YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAMAKKABEEWO 3

3
Simooni akaayana ne Oniya
1Oniya bwe yali nga ye Ssaabakabona, ekibuga Yerusaalemu kyali kitebenkedde mirembe, era n'amateeka nga gakuumibwa bulungi, kubanga Oniya yali assaamu Katonda ekitiibwa, era ng'akyawa ebibi. 2Bakabaka b'ensi endala bassangamu essinzizo ekitiibwa, era nga baliwa ebirabo eby'omuwendo omunene. 3Wadde ne Kabaka Selewuko ow'e Asiya yasasuliranga byonna ebyetaagibwa mu kuwaayo ebitambiro, ng'atoola ku musolo gwe yakuŋŋaanyanga. 4Naye omusajja ayitibwa Simooni ow'omu kika kya Benyamiini, eyateekebwawo okulabirira Essinzizo, n'atakkaanya na Ssaabakabona ku biragiro ebifuga akatale k'ekibuga. 5Bwe yalaba nga tajja kuwangula Oniya, n'agenda eri Apolloniyo mutabani wa Turasewo, eyali afuga Kelesiriya ne Fenikiya mu kiseera ekyo. 6N'amugamba nti: “Eggwanika ly'omu Yerusaalemu lijjudde ensimbi ezitagambika, era ezitabalika obungi, ate nga bwe ziteetaagibwa mu kusasulira okuwaayo ebitambiro, zandisobodde okudda mu buyinza bwa kabaka.”
7Apolloniyo bwe yalaba kabaka, n'amutegeeza ensimbi ze baamugamba. Kabaka n'alagira Heliyodoro eyali alabirira ebintu bye, aziggyeyo. 8Heliyodoro n'asitukiramu, ng'alabika ng'alambula ebibuga by'omu Kelesiriya ne Fenikiya, sso nga mu mazima agenze kutuukiriza ekyo kabaka kye yamulagira. 9Bwe yatuuka e Yerusaalemu, nga ne Ssaabakabona amaze okumwaniriza n'essanyu, n'annyonnyola ensonga yennyini emuleese, era n'abuuza oba ddala ebintu biri nga bwe baamugamba. 10Ssaabakabona n'amunnyonnyola nti ddala waliwo ensimbi. Naye teziri nga Simooni omubi bwe yagamba. Ensimbi eziriwo zaaterekerwa bannamwandu ne bamulekwa. 11Endala za Yirukaano mutabani wa Tobiya, omuntu omukulu era ow'erinnya. Era zonna awamu ziri ebitundu bya ffeeza emitwalo ng'ena, n'ebitundu bya zaabu emitwalo ng'ebiri zokka. 12Era n'agamba nti: “Tekisoboka kukkiriza muntu kutwala nsimbi z'abo abaateeka obwesige mu Kifo Ekitukuvu, kati ekirina ettutumu mu nsi yonna.”
Ab'omu Yerusaalemu banakuwala
13Kyokka Heliyodoro ng'akolera ku biragiro kabaka bye yamuwa, n'agamba nti ensimbi ezo zonna ziteekwa buteekwa okutwalirwa kabaka. 14Kyeyava alonda olunaku n'ayingira mu Ssinzizo okulabirira ensimbi ezo nga zibalibwa. Kino ne kijagalaza ekibuga kyonna. 15Bakabona nga bali mu byambolo byabwe eby'omulimu, ne bagalamira mu maaso g'alutaari ey'ebitambiro nga beevuunise ku ttaka ne basaba Katonda akuume ensimbi ezo zireme kutwalibwa, kubanga ye yateekawo amateeka agakuuma ensimbi eziterekeddwa mu Ssinzizo.
16Omuntu nga yennyamira mu mutima okutunula ku Ssaabakabona, kubanga amaaso ge n'endabika ye nga biraga obuyinike obumuli ku mwoyo. 17Yakankananga omubiri gwonna, n'alaga obuyinike obumuli mu mutima. 18Abantu ne bava mu maka gaabwe nga badduka, ne beetaba mu kusaba Katonda, Essinzizo lireme kujaajaamizibwa. 19Abakazi abeesibye ebikutiya mu kifuba ne beeyiwa mu nguudo. Abawala abato bakadde baabwe be batakkirizanga kulabika mu bantu, ne badduka nga balaga ku miryango ne ku bisenge, abalala ne balingiriza mu madirisa. 20Bonna ne bayimusa emikono gyabwe waggulu, nga basaba Katonda. 21Kyali kikwasa ekisaasaazi okulaba abantu bonna mu kibuga bwe beevuunise ku ttaka, n'okulaba Ssaabakabona bw'atunuza obuyinike ku maaso.
