Mat 24
24
1Awo Yezu n'ava mu Kiggwa; aba agenda, abayigirizwa be ne basembera w'ali okumulaga enzimba y'Ekiggwa. 2Ye n'abaddamu nti: “Ebyo byonna mubirabye? Mazima mbagamba nti wano tewalisigala jjinja liri ku linnaalyo litalisuulibwa wansi.” 3Bwe yali atudde ku Lusozi lw'Oliva, abayigirizwa be ne basembera w'ali ebbali yekka, ne bagamba nti: “Tubuulire, ebyo biribeerawo ddi, kaluwa akaliba akabonero k'okujja kwo n'ak'enkomerero y'emirembe?”
Okutandika kw'ennaku
4Yezu n'ayanukula n'abagamba nti: “Mwekkaanye, tewabaawo abawubisa. 5Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti: ‘Nze Kristu,’ era baliwubisa bangi. 6Muliwulira entalo, n'eŋŋambo z'entalo. Mwekuume, temwekanganga. Ebyo tebirirema kubaawo; naye yo enkomerero eriba tennatuuka. 7Kubanga eggwanga lirisitukira mu linnaalyo, n'obwakabaka mu bunnaabwo; walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebimu; 8naye ebyo byonna kwe kusookereza kw'okulumwa.
9 #
10,22. “Balibawaayo okubabonyaabonya ne babatta. Amawanga gonna galibakyawa olw'okubeera erinnya lyange. 10Bangi baliterebuka, ne balyaŋŋanamu enkwe, ne bakyawagana. 11Abalanzi ab'obulimba bangi balisituka ne bawubisa bangi. 12Olw'obugwenyufu okugenda nga bweyongera, bangi okwagala kwabwe kulinnyogoga. 13#10,22.Naye aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero alirokoka. 14N'Evangili eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, ng'obukakafu eri amawanga gonna; olwo nno enkomerero n'eryoka etuuka.
Okuzikirizibwa kwa Yeruzaalemu
15 #
Dan 9,27; 11,31; 12,11. “Awo nno #Mar 13,14-23; Luk 21,20-24.bwe muliraba ekyenyinyalwa ekizikiriza, Danyeli omulanzi kye yayogerako, nga kiri mu Kifo Ekitukuvu, asoma bino ategeeranga. 16Olwo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi; 17#Luk 17,31.aliba ku kasolya waggulu takkanga kuggyamu kantu mu nnyumba ye, 18n'alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala munagiro gwe. 19Zibasanze abo abaliba embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! 20Mwegayirire okudduka kwammwe kuleme kutuuka mu budde bwa butiti oba ku Sabbaato. 21#Dan 12,1; Okub 7,14.Kubanga mu nnaku ezo mulibaamu ebibonoobono bingi ebitabangawo okuva mu masooka g'ensi n'okutuusa kati, era tebiribaawo nate. 22Era singa ennaku tezaakendeezebwako, tewandiwonye muntu n'omu; naye, olw'okubeera abalondemu, ennaku ezo zirikendeezebwako.
Amajja g'Omwana w'Omuntu
23“Awo nno bwe wabangawo abagamba nti: ‘Laba, Kristu wuuno wano,’ oba nti: ‘Wuuli wali!’ temukkirizanga. 24Kubanga Bakristu ab'obulimba n'abalanzi ab'obulimba bagenda kusituka; balikola obubonero obunene n'ebyewuunyisa okuwubisa n'ewandibadde abalondemu, singa kiyinzika. 25Laba, mbalabuliddewo. 26#Luk 17,23-24.Awo nno ne bwe babagambanga nti: ‘Wuuli mu ddungu,’ temugendangayo; oba nti: ‘Wuuno wano mu nnyumba,’ temukkirizanga. 27Kubanga ng'ekimyanso bwe kimyansiza ebuvanjuba ne kyaka okutuuka ebugwanjuba, n'okutuuka kw'Omwana w'Omuntu bwe kuliba kutyo. 28#Luk 17,37.Omulambo we gubeera, n'ensega we zirikuŋŋaanira.
