinza okuseeyeeyera mu lyato ku lukalu, n'okutambuza ebigere ku nnyanja. 22N'aleka ng'alonze abafuzi abanaabonyaabonya abantu. Mu Yerusaalemu n'ateekamu Filipo enzaalwa y'omu Furigiya, omubi n'okusinga Antiyooko yennyini. 23Mu Gerizimu n'ateekamu Anduroniiko. Ku abo kweyongerako Menelaawo eyasinga n'abafuzi abo okubonyaabonya Bayudaaya banne.
24Antiyooko yakyawa nnyo Abayudaaya. Kyeyava aweereza eggye ly'abaserikale emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, abapangise okuva e Musiya. Ne bajja e Yerusaalemu nga bakulembeddwa omusajja ayitibwa Apolloniyo. Antiyooko yamulagira okutta abasajja bonna mu kibuga, n'okutunda abakazi mu buddu. 25Apolloniyo yatuuka mu Yerusaalemu ng'alabika ng'atumiddwa olw'emirembe. Ku Sabbaato bwe yalaba ng'Abayudaaya bakuuma etteeka ery'okuwummula, n'alagira basajja be okukumba ekinnamagye. 26Amangwago n'abalagira okutta buli muntu eyajja okubalaba. Awo ne bafubutuka, ne bayingira mu kibuga, ne batta abantu bangi.
27Naye Yuda Makkabeewo n'abalala nga mwenda ne baddukira mu ddungu ery'ensozi, ne babeera eyo ng'ensolo. Olw'okwewala okulya ebizira, ne balyanga bimera byokka.

Currently Selected:

2 ABAMAKKABEEWO 5: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in