YouVersion Logo
Search Icon

1 ESIDERAASI Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kya Esideraasi ekisooka kirimu ebisangibwa ne mu Kitabo eky'Ebyomumirembe Ekyokubiri (35-36), mu kya Ezera, ne mu kya Nehemiya (6-8), wadde nga waliwo ebimu ebibulamu, ebyongerwamu wamu n'ebikyukakyuka mu ntereeza ne mu kumenya akawonvu n'akagga. Ekirabikira ddala nga kipya kwe kuwakana okwaliwo mu lubiri lwa kabaka mu mitwe 3 ne 4.
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Yosiya n'okugwa kwa Yerusaalemu 1:1-58
Okudda okuva mu buwaŋŋanguse 2:1-30
Okuwakana kw'abakuumi b'olubiri lwa kabaka 3:1–4:63
Okuzimba obuggya n'okutukuza Essinzizo 5:1–7:15
Ezera akomawo n'abalala okuva mu buwaŋŋanguse 8:1–9:55

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in