YouVersion Logo
Search Icon

1 ABAKORINTO 10

10
Okulabula ku bitali Katonda
1Abooluganda, njagala mumanye ebyatuuka ku bajjajjaffe. Bonna baakulemberwanga ekire, era bonna baayita mu nnyanja emmyufu.#Laba ne Kuv 13:21-22; 14:22-29 2Era bonna ng'abagoberezi ba Musa, baabatizibwa mu kire ne mu nnyanja, 3era bonna emmere baalyanga ku emu ey'omwoyo.#Laba ne Kuv 16:35 4Era bonna baanywanga ekyokunywa kimu eky'omwoyo, kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga, era olwazi olwo yali Kristo.#Laba ne Kuv 17:6; Kubal 20:11 5Naye era bangi ku bo, Katonda teyabasiima. Kyebaava bafiira mu ddungu.#Laba ne Kubal 14:29-30
6Ebyo byali bya kutulabula, tulemenga okwegomba ebibi, nga bo bwe baakola.#Laba ne Kubal 11:4 7Temusinzanga ebyo ebitali Katonda, ng'abamu ku bo bwe baakola, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abantu baatuula okulya n'okunywa, ne basituka okuzannya.”#Laba ne Kuv 32:6 8Tulemenga okwenda, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bafa abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu, ku lunaku lumu.#Laba ne Kubal 25:1-18 9Tulemenga kukema Mukama, ng'abamu ku bo bwe baamukema, ne bazikirizibwa emisota.#Laba ne Kubal 21:5-6 10Era tulemenga kwemulugunya, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, malayika n'abatta.#Laba ne Kubal 16:41-49
11Ebyo byonna byabatuukako, biryoke bibe ebyokulabirako, era byawandiikibwa olw'okuyigiriza ffe abaliwo ng'enkomerero eneetera okutuuka. 12Kale oyo alowooza nti ayimiridde, yeegenderezenga aleme okugwa. 13Ebikemo ebibatuuseeko, by'ebyo ebituuka ku bantu bonna. Katonda mwesigwa, era taabalekenga kutuukibwako bikemo bibayitiridde. Era mu kukemebwa, anaabawanga amaanyi ag'okugumira ebikemo, n'amagezi ag'okubiwangula.
14N'olwekyo, mikwano gyange, mwewalenga okusinza ebyo ebitali Katonda. 15Njogera nammwe nga mmanyi nti mutegeera. Kale mulabe kye ŋŋamba. 16Bwe twebaza Katonda olw'ekikopo ekiweebwa omukisa, tuba tetussa kimu n'omusaayi gwa Kristo?#Laba ne Mat 26:26-28; Mak 14:22-24; Luk 22:19-20 17Omugaati guli gumu, era ffe abangi tuli omubiri gumu, kubanga tugabana ku mugaati gumu. 18Kale mulabe ab'eddiini y'Ekiyudaaya kye bakola: abo abalya ebitambiro eby'oku alutaari, tebeetaba wamu ne Katonda aweerezebwa ebitambiro ebyo?#Laba ne Leev 7:6
19Ddala ŋŋamba nti ekyo ekitali Katonda, oba ekyokulya ekiweebwayo eri ebitali Katonda, biriko kye bigasa? 20Nedda temuli mugaso. Kye ŋŋamba kye kino nti ebyo abantu b'ensi bye batambira, babitambirira balubaale, sso si Katonda. Naye saagala mmwe mwetabe na balubaale.#Laba ne Ma 32:17
21Temuyinza kunywa ku kikopo kya Mukama, ne ku kikopo kya balubaale. Temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama, ne ku mmeeza ya balubaale. 22Kale twagala kunyiiza Mukama? Ffe tumusinga amaanyi?#Laba ne Ma 32:21
23Byonna bikkirizibwa, weewaawo, naye si byonna ebigasa. Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebizimba.#Laba ne 1 Kor 6:12 24Walemenga kubaawo afa ku bibye byokka, wabula afenga ne ku by'abalala.
25Buli ekitundibwa mu katale, mukiryanga nga temuliiko kye mubuuza olw'obulungi bw'omwoyo gwammwe. 26Kubanga ensi ne byonna ebigirimu bya Mukama.#Laba ne Zab 24:1
27Atali mukkiriza bw'abayitanga ku kijjulo, ne mukkiriza okugenda, buli kye babaleeteranga okulya, mukiryanga nga temuliiko kye mubuuza olw'obulungi bw'omwoyo gwammwe. 28Naye omuntu bw'abagambanga nti: “Kino kyaweereddwayo eri ebitali Katonda,” temukiryanga olw'oyo abagambye, n'olw'obulungi bw'omwoyo. 29Ŋŋamba lwa bulungi bwa mwoyo gwe, sso si gugwo.
Waliwo ayinza okugamba nti: “Lwaki eddembe lyange likugirwa olw'okweraliikirira kw'omuntu omulala? 30Bwe ndya nga neebazizza Katonda, lwaki nnenyezebwa olw'ekyo kye ndya nga neebazizza?”
31Kale byonna bye munaakolanga, oba kulya oba kunywa, mubikolenga nga mugendereramu kitiibwa kya Katonda. 32Temwesittazanga Bayudaaya, newaakubadde Abayonaani, wadde ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo. 33Mube nga nze agezaako okusanyusa bonna mu buli kye nkola, nga sifa ku bulungi bwange nzekka, wabula ku bwa bangi, balyoke balokolebwe.

Currently Selected:

1 ABAKORINTO 10: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in