Mukama akuuma Essinzizo
22Bwe baali beegayirira Mukama Omuyinzawaabyonna okukuuma ensimbi ze baamuteresa, 23nga ye Heliyodoro agenda mu maaso ne bye yali ateeseteese okukola. 24Naye mu kaseera ako kennyini ye n'abakuumi be ke baatuukirako mu ggwanika, Mukama afuga emyoyo n'ab'obuyinza ne yeeyoleka mu ngeri ey'ekitalo. Bonna abaaguma okuyingirayo ne Heliyodoro, ne bakubibwa ne beesisiwala olw'obuyinza bwa Katonda, ne baggwaamu amaanyi, ne bajjula okutya. 25Ne balaba embalaasi etimbiddwako entebe eyeebagalirwako eyeekitiibwa ng'eriko agyebagadde, ng'ayambadde ebyambalo eby'entalo ebya zaabu, era ng'atiisa. Embalaasi n'efubutukira Heliyodoro, n'emusamba n'amagulu gaayo ag'omu maaso. 26Era ne walabika abavubuka babiri abalungi ddala era ab'amaanyi, nga bambadde bulungi nnyo. Ne bayimirira ku buli ludda olwa Heliyodoro, ne bamukuba awatali kusaasira. 27Amangwago n'agwa wansi, basajja be ne bamuteeka ku kisituliro, 28ne bamufulumya. Ono eyali yaakayingira mu ggwanika ng'ali n'abamuwerekera bangi, omuli n'abakuumi be bonna, kati yali asituliddwa busitulibwa nga takyeyinza. Bonna ne bategeera amaanyi n'obuyinza bwa Katonda.
Oniya asabira Heliyodoro okussuuka
29Heliyodoro yali agalamidde awo nga takyasobola kwogera olw'obuyinza bwa Katonda bw'alaze, era nga tasuubira kuwona. 30Naye Abayudaaya ne beebaza Mukama eyali akoze ekyewuunyisa n'akuuma Essinzizo lye, n'aleeta n'essanyu awabadde okutya n'okweraliikirira mu kaseera katono akakulembedde.
31Abamu ku mikwano gya Heliyodoro ne basaba Oniya Ssaabakabona yeegayirire Atenkanika, awonye obulamu bw'omusajja ono eyali anaatera okutondoka. 32Awo Ssaabakabona olw'obutayagala kabaka alowooze nti Abayudaaya be baleese akabi akagudde ku Heliyodoro, n'awaayo ekitambiro okumusabira obulamu.
33Oniya bwe yali ng'awaayo ekitambiro, abavubuka ababiri nga bambadde engoye ze zimu ne baddamu okulabikira Heliyodoro, ne bamugamba nti: “Weebaze Ssaabakabona, kubanga ku lulwe Mukama akuddizza obulamu. 34Ggwe afunye ekibonerezo ekiva mu ggulu, tegeeza bonna obuyinza bwa Mukama obw'amaanyi.” Bwe baamala okwogera ebyo, ne babula.
Heliyodoro atendereza Katonda
35Heliyodoro n'awaayo ekitambiro eri Katonda, era n'amusuubiza bingi, kubanga yamukkiriza okusigala nga mulamu. N'asiibula Oniya, n'addayo n'eggye lye eri kabaka. 36N'anyumiza bonna, Katonda Atenkanika bye yakola, ye yennyini bye yeerabirako n'agage.
37Kabaka bwe yabuuza Heliyodoro nti ani gwe yanditumye e Yerusaalemu omulundi oguddako, Heliyodoro n'addamu nti: 38“Bw'oba olina omulabe, oba asekeeterera obufuzi bwo, gw'oba otumayo. Bw'anaafuna omukisa n'adda ajja kudda ng'akubiddwa nnyo, kubanga ddala ekifo ekyo kirimu amaanyi ga Katonda. 39Katonda ow'omu ggulu ye akuuma Essinzizo. Akuba n'azikiriza abajja okulikolako akabi.”
40Ebya Heliyodoro n'eggwanika ly'Essinzizo bwe byali bwe bityo.

Currently Selected:

2 ABAMAKKABEEWO 3: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in