29 #
Yis 13,10; 34,4; Ez 32,7; Yowel 2,10.31; Okub 6,12-13. “Amangu ng'ebibonoobono eby'ennaku ezo byakaggwa, enjuba eriddugala, omwezi gulirekayo okwaka, n'emmunyeenye zirigwa okuva ku ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa. 30#Dan 7,3; Zak 12,10-14; Okub 1,7.Awo akabonero k'Omwana w'Omuntu kalirabika ku ggulu; ebika byonna eby'oku nsi ne biryoka bitema ebiwoobe; baliraba Omwana w'Omuntu ng'ajjira ku bire eby'oku ggulu, n'amaanyi mangi, n'ekitiibwa kinene. 31Alituma bamalayika be n'okuvuga kw'ekkondeere okw'amaanyi ne bakuŋŋaanya abalonde be okuva mu njuyi ennya, okuva ku nsonda emu ey'eggulu okutuuka ku ndala.
Okuzikirira kwa Yeruzaalemu
32 #
Mar 13,28-32; Luk 21,29-33. “Mulabire ku mukunyu; ettabi lyagwo bwe lidda obuto, ne lissaako amakoola, mutegeera ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka. 33Nammwe nno, bwe mulabanga ebyo byonna, mumanyanga nti ali kumpi, ku miryango kwennyini. 34Mazima mbagamba nti ezzadde lino teririggwaawo ebyo byonna nga tebinnatuukirira. 35Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
Balinde nga batunula
36“Kyokka olunaku lwennyini oba akadde tewali abimanyi, newandibadde bamalayika mu ggulu, yadde Mwana, wabula Taata yekka. 37#Amas 6,5-8.Ng'obudde #Mar 13,35; Luk 17,26-36.bwa Nowa bwe bwali, bwe guliba ne mu kujja kw'Omwana w'Omuntu. 38Nga bwe gwali mu nnaku ezaakulembera omujjuzi: abantu baali balya, baali banywa, nga bawasa, nga bafumbiza, okutuusa olunaku Nowa lwe yayingira mu kyombo, 39#Amas 7,6-24.ne batamanya, okutuusa omujjuzi lwe gwajja ne gubeerawo bonna, n'okujja kw'Omwana w'Omuntu bwe kuliba bwe kutyo.
40“Abasajja babiri balibeera mu nnimiro, omu alitwalibwa, omulala n'alekebwa. 41Abakazi babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa, omulala n'alekebwa. 42Awo nno mutunule, kubanga temumanyi lunaku ki Mukama wammwe lw'alituukirako. 43#1 Tes 5,2; 2 Pet 3,10.Mumanye #Luk 12,39-40.na kino nti singa nnannyinimu yali ategedde akaseera omubbi k'anajjiramu, yanditunudde, n'ataganya nnyumba ye kumenyebwa. 44Nammwe nno mwetegekenga, kubanga Omwana w'Omuntu alijja mu kaseera ke mutalowooza.
45“Awo nno ye ani oyo omuweereza omwesigwa era omwegendereza mukama we gwe yassa ku b'omu nnyumba ye okubawa emmere akadde nga katuuse? 46Omuweereza oyo yeesiimye mukama we bw'alijja amala amusanga ng'akola bw'atyo! 47Mazima mbagamba nti alimussa ku bibye byonna. 48Naye singa omuweereza omubi oyo agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aludde,’ 49n'asooka okukuba baweereza banne, n'alya, n'anywa n'abatamiivu, 50mukama w'omuweereza oyo alijja ku lunaku lw'atamusuubira ne mu kaseera k'atamanyi. 51Alimubonereza nnyo,#24,51 Oba: alimukutulako; alimutemaatema. n'amuteeka n'abakuusa, eyo awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.”
Olugero lw'abawala ekkumi
Currently Selected:
Mat 24: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.