YouVersion Logo
Search Icon

1 ABATESSALONIKA 5

5
Okweteekerateekera okujja kwa Mukama waffe
1Baganda bange, tetwetaaga kubawandiikira bifa ku budde n'ebiseera, ebyo we biribeererawo. 2Nammwe mwennyini mumanyidde ddala nti olunaku lwa Mukama lujja ng'omubbi bw'ajja ekiro.#Laba ne Mat 24:43; Luk 12:39; 2 Peet 3:10 3Abantu bwe baliba nga bagamba nti: “Mirembe, tewali kabi”, olwo okuzikirizibwa ne kulyoka kubatuukako, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi alumwa okuzaala. Tebaliwona n'akatono. 4Naye mmwe, baganda bange, temuli mu kizikiza nti olunaku olwo lulibagwikiriza ng'omubbi, 5kubanga mwenna muli bantu ba kitangaala, era muli ba misana. Tetuli ba kiro, wadde ab'ekizikiza.
6Kale tuleme kwebaka ng'abalala, naye tutunule, tuleme kuba batamiivu. 7Abeebaka, beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro. 8Kale nga bwe tuli ab'emisana, tuleme kuba batamiivu. Okukkiriza n'okwagalana bitubeerere engabo, n'okusuubira obulokozi kutubeerere enkuufiira,#Laba ne Yis 59:17; Beef 6:13-17 9kubanga Katonda teyatuteekerateekera kubonerezebwa busungu bwe, wabula yatuteekerateekera kulokolebwa Mukama waffe Yesu Kristo, 10eyatufiirira, tulyoke tube balamu wamu naye, si nsonga oba tufudde oba tuli balamu. 11Kale buli omu agumyenga munne, era amuyambenga, nga bwe mukola kati.
Ebisembayo
12Abooluganda, tubeegayirira mumanye abo abakola omulimu mu mmwe, era Katonda b'alonze okubakulembera n'okubayigiriza. 13Mubassengamu nnyo ekitiibwa, era mubaagalenga olw'omulimu gwabwe. Mubenga n'emirembe mu mmwe.
14Abooluganda, tubeegayiridde mulabulenga abagayaavu, mugumyenga abatali banywevu, muyambenga abanafu, mugumiikirizenga bonna. 15Mulabe nti mu mmwe tewaba awoolera ggwanga, wabula bulijjo munyiikirirenga okukola ebirungi mu mmwe, ne mu bantu bonna. 16Musanyukenga bulijjo. 17Musinzenga Katonda buli kiseera. 18Mu byonna mwebazenga, kubanga ekyo mmwe ng'abantu ba Kristo, Katonda ky'ayagala mukole.
19Temuziyizanga Mwoyo Mutuukirivu. 20Temugayanga bya balanzi. 21Mwekenneenyenga byonna, mugumirenga ku kirungi, 22mwewalenga buli kibi.
23Katonda yennyini atuwa emirembe, abatukuze. Era emyoyo gyammwe n'obulamu bwammwe n'emibiri gyammwe, bikuumibwe nga biri bulungi, Mukama waffe Yesu bw'alijja, mube nga temuliiko kye munenyezebwa. 24Eyabayita mwesigwa, era ekyo alikituukiriza.
25Baganda bange, mutusabire. 26Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okw'abantu ba Katonda.
27Mbalagira, mu linnya lya Mukama waffe, ebbaluwa eno esomerwe abooluganda bonna.
28Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga mmwe ekisa.

Currently Selected:

1 ABATESSALONIKA 5: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in