Bible App logo
Search Icon

1 TIMOTEEWO 4

4
Abayigiriza ab'obulimba
1Mwoyo Mutuukirivu ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abasuula okukkiriza, ne bagoberera emyoyo egiwubisa, era ne bagoberera enjigiriza za Sitaani, 2nga bawubisibwa obukuusa bw'abantu abalimba, ab'emitima egiri ng'egyasiriizibwa ekyuma ekyengereredde. 3Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era ababagaana okulya ebyokulya ebimu, Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza. 4Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, era tewali kizira, kasita kiriirwa mu kumwebaza, 5kubanga kitukuzibwa n'ekigambo kya Katonda era n'okumusinza.
Omuweereza omulungi owa Kristo
6Bw'onootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng'oliisibwa n'ebigambo eby'amazima eby'okukkiriza, n'enjigiriza ennungi gye wagoberera. 7Naye enfumo ezitaliimu ddiini, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiize okussangamu Katonda ekitiibwa, 8kubanga okwemanyiiza mu by'omubiri kugasa katono, naye okussaamu Katonda ekitiibwa kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery'omu bulamu buno, era n'ery'obwo obugenda okujja. 9Ekigambo ekyo kituufu era kisaana okukkiririza ddala. 10Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda Nnannyinibulamu Omulokozi w'abantu bonna, na ddala ow'abo abakkiriza.
11Abantu balagirenga ebyo, era obibayigirizenga. 12Waleme kubaawo akunyooma olw'obuvubuka bwo, wabula mu kwogera ne mu mpisa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu butukuvu, beeranga kyakulabirako eri abakkiriza. 13Nyiikiriranga okusoma ebyawandiikibwa, n'okubuulirira abantu ebya Katonda, n'okubayigiriza okutuusa lwe ndijja. 14Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe kye waweebwa, abantu abakulu bwe baakussaako emikono gyabwe, ng'abalanzi bwe baayogera.
15Ebyo birowoozenga era obissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi. 16Ebyo binywerereko, nga weekuuma mu mpisa zo, ne mu by'oyigiriza, kubanga bw'okola bw'otyo, olyerokola ggwe wennyini, era n'abo abakuwulira.

Currently Selected:

1 TIMOTEEWO 4: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in