1 ABATESSALONIKA 4
4
Obulamu obusanyusa Katonda
1Abooluganda, mwatuyigirako nga bwe musaana okubeera, mulyoke musanyuse Katonda, era bwe mutyo bwe mubadde mukola. Kale kaakano eky'enkomerero, tubeegayirira era tubabuulirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukole bwe mutyo n'okusingawo, 2kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa ku bwa Mukama waffe Yesu nga bwe biri. 3Katonda ky'abaagaza, kwe kuba abatukuvu, mwewale obwenzi. 4Buli omu mu mmwe ateekwa okumanya okufuganga omubiri gwe mu butukuvu, n'okugussangamu ekitiibwa. 5Temufugibwanga kwegomba kwa mubiri, ng'abantu ab'ensi abatamanyi Katonda bwe bakola. 6Mu nsonga eno waleme kubaawo akola ebirumya munne, wadde okumutwalako ekikye, kubanga Mukama awoolera eggwanga oly'ebyo byonna. Ebyo byonna twabibalabulamu era twabibategeeza dda. 7Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula yatuyitira butukuvu. 8N'olwekyo buli anyooma ekyo, aba tanyoomye muntu, wabula aba anyoomye Katonda, abawa mmwe Mwoyo Mutuukirivu we.
9Naye ebikwata ku kwagalana, abooluganda, seetaaga kubibawandiikira, kubanga mmwe mwennyini Katonda yabayigiriza okwagalana. 10Era bwe mutyo bwe mukola mu booluganda bonna abali mu Makedooniya yonna. Kale baganda baffe, tubeegayirira mukolenga bwe mutyo n'okusingawo. 11Munyiikirirenga okuba mu ddembe, mukolenga emirimu gyammwe, nga mukola n'emikono gyammwe nga bwe twabagamba. 12Olwo abatakkiriza banaabassangamu ekitiibwa, era muneemaliriranga mu bye mwetaaga.
Okujja kwa Mukama
13Abooluganda, twagala mumanye ebikwata ku abo abaafa, muleme kunakuwala ng'abantu abalala abatalina ssuubi. 14Tukkiriza nti Yesu yafa n'azuukira, era bwe kiriba ne ku abo abaafa nga bakkiriza Yesu: Katonda alibakomyawo wamu ne Yesu.
15Tubategeeza ekyo Mukama waffe kye yagamba nti Ye Mukama waffe bw'alijja, ffe abalamu tetulisooka abo abaafa.#Laba ne 1 Kor 15:51-52 16Mukama waffe yennyini alikka ng'ava mu ggulu, ekirangiriro nga kirangirirwa, eddoboozi lya Ssaabamalayika nga liwulirwa, era n'ekkondeere lya Katonda nga livuga. Abo abaafa nga bakkiriza Kristo, be balisooka okuzuukira. 17Awo naffe abaliba bakyali abalamu, ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire, okusisinkana Mukama waffe mu bbanga. Olwo ne tubeeranga ne Mukama waffe bulijjo. 18Kale buli omu agumyenga munne n'ebigambo ebyo.
Currently Selected:
1 ABATESSALONIKA 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.