1
1 ABAKORINTO 9:25-26
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Buli eyeetaba mu mizannyo egy'empaka yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo, balyoke baweebwe engule eyonooneka, naye ffe tuliweebwa engule eteyonooneka. N'olwekyo sidduka ng'atalina kye ŋŋenderera. Nnwana naye siri ng'oyo akuba ebbanga.
Compare
Explore 1 ABAKORINTO 9:25-26
2
1 ABAKORINTO 9:27
Mbonereza omubiri gwange era ngufuga, si kulwa nga mmala okutegeeza abalala Amawulire Amalungi, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.
Explore 1 ABAKORINTO 9:27
3
1 ABAKORINTO 9:24
Temumanyi nti mu mbiro ez'empaka abadduka baba bangi, naye aweebwa ekirabo abeera omu? Kale muddukenga bwe mutyo, mulyoke muweebwe ekirabo.
Explore 1 ABAKORINTO 9:24
4
1 ABAKORINTO 9:22
Mu banafu mu kukkiriza nafuuka ng'omunafu, ndyoke mbaleete. Nafuuka byonna eri bonna, ndyoke mbeeko abamu ku bo be ndokola.
Explore 1 ABAKORINTO 9:22