Bible App logo
Search Icon

1 TIMOTEEWO 6

6
Abaddu ne bakama baabwe
1Abo bonna abali mu kikoligo ky'obuddu, basaana okussaamu ennyo bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda era n'okukkiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa. 2Abaddu abo abalina bakama baabwe abakkiriza, tebabanyoomanga olw'okuba baganda baabwe. Wabula beeyongere bweyongezi okubaweereza obulungi, kubanga abo abagasibwa olw'okuweereza kwabwe, bakkiriza era baagalwa.
Omugaso gw'okussaamu Katonda ekitiibwa
Ebyo bibayigirizenga era obibakuutirenga. 3Buli muntu ayigiriza mu ngeri endala, nga takkiriziganya n'ebigambo ebituufu ebya Mukama waffe Yesu Kristo, n'enjigiriza etabagana n'okussaamu Katonda ekitiibwa, 4aba ajjudde akazoole k'okubuuzabuuza ku buli kintu n'okuwakana ku buli kigambo, ebivaamu obuggya, okuyomba, okuvuma, okuwaayira, 5n'okukaayana. Ebyo byonna bikolebwa bantu abaayonooneka amagezi, abatakyalina mazima, abalowooza nti okussaamu Katonda ekitiibwa kuba kwenoonyeza bya bugagga.
6Weewaawo okussaamu Katonda ekitiibwa kulimu obugagga bungi, singa omuntu amatira mu ebyo by'alina, 7kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetulina kye tuliggyamu nga tugivaamu. 8Naye bwe tuba n'emmere n'ebyokwambala, ebyo bitumalenga. 9Abo abaagala okugaggawala, bagwa mu kukemebwa, ne bakwatibwa okwegomba okungi okw'obusirusiru, era okw'akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira, 10kubanga okululunkanira ensimbi, ye nsibuko y'ebibi byonna. Olw'okululunkana okwo, abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.
Okulabula
11Naye ggwe omuntu wa Katonda, weewalenga ebyo byonna, ogobererenga obutuukirivu, okussaamu Katonda ekitiibwa, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, n'obuteefu. 12Lwana bulungi olutalo olw'okukkiriza, olyoke ofune obulamu obutaggwaawo Katonda bwe yakuyitira, n'oyatulira ddala okukkiriza kwo, mu maaso g'abajulirwa abangi.
13Nkukuutirira mu maaso ga Katonda awa byonna obulamu, n'aga Yesu Kristo eyayatulira ddala amazima mu maaso ga Pontiyo Pilaato,#Laba ne Yow 18:37 14okuumenga kye nakulagira, oleme okubaako akamogo, wadde ky'onenyezebwamu, okutuusiza ddala Mukama waffe Yesu Kristo lw'alirabika. 15Okujja kwe okwo, Katonda atenderezebwa era nnannyini buyinza, kabaka wa bakabaka era mukama w'abakama, alikuleeta mu kiseera kyakwo ekituufu. 16Ye yekka atafa era abeera mu kitangaala ekitasemberekeka, tewali yali amulabye, era tewali ayinza kumulaba. Ye weekitiibwa era ye w'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.
Okulabula abagagga
17Labula abagagga ab'oku nsi kuno, baleme kwegulumiza, wadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna ebitusanyusa. 18Basaanye okukola obulungi, balyoke babe bagagga mu birungi bye bakola, era babe ba kisa era abagabi. 19Bwe batyo beeterekere obugagga obulibagasa mu biseera ebirijja, ne bubafunyisa obulamu obwannamaddala.
20Timoteewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga emboozi ezitassaamu Katonda kitiibwa, n'empaka ez'obusirusiru, abo abeerimba ze bayita ez'amagezi. 21Abamu abagamba nti bagalina, bakyama ne bava mu kukkiriza. Katonda abakwatirwe mmwe ekisa.

Currently Selected:

1 TIMOTEEWO 6: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in