YouVersion Logo
Search Icon

1 ESIDERAASI 1

1
Yosiya akola Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako
(Laba ne 2 Bassek 23:21-23; 2 Byom 35:1-9)
1Yosiya yakolera e Yerusaalemu Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako okussaamu Mukama ekitiibwa, ne batta ebisolo eby'embaga, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogusooka. 2Yosiya n'atereeza bakabona, mu Ssinzizo, nga bambadde ebyambalo byabwe eby'obwakabona, okuweereza mu mpalo zaabwe eza buli lunaku. 3Era n'alagira Abaleevi, abaweereza b'omu Ssinzizo, beetukuze okuweereza Mukama, basobole okuteeka Essanduuko entukuvu ey'Endagaano ya Mukama, mu Ssinzizo Kabaka Solomooni mutabani wa Dawudi lye yazimba. 4Yosiya n'agamba nti: “Essanduuko eno temukyagyetikka kugitwala mu buli kifo, naye munaakoleranga Mukama Katonda wammwe nga muweereza abantu be Abayisirayeli. Mweteeketeeke ng'ennyumba zammwe n'ekika kyammwe bwe biri, okukola omulimu gwammwe 5nga Kabaka Dawudi bwe yalagira, era nga mutabani we Kabaka Solomooni bwe yakola mu ngeri eyeewuunyisa. Mwetereeze mu bifo byammwe mu Ssinzizo, ng'ennyumba zammwe ez'Abaleevi abaweereza Mukama ku lw'abantu be Abayisirayeli, bwe ziri.#Laba ne 2 Byom 8:14 6Mutte endiga ento n'embuzi, muteeketeeke ebitambiro by'Abayisirayeli bannammwe. Mukole Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, nga mugoberera ebiragiro Mukama bye yawa Musa.”
7Yosiya n'awa abantu abaaliwo, endiga ento n'embuzi emitwalo esatu, n'ennyana enkumi ssatu. Ezo yaziwaayo ng'aziggya mu malundiro ga kabaka, okutuukiriza kye yali alagaanyizza abantu, ne bakabona, n'Abaleevi. 8N'abakuumi b'Essinzizo: Hilukiya, Zakariya, ne Yehiyeeli ne bawa bakabona endiga enkumi bbiri mu lukaaga, n'ennyana ebikumi bisatu ez'okutambira ku mbaga eyo. 9Ne Konaniya, Semaaya ne muganda we Natanayeli, Asabiya, Okyelo ne Yoraamu abaduumizi b'amagye nabo ne bawa Abaleevi endiga enkumi ttaano n'ennyana lusanvu ez'okutambira.
10Byali bwe biti: bakabona n'Abaleevi nga bambadde bulungi ebyambalo byabwe, baayimirira mu maaso g'abantu mu madaala g'ekika kyabwe n'ag'ennyumba zaabwe, nga bakutte mu ngalo zaabwe emigaati egitazimbulukusiddwa, 11okuweereza Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa. 12Ku makya Abaleevi ne bookya ennyama y'ebitambiro eby'okujjuukirirako Okuyitako, endala ne bagifumbira mu ntamu entono n'ennene ez'ebyuma, n'ewunya akaloosa.#Laba ne Kuv 12:8-9 13Ne bagigabira abantu bonna abaaliwo. Ebyo bwe byaggwa, nabo ne beeteekerateekera eyaabwe era n'eya baganda baabwe bakabona, bazzukulu ba Arooni, 14kubanga bakabona baali beetawula nga bookya amasavu g'ebitambiro, okutuusa obudde okuziba. 15-16Abakuumi b'emiryango gy'Essinzizo be baganda ba Asafu, abayimbi b'omu Ssinzizo, wamu ne Asafu, Zakariya ne Edimo ow'omu lubiri lwa kabaka, ne basigala mu bifo byabwe nga Kabaka Dawudi bwe yalagira, waleme kubulawo n'omu ku mulimu gwe ogwa buli lunaku. Ebyokulya ebyabwe, Abaleevi abalala be baabibategekera.
