1 TIMOTEEWO 5
5
Obuvunaanyizibwa bw'abakkiriza
1Toboggoleranga musajja mukadde, wabula mubuulirirenga nga kitaawo. Abavubuka babuulirirenga nga baganda bo, abakazi abakadde babuulirirenga nga bazadde bo, 2n'abakazi abato babuulirirenga nga bannyoko, ng'omutima gwo mutukuvu ddala.
3Bannamwandu, abayisa nga bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa. 4Nnamwandu bw'abanga n'abaana oba abazzukulu, basookenga okuyiga okutuukirizanga ebyo bye bateekwa okukolera ab'omu maka g'ewaabwe, bwe batyo babeeko kye basasula bakadde baabwe, kubanga ekyo kisanyusa Katonda. 5Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, aba yeetadde mu mikono gya Katonda, era anyiikira okwegayirira n'okusaba Katonda emisana n'ekiro. 6Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba afudde, newaakubadde ng'akyali mulamu.
7Ebyo bibalagire, baleme kubaako kye banenyezebwamu. 8Kyokka oyo atafa ku babe, naddala ab'omu nnyumba ye, aba yeegaanye okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
9Nnamwandu atannaweza myaka nkaaga, tomuwandiikanga mu bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu. 10Nnamwandu oyo ateekwa okuba nga yakolanga ebikolwa ebirungi: ng'okukuza obulungi abaana be, nga yayanirizanga abagenyi, nga yanaazanga ebigere by'abantu ba Katonda, nga yayambanga abali mu buzibu, era nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.
11Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga kubawandiika mu lubu lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa. 12Bwe batyo ne bessaako omusango olw'obutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza. 13N'ekirala, bayiga okwonoona ebiseera byabwe nga batambula okubuna amayumba. Si bagayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe, ne boogera n'ebitasaanira kwogera. 14Kyenva njagala bannamwandu abakyali abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako bubi, 15kubanga bannamwandu abamu bakyamye, ne bagoberera Sitaani. 16Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab'olulyo lwe, ye aba abalabiriranga, ekibiina ky'abakkiriza Kristo kireme kuzitoowererwa, kiryoke kisobole okulabiriranga bannamwandu abataliiko abayamba.
17Abakulembeze b'abakkiriza, abafuga obulungi, basaanira empeera nnene, naddala abo abafaabiina mu kutegeeza n'okuyigiriza abantu ekigambo kya Katonda, 18kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: “Ente ng'ewuula eŋŋaano, togisibangako mumwa.” Era nti: “Omukozi asaanira empeera ye.”#Laba ne Ma 25:4; Mat 10:10; Luk 10:7
19Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze, okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu.#Laba ne Ma 17:6; 19:15 20Kyokka abo aboonoona, banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. 21Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu ne bamalayika abatukuvu, okugobereranga ebyo bulijjo, nga teweekubiira, wadde okusaliriza. 22Toyanguyirizanga kussaako mikono gyo ku muntu n'omu. Teweetabanga mu bibi bya balala. Weekuume obeerenga mulongoofu.
23Lekera awo okunywanga amazzi gokka, naye nywangako ne ku twenge tw'emizabbibu olw'olubuto lwo, n'olw'okulwalalwala kwo.
24Ebibi by'abantu abamu birabika mu lwatu, nga tebannasalirwa musango, kyokka eby'abalala birabika luvannyuma. 25N'ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo, birabika mu lwatu. Ne bwe biba nga tebirabise mu lwatu, tebirirema kulabika.
Currently Selected:
1 TIMOTEEWO 5: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.