1 ABAKORINTO 9
9
Ebigwanira omutume era ne by'ateekwa okukola
1Siri wa ddembe? Siri mutume? Saalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by'omulimu gwe nkolera Mukama? 2Oba nga siri mutume eri abalala, naye eri mmwe ndi mutume, kubanga mmwe kabonero akakakasa nti Mukama yantuma.
3Bino bye nnyanukula abo abanvunaana. 4Tetulina buyinza ku byakulya na byakunywa byaffe? 5Tetulina buyinza okutambulanga n'omukazi owooluganda, ng'abatume abalala, ne Keefa, ne baganda ba Mukama bwe bakola? 6Oba nze nzekka ne Barunaba, ffe tusaana okwekolera? 7Muserikale ki eyali yeesasulidde ebimukolako ng'ali ku lutabaalo? Ani asimba ennimiro y'emizabbibu n'atalya ku bibala byamu? Oba ani alunda ente n'atanywa ku mata gaazo?
8Ebyo mbyogera ku bwange? Etteeka nalyo si bwe ligamba? 9Kubanga kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa nti: “Ente togisibanga mumwa ng'ewuula eŋŋaano.” Olowooza nti Katonda ente z'alumirwa?#Laba ne Ma 25:4; 1 Tim 5:18 10Oba kino akyogera ku lwaffe abantu? Ekyo kyawandiikibwa ku lwaffe, kubanga oyo alima era n'oyo akungula, basaanira okukola omulimu gwabwe nga basuubira okufuna ku bibala.
11Ffe abaabasigamu ebirungi eby'omwoyo, kiba kinene nnyo bwe tukungula ku byammwe ebigasa omubiri?#Laba ne Bar 15:27 12Oba nga abalala balina obuyinza okubifunako, obuyinza obwo si ffe tusinga okuba nabwo?
Naye obuyinza obwo tetubukozesezza, wabula tugumiikiriza byonna, tuleme kuziyiza Mawulire Amalungi aga Kristo. 13Temumanyi nti abo abaweereza mu Ssinzizo balya ku bya mu Ssinzizo, era nga n'abo abaweereza ku alutaari bagabana ku biweebwayo mu kifo ekyo?#Laba ne Ma 18:1 14Era bw'atyo ne Mukama yalagira nti abo abategeeza abantu Amawulire Amalungi basaana okuliisibwa olw'omulimu ogwo.#Laba ne Mat 10:10; Luk 10:7
15Naye nze ebyo sibisabye, era bwe mpandiika kino, sigamba nti binkolerwe, kubanga waakiri nfe okusinga omuntu lw'anzigyako ekyo ekinneenyumiririzisa. 16Bwe ntegeeza abantu Amawulire Amalungi, ekyo tekinneenyumiririzisa, kubanga nteekwa buteekwa okukikola, era ziba zinsanze bwe sitegeeza bantu Amawulire Amalungi. 17Singa ekyo nkikola lwa kweyagalira, nandibadde nsaanira okuweebwa empeera. Naye nga bwe sikikola lwa kweyagalira, nkikola lwa kuba nga Katonda yankwasa omulimu ogwo. 18Kale empeera yange y'eruwa? Empeera yange kwe kutegeeza abantu Amawulire Amalungi nga sisasulwa era nga sirina na kimu kye nsaba olw'omulimu ogwo.
19Newaakubadde nga siri muddu wa muntu n'omu, nafuuka muddu wa bonna, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. 20Mu Bayudaaya nafuuka ng'Omuyudaaya, ndyoke ndeete Abayudaaya. Mu abo abafugibwa amateeka g'Ekiyudaaya, nafuuka nga bo ndyoke mbaleete.
21Mu b'amawanga amalala abatalina mateeka ga Kiyudaaya, nafuuka ng'atagalina, ndyoke ndeete abo abatalina mateeka ago. Kino tekitegeeza nti sikwata mateeka ga Katonda, kubanga nfugibwa amateeka ga Kristo. 22Mu banafu mu kukkiriza nafuuka ng'omunafu, ndyoke mbaleete. Nafuuka byonna eri bonna, ndyoke mbeeko abamu ku bo be ndokola. 23Ebyo byonna mbikola olw'Amawulire Amalungi, ndyoke ngabane ku birungi ebiva mu go.
24Temumanyi nti mu mbiro ez'empaka abadduka baba bangi, naye aweebwa ekirabo abeera omu? Kale muddukenga bwe mutyo, mulyoke muweebwe ekirabo. 25Buli eyeetaba mu mizannyo egy'empaka yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo, balyoke baweebwe engule eyonooneka, naye ffe tuliweebwa engule eteyonooneka.
26N'olwekyo sidduka ng'atalina kye ŋŋenderera. Nnwana naye siri ng'oyo akuba ebbanga. 27Mbonereza omubiri gwange era ngufuga, si kulwa nga mmala okutegeeza abalala Amawulire Amalungi, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.
Currently Selected:
1 ABAKORINTO 9: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.