YouVersion Logo
Search Icon

1 ABAKORINTO 11

11
Okubikka ku mitwe mu kusinza
1Mulabire ku nze, nga nze bwe ndabira ku Kristo.#Laba ne 1 Kor 4:16; Baf 3:17 2Mbatendereza olw'okunjijukira mu byonna n'olw'okugoberera byonna nga bwe nabayigiriza. 3Naye njagala mutegeere nti Kristo ye akulira buli muntu, era nti omusajja ye akulira mukazi we, era nti Katonda ye akulira Kristo. 4Kale omusajja bw'aba nga yeegayirira Katonda, oba ng'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda, n'abikka omutwe gwe, aswaza Kristo, Mukama we. 5Kyokka omukazi bw'aba nga yeegayirira Katonda, oba ng'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda, nga tabisse mutwe gwe, aswaza bba; kubanga omukazi oyo aba ng'amwereddwako enviiri. 6Kale omukazi bw'atabikka ku mutwe gwe, asalengako enviiri ze. Naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalako enviiri ze, oba okumwebwa omutwe, kale ateekwa okubikkanga ku mutwe gwe.
7Omusajja ye tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye alaga ekifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda. Kyokka omukazi ye alaga ekitiibwa ky'omusajja,#Laba ne Nta 1:26-27 8kubanga omusajja si ye yatondebwa ng'aggyibwa mu mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa ng'aggyibwa mu musajja.#Laba ne Nta 2:18-23 9Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olw'omusajja.
10Kale olwa bamalayika, omukazi asaanye okubangako akabonero ku mutwe gwe, akalaga nti afugibwa. 11Newaakubadde nga kiri bwe kityo, naye mu Mukama, omukazi tabaawo awatali musajja, n'omusajja tabaawo awatali mukazi, 12kubanga ng'omukazi bwe yatondebwa ng'aggyibwa mu musajja, n'omusajja azaalibwa mukazi; naye byonna biva wa Katonda.
13Nammwe mwennyini mulabe: kisaana omukazi okwegayirira Katonda nga tabisse ku mutwe gwe? 14Embeera y'abantu tebayigiriza nti omusajja okukuza enviiri kimuswaza, 15naye ng'omukazi okuba n'enviiri empanvu kiba kya kitiibwa? Kubanga enviiri ze zaamuweebwa lwa kumubikka. 16Naye bwe wabaawo ayagala okuleeta empaka ku bino, ategeere nti ffe, wadde ab'ebibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo tetulinaayo kirala.
Ekyekiro kya Mukama waffe
(Laba ne Mat 26:26-29; Mak 14:22-25; Luk 22:14-20)
17Mu kino kye mbakubiriza, sibatendereza, kubanga bwe mukuŋŋaana, ebivaamu tebiba birungi, wabula biba bibi. 18Ekisookera ddala, bantegeeza nti bwe mukuŋŋaana mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, mwawukanayawukanamu, era ekyo ku ludda olumu nzikiriza nti bwe kiri, 19kubanga era okwesalaasalamu kuteekwa okubaawo, ab'amazima mu mmwe balyoke bamanyibwe.
20Bwe mukuŋŋaana, ekyo kye mulya tekikyali kya kiro kya Mukama waffe, 21kubanga bwe muba mulya, buli omu alya mmere ye, n'atalinda banne. Abamu baba bakyali bayala, abalala nga batamidde. 22Kale temulina maka ga kuliirangamu na kunywerangamu? Oba munyooma ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, ne muswaza abo abatalina kantu? Mbagambe ki? Mbatendereze olw'ekyo? Nedda, sibatendereza.
23Mukama ye yampa ekyo kye nabayigiriza mmwe nti: Mukama Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yakwata omugaati, 24ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'agamba nti: “Kino gwe mubiri gwange, oguliwo ku lwammwe. Kino mukikolenga olw'okunjijukira.” 25Era bw'atyo bwe yakola ne ku kikopo. Bwe baamala okulya, n'agamba nti: “Ekikopo kino ye ndagaano empya ekoleddwa Katonda, n'ekakasibwa n'omusaayi gwange. Buli lwe munaakinywangako, mukinywengako olw'okunjijukira.”#Laba ne Kuv 24:6-8; Yer 31:31-34 26Buli lwe munaalyanga ku mugaati guno, era buli lwe munaanywanga ku kikopo kino, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama, okutuusa lw'alijja.
27N'olwekyo buli alya ku mugaati guno, oba anywa ku kikopo kya Mukama nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri ne ku musaayi gwa Mukama. 28Kale nno omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati era anywe ku kikopo, 29kubanga buli alya era anywa nga tasaanidde, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga, kubanga aba tategedde makulu ga mubiri gwa Mukama. 30Mu mmwe kyemuvudde mubeeramu bangi abalwadde n'abanafu, era bangi bafudde. 31Naye singa tusooka okwekebera, Katonda teyanditusalidde musango. 32Naye Mukama bw'atusalira omusango, atukangavvula, tuleme okusingibwa omusango awamu n'ensi.
33Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, mulindenga bannammwe. 34Era singa wabaawo alumwa enjala, amalenga okulya ng'akyali eka, okukuŋŋaana kwammwe kuleme okunenyezebwanga. Ebirala, ndibitereeza nga nzize.

Currently Selected:

1 ABAKORINTO 11: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in