17-18Awo byonna ebikwata ku kuwaayo ebitambiro eri Mukama, ne bikolebwa ku lunaku olwo. Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako n'ekolebwa, n'ebitambiro ne biweebwayo ku alutaari, nga kabaka Yosiya bwe yalagira. 19Abayisirayeli bonna abaaliwo mu kiseera ekyo, ne bamala ennaku musanvu nga batuukiriza emikolo egy'okujjukira Okuyitako, n'egy'Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa.#Laba ne Kuv 12:1-20 20Okujjukira Okuyitako kwali tekukuzibwanga bulungi bwe kutyo, okuviira ddala mu biro bya Samweli omulanzi. 21-22Mu bakabaka ba Yisirayeli abaakulembera tewali yakuza Mbaga ya kujjuukirirako Okuyitako nga Kabaka Yosiya bwe yagikuza mu Yerusaalemu, mu mwaka gwe ogw'ekkumi n'omunaana ku bwakabaka. Embaga eno yakuzibwa bakabona n'Abaleevi n'abantu bonna mu Buyudaaya ne mu Yisirayeli.
Eby'okufa kwa Yosiya
(Laba ne 2 Bassek 23:28-30; 2 Byom 35:20-27)
23Mukama yasiima byonna Yosiya bye yakola, kubanga yabikola n'omutima ogwewadde Mukama. 24Naye ebyawandiikibwa mu bitabo eby'edda biraga nga bwe waliwo Abayisirayeli abaayonoona, ne bajeemera Mukama ku mulembe gwa Yosiya. Baayonoona okusinga ab'omu mawanga amalala oba ab'omu bwakabaka obulala bwonna. Baakola ebyanyiiza Mukama kyeyava ababonereza.
25Yosiya bwe yamala okukola ebyo byonna, kabaka wa Misiri n'akulembera eggye lye ne lijja okulwanira e Karukemisi, ku Mugga Ewufuraate. Yosiya n'agenda okumulwanyisa. 26Naye kabaka wa Misiri n'amutumira nti: “Kabaka wa Buyudaaya, olutalo lwe nzize okulwana terukukwatako. 27Mukama Katonda teyantuma kukulwanyisa, wabula nzize kulwanyisa ba ku Mugga Ewufuraate. Mukama ali nange, era Ye ansindika okulwana. Kale ggyayo amagye go, oleme kuziyiza Mukama.” 28Naye Yosiya teyazzaayo kigaali kye mabega. Teyawuliriza ebyo Mukama bye yayogerera mu Yeremiya omulanzi, n'asalawo okwenyigira mu lutalo. 29N'alwanyisa abaduumizi b'eggye lya Misiri mu lusenyi Megiddo, ne bamusinza amaanyi.
30Kabaka Yosiya n'alagira abaweereza be nti: “Munzigye mu ddwaaniro, kubanga nfumitiddwa ebiwundu eby'amaanyi.” Amangwaago ne bamuggya mu ddwaaniro, 31ne bamuteeka mu kigaali kye ekyokubiri, ne bamuzzaayo e Yerusaalemu. Eyo gye yafiira n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. 32Abantu bonna ab'omu Buyudaaya ne bamukaabira. Yeremiya omulanzi naye n'amukungubagira. Eby'okukungubagira Yosiya bikyajjukirwa abakulembeze ne bakazi baabwe, era yafuuka mpisa y'Abayisirayeli okumukungubagira ennaku zonna. 33Bino byawandiikibwa mu kitabo ky'ebyafaayo ebya bassekabaka ba Buyudaaya. Byonna Yosiya bye yakola ebyamuleetera ettutumu, n'ebiraga nga bwe yali ategeera Amateeka ga Mukama, bye yasooka okukola, n'ebimwogerwako wano, bisangibwa mu kitabo ky'ebyafaayo bya bassekabaka ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya.
Bakabaka ababi ab'Abayudaaya
(Laba ne 2 Bassek 23:30-35; 2 Byom 36:1-4)
34Abantu b'omu Buyudaaya ne balonda Yowahaazi, mutabani wa Yosiya, ne bamufuula kabaka. Yowahaazi yalina emyaka amakumi abiri mu esatu egy'obukulu. 35N'afugira Buyudaaya ne Yerusaalemu emyezi esatu. 36Kabaka wa Misiri n'amuggya ku bwakabaka, n'aweesa eggwanga omusolo gwa kilo enkumi ssatu mu bina eza ffeeza ne kilo asatu mu nnya eza zaabu. 37N'alonda Yehoyakiimu muganda wa Yowahaazi okuba kabaka wa Buyudaaya ne Yerusaalemu.#Laba ne Yer 22:11-12 38Yehoyakiimu oyo n'asiba mu kkomera abakulembeze mu gwanga era n'akwata Zariyo muganda we, n'amuggya e Misiri.
