1 ABAKORINTO 16
16
Okuyamba abantu ba Katonda
1Kale ebyo ebikwata ku kukuŋŋaanya eby'okuyamba abantu ba Katonda, nammwe mukole nga bwe nalagira ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Galatiya.#Laba ne Bar 15:25-26 2Ku buli lunaku olusooka mu wiiki, buli omu mu mmwe abeeko ky'atereka, okusinziira ku nfuna ye, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize.
3Bwe ndituuka, abo be musiima be ndituma, ne bagenda n'ebbaluwa, ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemu. 4Bwe kirirabika nti kisaanye nange ŋŋende, baligenda nange.
Enteekateeka za Pawulo
5Ndijja gye muli nga mmaze okuyita e Makedooniya, kubanga e Makedooniya gye ndiyita.#Laba ne Bik 19:21 6Era osanga ndibeera nammwe, mpozzi n'okumalirako ddala n'ebiro eby'obutiti, mulyoke munnyambe okwongera olugendo lwange buli gye ndigenda.
7Kaakano ssaagala kubalaba nga mpita buyisi, nsuubira okumala nammwe ebbanga eriwerako, Mukama bw'alisiima. 8Kyokka ndisigala mu Efeso okutuusa ku Pentekoote,#Laba ne Leev 23:15-21; Ma 16:9-11#Laba ne Bik 19:8-10 9kubanga nfunye omukisa munene okukolayo omulimu ogw'omugaso, newaakubadde ng'eriyo abalabe bangi.
10Timoteewo bw'alijja, mulabe nti tabaako ky'atya ng'ali mu mmwe, kubanga akola omulimu gwa Mukama nga nze.#Laba ne 1 Kor 4:17 11N'olwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe, olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi, kubanga nze n'abooluganda tumulindiridde.
12Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apollo, namwegayirira nnyo ajje gye muli ng'ali n'abooluganda abalala, kyokka ye n'atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng'afunye ebbanga.
Ebikomererayo
13Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ba maanyi. 14Byonna bye mukola, mubikozesenga kwagala.
15Abooluganda, mumanyi nti ab'ennyumba ya Siteefano be baasooka okukyuka mu Asiya, era beewaayo okuweereza abantu ba Katonda. Mbeegayirira#Laba ne 1 Kor 1:16 16muwulirenga abantu ng'abo, era na buli omu afuba okukolera awamu nabo.
17Siteefano ne Forutunaato ne Akayiko bwe bajja, nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe. 18Era bansanyusa era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng'abo mubassengamu ekitiibwa.
19Ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Asiya bibalamusizza. Akwila ne Priska, awamu n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekiri mu maka gaabwe, babalamusizza nnyo mu Mukama.#Laba ne Bik 18:2 20Abooluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana.
21Nze Pawulo mbaweerezza okulamusa kuno, kwe mpandiise n'omukono gwange gwennyini. 22Oba nga waliwo atayagala Mukama, avumirirwe. Mukama ajja.
23Mukama waffe Yesu abakwatirwenga ekisa.
24Mwenna mbaagala mu Kristo Yesu. Amiina.
Currently Selected:
1 ABAKORINTO 16: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.