1
1 ABATESSALONIKA 4:17
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Awo naffe abaliba bakyali abalamu, ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire, okusisinkana Mukama waffe mu bbanga. Olwo ne tubeeranga ne Mukama waffe bulijjo.
Compare
Explore 1 ABATESSALONIKA 4:17
2
1 ABATESSALONIKA 4:16
Mukama waffe yennyini alikka ng'ava mu ggulu, ekirangiriro nga kirangirirwa, eddoboozi lya Ssaabamalayika nga liwulirwa, era n'ekkondeere lya Katonda nga livuga. Abo abaafa nga bakkiriza Kristo, be balisooka okuzuukira.
Explore 1 ABATESSALONIKA 4:16
3
1 ABATESSALONIKA 4:3-4
Katonda ky'abaagaza, kwe kuba abatukuvu, mwewale obwenzi. Buli omu mu mmwe ateekwa okumanya okufuganga omubiri gwe mu butukuvu, n'okugussangamu ekitiibwa.
Explore 1 ABATESSALONIKA 4:3-4
4
1 ABATESSALONIKA 4:14
Tukkiriza nti Yesu yafa n'azuukira, era bwe kiriba ne ku abo abaafa nga bakkiriza Yesu: Katonda alibakomyawo wamu ne Yesu.
Explore 1 ABATESSALONIKA 4:14
5
1 ABATESSALONIKA 4:11
Munyiikirirenga okuba mu ddembe, mukolenga emirimu gyammwe, nga mukola n'emikono gyammwe nga bwe twabagamba.
Explore 1 ABATESSALONIKA 4:11
6
1 ABATESSALONIKA 4:7
Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula yatuyitira butukuvu.
Explore 1 ABATESSALONIKA 4:7