YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 26

26
1Agrippa n'agamba Pawulo nti: “Okkirizibwa okweyogerera.” Awo Pawulo n'agolola omukono n'awa empoza ye nti: 2“Kabaka Agrippa, neesiimye okuba nga ŋŋenda kuwoleza mu maaso go olwa leero ebyo byonna Abayudaaya bye banvunaana, 3kubanga omanyi bulungi empisa z'Abayudaaya zonna n'empaka zaabwe; kyenva nkwegayirira ompulirize n'obugumiikiriza.
4“Engeri gye nayisangamu okuva mu buvubuka olubereberye mu ggwanga lyange ne mu Yeruzaalemu emanyiddwa Abayudaaya bonna. 5Singa baagala, bandinjulidde, bamanyidde ddala nti okuva edda mbadde neeyisa ng'Omufarisaayo, nga ngoberera ekibiina ekisinga obukakali mu ddiini yaffe. 6Kaakano nnyimiridde wano okuwoza olw'okubeera okusuubira mu ebyo Katonda bye yasuubiza bajjajjaffe; 7ebyo ebika byaffe ekkumi n'ebibiri bye bisuubira okufuna, kyebiva binyiikira okwegayirira ekiro n'emisana. Olw'okusuubira okwo, ayi Kabaka, Abayudaaya kwe basinzidde okumpawaabira. 8Lwaki muzibuwalirwa okukkiriza nti Katonda azuukiza abafu?
9 # 8,3; 23,4-5. “Wamma #9,1-8; 22,4-16.ggwe nange nasooka kulowooza nga nteekwa okukola ebingi okuwakanya erinnya lya Yezu ow'e Nazareti. 10Ekyo nakikola e Yeruzaalemu, ne nzisa bangi abatuukirivu mu kkomera n'obuyinza okuva eri bakabona abakulu. Ate bwe baabanga battibwa, nange nga nkisemba. 11Nababonerezanga mu sinaagooga zonna emirundi mingi, ne mbawaliriza okuvuma Katonda, ate bwe neeyongera okubakwatirwa obusungu, ne mbayigganya ne mu bibuga eby'ebweru.
12“Bwe ntyo ne ŋŋenda e Damasiko nga nnina obuyinza n'olukusa okuva eri bakabona abakulu. 13Mu ttuntu, ayi Kabaka, mu kkubo ne ndaba ekitangaala ekiva mu ggulu nga kyakaayakana n'okusinga enjuba, ne kyaka okunneetooloola n'abaali nange. 14Ffenna ne tugwa ku ttaka; ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba mu Lwebureeyi nti: ‘Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya? Ozibuwalirwa okusamba ekikato?’#26,14 Lugero lwa Kigereeki; lutegeeza: Lwaki weetawaanyiza obwereere; lwaki ogeezako okukola ekitasoboka? 15Ne ŋŋamba nti: ‘Ggwe ani, Mukama?’ Omukama n'addamu nti: ‘Nze Yezu gw'oyigganya. 16#Ez 2,1.3.Kale golokoka, oyimirire ku bigere byo, kubanga nkulabikidde lwa nsonga eno, nkufuule omubaka n'omujulirwa w'ebyo by'olabye n'ebyo bye nnaakulaga. 17Nzija kukutaasa ku b'eggwanga lyo ne ku b'amawanga gye nkutuma, 18#Yis 42,7.16.ozibule amaaso gaabwe, balyoke bave mu kizikiza badde mu kitangaala; bave mu buyinza bwa Sitaani badde mu bwa Katonda, bafune ekisonyiwo ky'ebibi byabwe n'omugabo wamu n'abo abatukuzibwa olw'okunzikiriza.’
19“Awo nno, ayi Kabaka Agrippa, saatenguwa kulabikirwa okwava mu ggulu. 20#9,20.28-29.Nasooka kuyigiriza ba mu Damasiko, ne nzizaako ab'omu Yeruzaalemu, ne mu Buyudaaya wonna, ne mu b'amawanga, babonerere, badde eri Katonda nga bakola ebikolwa ebigya mu kubonerera kwabwe. 21Olw'ensonga eyo Abayudaaya kyebaava bankwatira mu Kiggwa, ne baagala okunzita. 22Naye Katonda yambeera n'okutuusa ku lunaku lwa leero, bwe ntyo nkyayigiriza bonna, omuto n'omukulu, nga sibabuulira kirala wabula ebyo abalanzi ne Musa bye baagamba nti birituukirira: 23#Yis 42,6; 49,6; 1 Kor 15,20.nti Kristu yali wa kubonaabona, ate olw'okubeera omubereberye mu kuzuukira mu bafu, alirangirira ekitangaala eri abantu n'eri ab'amawanga.”
24Yali akyawoza, Festo n'ayogera mu ddoboozi ekkangufu nti: “Pawulo, olaluse. Okuyiga ebingi kukusudde eddalu.” 25Naye Pawulo n'agamba nti: “Oweekitiibwa Festo, sinnalaluka. Bye njogera ge mazima era bigambo bya magezi. 26Kabaka bino abimanyi; mbimubuulira nga sitya; nkakasa nga mu ebyo tewali ky'amukisibwa, kino tekyakolebwa mu nkiso. 27Kabaka Agrippa, okkiriza abalanzi? Mmanyi ng'okkiriza.” 28Agrippa n'agamba Pawulo nti: “Mu kabanga akatono ompooyawooya onfuule Omukristu!” 29Pawulo n'addamu nti: “Oba akabanga katono, oba kanene, si nsonga; kino kye nsaba Katonda nti: si ggwe wekka, naye n'abo bonna abampuliriza olwa leero, bafuuke nga nze bwe ndi, mpozzi okuggyako enjegere zino.”
30Awo kabaka n'ayimuka, n'owessaza ne Berunike, era n'abalala bonna abaali batudde nabo. 31Bwe badda ebbali, ne bagambagana nti: “Omusajja oyo tewali ky'akola kimugwanyiza kufa oba kusibibwa.” 32Agrippa n'agamba Festo nti: “Omusajja ono yanditeereddwa taba kubeera nga yajulira ewa Kayisari.”
Pawulo atwalibwa e Roma

Currently Selected:

Ebik 26: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in