YouVersion Logo
Search Icon

1 ESIDERAASI 2

2
Kuuro alagira Abayudaaya okuddayo
(Laba ne 2 Byom 36:22-23; Ezer 1:1-11)
1Mu mwaka omubereberye nga Kuuro ye kabaka wa Perusiya, Mukama n'atuukiriza kye yayogerera mu mulanzi Yeremiya. 2N'afuuyirira Kuuro okufulumya ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, kisomebwe buli wantu nti:
3“Kino kye kiragiro kya Kuuro kabaka wa Perusiya. Mukama w'eggulu, Mukama Atenkanika, yannonda okuba kabaka w'ensi yonna,#Laba ne Yis 44:28 4n'andagira okumuzimbira ennyumba e Yerusaalemu mu Buyudaaya. 5Mukama abeere n'abo mu mmwe abayitibwa abantu be. Kale bagende e Yerusaalemu eky'omu Buyudaaya, bazimbe ennyumba ya Mukama, Katonda wa Yisirayeli, Katonda abeera mu Yerusaalemu. 6Abantu be bonna abeetaaga obuyambi, bannaabwe babayambe nga babawa ffeeza ne zaabu, 7n'ebirabo ebirala, omuli embalaasi n'ensolo enneetissi z'emigugu, n'ebintu ebirala ebinaaweebwayo olw'Essinzizo lya Mukama eriri mu Yerusaalemu.”
8Awo abakulu mu bika ekya Yuda n'ekya Benyamiini, ne bakabona n'Abaleevi, n'abalala Mukama be yateekamu omutima okuzimba Essinzizo lye mu Yerusaalemu, ne beetegeka okugenda. 9Bannaabwe ne babayamba mu buli kintu. Ne babawa ffeeza ne zaabu, embalaasi n'ensolo enneetissi z'emigugu. Era bangi ne babawa n'ebintu ebirala bingi bye beetemye bokka.
10Kuuro n'abawa ebintu ebitukuvu, Nebukadunezzari bye yali aggye e Yerusaalemu, n'abiteeka mu masabo ga balubaale. 11Kuuro n'abiggyayo, n'abikwasa Mituredaate omuwanika we. 12Ono n'abikwasa Sesubazzari omufuzi wa Buyudaaya. 13Bino bye bintu ebyazzibwayo: ebikopo lukumi ebya zaabu, n'ebirala lukumi ebya ffeeza, ebyoterezo amakumi abiri mu mwenda ebya ffeeza, obukopo amakumi asatu obwa zaabu, n'obulala enkumi bbiri mu bina mu kkumi obwa ffeeza, n'ebintu ebirala lukumi. 14Byonna awamu ebya zaabu n'ebya ffeeza n'ebirala byali enkumi ttaano mu ebikumi bina mu nkaaga mu mwenda. 15Sesubazzari n'abitwala ng'ava e Babilooni n'abazaawuse, okugenda e Yerusaalemu.
Abasamariya bawakanya okuzimba Yerusaalemu
(Laba ne Ezer 4:7-24)
16Mu mulembe gwa Arutazeruzesi kabaka wa Perusiya, Bisulamu, Mituredaate, Tabeeli, Rehumu, Belitetimo, Simusayi omuwandiisi ne bannaabwe abakulu mu Samariya n'ab'omu bitundu ebirala, baawandiika ebbaluwa eno, nga beemulugunyiza Abayudaaya ab'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu:
17“Ssebo Ssaabasajja Kabaka Arutazeruzesi, ffe abaweereza bo Rehumu, omuwandiisi w'ebigwawo, ne Simusayi omuwandiisi, n'abakiise b'olukiiko abalala, n'abalamuzi b'omu Siriya ne Fenikiya, 18tukuwandiikira Ssaabasajja, okukumanyisa nti Abayudaaya abaava mu bitundu byo ebirala bazze ne babeera mu Yerusaalemu, era bazzeemu okuzimba ekibuga ekyo ekibi era ekijeemu. Baabano bazzaawo enguudo zaakyo, baddaabiriza ebisenge byakyo ebikyetoolola, era bazimba omusingi gw'Essinzizo. 19Ekibuga ekyo bwe kinaddamu okuzimbibwa, n'ebigo byakyo ne biggwa, banaaba tebakyawa musolo, era bajja kujeemera obuyinza bwo, ayi Ssaabasajja. 20Ng'omulimu ogw'okuzimba Essinzizo bwe gutandise, tulabye nti tetusaanidde kugayaalirira kintu ekyo ekikulu, naye okukikumanyisa, 21bw'oba ng'osiimye, banoonyereze mu biwandiiko bya bajjajjaabo. 22Ojja kusanga mu materekero g'ebitabo, ebiwandiiko ebikakasa ensonga eno, olabe nti ekibuga ekyo kijeema bulijjo era kitawaanya ebibuga ebirala ne bakabaka. 23Era okuva edda, Abayudaaya baakifuula kitebe kya bajeemu abalina ebyokulwanyisa. Kyekyava kizikirizibwa. 24N'olwekyo tukukakasa Ssaabasajja, nti singa ekibuga ekyo kizimbibwa obuggya, n'ebigo byakyo ne bizzibwawo, onooba tokyalina w'oyita okuyingira mu Siriya ne mu Fenikiya.”
Arutazeruzesi ayimiriza okuzimba Essinzizo
25Awo kabaka n'awandiikira Rehumu, Belitetimo, Simusaayi omuwandiisi ne bakulu bannaabwe ab'omu Samariya ne Siriya ne Fenikiya ng'abaddamu nti:
26“Bwe mmaze okusoma ebbaluwa yammwe, ne ndagira banoonyereze, era ne bazuula ng'okuva edda ekibuga ekyo Yerusaalemu kijeemera ab'obuyinza, 27era ng'abantu baamu beegugunga emirundi mingi ne beetaba mu ntalo. Bakabaka ab'amaanyi era abakambwe baasinziiranga mu kyo okufuga Siriya yonna ne Fenikiya, ne bazisoloozaamu omusolo. 28N'olwekyo ndagira nti abantu abo baziyizibwe okuzimba ekibuga obuggya, era mulabe nti mukola kyonna ekisoboka okutuukiriza ekiragiro kino, 29ekifo ekyo eky'akabi kireme kuddamu kuleetanga mitawaana mu bwakabaka.”
30Ebbaluwa eyo eyava eri Kabaka Arutazeruzesi bwe yamala okusomebwa, Rahumu, Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe ne bagenda bunnambiro e Yerusaalemu nga bali n'abaserikale abeebagadde embalaasi, n'ebibinja by'eggye eddene, ne baziyiza abazimba. Omulimu ne guyimirira, okutuusa mu mwaka ogwokubiri ogw'obufuzi bwa Dariyo, kabaka wa Perusiya.

Currently Selected:

1 ESIDERAASI 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in