Kabaka Yehoyakiimu owa Buyudaaya
(Laba ne 2 Bassek 23:36–24:7; 2 Byom 36:5-8)
39Yehoyakiimu yafuuka kabaka wa Buyudaaya ne Yerusaalemu nga wa myaka amakumi abiri mu etaano. N'akola ebibi mu maaso ga Mukama.#Laba ne Yer 22:18-19; 26:1 40Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'azinda Buyudaaya, n'akwata Yehoyakiimu n'amusiba n'enjegere ez'emikono n'amutwala e Babilooni.#Laba ne Dan 1:1-2 41Nebukadunezzari oyo era n'anyaga ebintu ebitukuvu eby'omu Ssinzizo, n'abitwala n'abiteeka mu lubiri lwe e Babilooni. 42Ebyogera ku Yehoyakiimu ne ku mpisa ze embi n'obutatya Mukama biwandiikiddwa mu Ebyomumirembe gya Bassekabaka.
43Yehoyakiimu yasikirwa mutabani we Yehoyakiini ow'emyaka ekkumi n'omunaana ku bwakabaka, eyafugira mu Yerusaalemu emyezi esatu n'ennaku kkumi. 44Naye n'akola ebibi mu maaso ga Mukama. 45Waayitawo omwaka gumu, Nebukadunezzari n'akwata Yehoyakiini n'amutwala e Babilooni wamu n'ebintu ebitukuvu eby'omu Ssinzizo.#Laba ne Yer 22:24-30; 24:1; 29:1-2; Ezek 17:12
Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya
46Mu kifo kya Yehoyakiini, Nebukadunezzari n'ateekawo Zeddeekiya okuba kabaka wa Buyudaaya ne Yerusaalemu. Olwo Zeddeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu, n'afugira emyaka kkumi na gumu. 47Naye yakola ebibi mu maaso ga Mukama, n'agaana okuwuliriza Mukama bye yayogerera mu mulanzi Yeremiya.
Okugwa kwa Yerusaalemu
(Laba ne 2 Bassek 25:1-21; 2 Byom 36:13-21; Yer 52:3b-11)
48Newaakubadde nga Kabaka Nebukadunezzari yali alayizza Zeddeekiya mu linnya lya Mukama okuba omwesigwa, kyokka yamenyawo ky'alayidde n'amujeemera. Yalina emputtu, n'agaana okuwuliriza ebiragiro bya Mukama Katonda wa Yisirayeli.#Laba ne Ezek 17:15 49N'abakulembeze b'abantu, wadde bakabona bennyini baayonoona nnyo n'okusinga abakaafiiri, ne bajaajaamya Essinzizo lya Mukama, eryali litukuziddwa. 50Katonda wa bajjajjaabwe yayongera okubatumiranga abalanzi okubayita bave mu bibi byabwe kubanga yayagala okubawonya bo n'Essinzizo lye. 51Naye abantu ne banyooma era ne basekerera abalanzi be b'ayogereramu. 52Mukama kyeyava asunguwalira abantu be n'empisa zaabwe embi, n'alagira bakabaka ba Babilooniya okubalumba. 53Ab'e Babilooni ne batta abavubuka b'omu Buyudaaya bonna mu bifo ebyetoolodde Essinzizo, nga tebataliza muto na mukadde, wadde omusajja oba omukazi. Bonna Mukama yabawaayo mu balabe baabwe. 54Ebintu byonna ebitukuvu eby'omu Ssinzizo, n'eby'omu Ssanduuko entukuvu ey'Endagaano, n'ebyobugagga bwa bakabaka byonna baabitwala e Babilooni. 55Baayokya Essinzizo lya Mukama, ne bamenya ekisenge ky'ekibuga ne bookya eminaala gyakyo, 56ne bazikiriza obulungi bwakyo. Abantu abaawonawo Nebukadunezzari n'abatwala e Babilooni. 57Bo ne bazzukulu baabwe ne babeera eyo nga baddu, okutuusa Abaperusiya lwe baawangula obwakabaka obwo. Olwo Mukama kye yayogerera mu mulanzi Yeremiya ne kituukirira nti: 58“Ensi erimala emyaka nsanvu ng'esigadde matongo, okusasula ekiwummulo kya Sabbaato ekitaakuumibwa.”#Laba ne Yer 25:11; 29:10

Currently Selected:

1 ESIDERAASI 1: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in