1
1 TIMOTEEWO 6:12
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Lwana bulungi olutalo olw'okukkiriza, olyoke ofune obulamu obutaggwaawo Katonda bwe yakuyitira, n'oyatulira ddala okukkiriza kwo, mu maaso g'abajulirwa abangi.
Compare
Explore 1 TIMOTEEWO 6:12
2
1 TIMOTEEWO 6:10
kubanga okululunkanira ensimbi, ye nsibuko y'ebibi byonna. Olw'okululunkana okwo, abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.
Explore 1 TIMOTEEWO 6:10
3
1 TIMOTEEWO 6:6
Weewaawo okussaamu Katonda ekitiibwa kulimu obugagga bungi, singa omuntu amatira mu ebyo by'alina
Explore 1 TIMOTEEWO 6:6
4
1 TIMOTEEWO 6:7
kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetulina kye tuliggyamu nga tugivaamu.
Explore 1 TIMOTEEWO 6:7
5
1 TIMOTEEWO 6:17
Labula abagagga ab'oku nsi kuno, baleme kwegulumiza, wadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna ebitusanyusa.
Explore 1 TIMOTEEWO 6:17
6
1 TIMOTEEWO 6:9
Abo abaagala okugaggawala, bagwa mu kukemebwa, ne bakwatibwa okwegomba okungi okw'obusirusiru, era okw'akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira
Explore 1 TIMOTEEWO 6:9
7
1 TIMOTEEWO 6:18-19
Basaanye okukola obulungi, balyoke babe bagagga mu birungi bye bakola, era babe ba kisa era abagabi. Bwe batyo beeterekere obugagga obulibagasa mu biseera ebirijja, ne bubafunyisa obulamu obwannamaddala.
Explore 1 TIMOTEEWO 6:18-19