2 TIMOTEEWO Ennyanjula
Ennyanjula
Ebbaluwa eyookubiri Pawulo gye yawandiikira Timoteewo, okusinga erimu ebyo ebibuulirira Timoteewo ng'omuvubuka owooluganda era omuyambi wa Pawulo. Ekikulu ky'eyogerako kya kumuzzaamu maanyi, abe mugumiikiriza mu byonna. Emukubiriza ayongere okuba omujulirwa omwesigwa owa Yesu Kristo, n'okutuukiriza omulimu gwe ogw'okuyigiriza abantu n'okubatuusaako Amawulire Amalungi, ne bwe wabaawo okubonaabona n'okuwakanyizibwa.
Timoteewo alabulwa naddala okwewala akabi akava mu kwetaba mu mpaka ez'ekisiru era ez'obutamanya, ezitaliiko kye zigasa wabula okuttattana abantu abaziwuliriza.
Okufunza byonna, Timoteewo aweebwa ekyokulabirako ky'obulamu bw'omuwandiisi yennyini era n'ekiruubirirwa kye, okwo nga kw'otadde eky'okuba omunywevu mu kukkiriza n'okwagala, era n'okugumiikiriza mu kubonaabona ne mu kuyigganyizibwa.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1-2
Okutendereza Katonda n'okubuulirira 1:3–2:13
Okuwa amagezi n'okulabula 2:14–4:5
Embeera ya Pawulo yennyini 4:6-18
Okufundikira 4:19-22
Currently Selected:
2 TIMOTEEWO Ennyanjula: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.