YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 25

25
1Festo bwe yatuuka mu ssaza lye, oluvannyuma lw'ennaku ssatu, n'ava e Kayisariya n'ayambuka e Yeruzaalemu. 2Bakabona abakulu n'abantu abakulu ab'Abayudaaya ne bamuloopera Pawulo. Ne bamwegayirira 3abakolere ekisa, amusindike e Yeruzaalemu, sso nga baali bakola lukwe kumuttira mu kkubo. 4Festo n'addamu nti Pawulo akuumirwa Kayisariya ate naye ng'anaatera okugendayo. 5N'agamba nti: “Awo nno abalina obuyinza mu mmwe bajje tuserengete wamu; oba aliko omusango gwonna, bamulumirize.”
6Bwe yamala nabo ennaku ezitasssuka munaana oba kkumi, n'akkirira nabo e Kayisariya. Ku lunaku olwaddako, n'atuula ku ntebe y'obulamuzi, n'alagira Pawulo aleetebwe 7Bwe yatuuka, Abayudaaya abaali bavudde e Yeruzaalemu, ne bamwebungulula nga bamuvunaana ensonga nnyingi ate ennene, naye nga tebasobola kuzikakasa. 8Pawulo mu kwewozaako n'agamba nti: “Nze Etteeka sirikolanga kibi, wadde okukikola Ekiggwa oba Kayisari.” 9Naye Festo n'ayagala okusanyusa Abayudaaya, n'agamba Pawulo nti: “Okkiriza okwambuka e Yeruzaalemu owozesebwe eyo ku ebyo mu maaso gange?” 10Pawulo n'agamba nti: “Nnyimiridde mu maaso g'entebe y'obulamuzi eya Kayisari we nnina okuwozesebwa. Abayudaaya sibasobyanga, nga naawe bw'omanyidde ddala. 11Obanga nasobya, obanga nnina kye nakola ekiŋŋwanyiza okufa, kale sigaana kufa. Naye obanga bano bye banvunaana temuli kantu, mpaawo muntu anampaayo gye bali. Njulidde Kayisari.” 12Awo Festo bwe yamala okuteesaamu n'olukiiko, n'addamu nti: “Ojulidde Kayisari, kale ewa Kayisari gy'onoogenda.”
Pawulo ayanjulibwa ewa kabaka Agrippa
13Nga wayiseewo ennaku, kabaka Agrippa ne Berunike ne bajja e Kayisariya okulamusa ku Festo. 14Nga bamazeeyo ennaku nnyingiko, Festo n'ayanjulira kabaka ensonga za Pawulo, n'agamba nti: “Wano waliwo omusajja Felikisi gwe yaleka mu kkomera nga musibe. 15Bwe nali e Yeruzaalemu, bakabona abakulu n'abakadde ab'Abayudaaya bambuulira ku ye, ne banneegayirira okumusalira omusango. 16Ne mbaddamu nti eyo si mpisa ya Baroma okuwaayo oli ng'omuwawaabirwa tannasisinkana maaso ku maaso n'abamuwawaabira, era nga tannaweebwa mukisa kwewozaako ku ebyo ebimuwawaabirwa. 17Bwe baakuŋŋaanira wano, saabandaala, ku lunaku olwaddako, ne ntuula ku ntebe y'obulamuzi, ne ndagira omusajja bamuleete. 18Abawaabi bwe beesimbawo, tebaaleeta nsonga ya bumenyi bwa mateeka nga nze bwe nali nnindiridde. 19Wabula baalina nkaayana naye ku ddiini yaabwe ne ku Yezu omu mbu eyafa, naye Pawulo gwe yali akakasa nti mulamu. 20Nze bwe nasoberwa ku ngeri y'okubuulirizaamu ku bino, ne mmubuuza obanga akkiriza okugenda e Yeruzaalemu n'okuwozesebwa eyo ku ebyo. 21Ye Pawulo n'asaba akuumirwe mu busibe okutuusa Kabaka Omutiibwa lw'aliwa ensala ye. Ne mmulagira akuumibwe okutuusa lwe ndimuweereza ewa Kayisari.” 22Agrippa n'agamba Festo nti: “Nange nandyagadde okuwulira ku musajja oyo yennyini.” Festo n'agamba nti: “Kale, enkya onoomuwulira.”
23Enkeera, Agrippa ne Berunike, ne bajja mu kitiibwa kinene, ne bayingira mu masengere nga bali n'abakulu b'abaserikale n'abakulu b'ekibuga. Festo n'alagira ne baleeta Pawulo. 24Festo n'agamba nti: “Agrippa Kabaka, nammwe mwenna abasajja abakuŋŋaanye wano naffe, omusajja ono mumulabye, Abayudaaya bonna gwe bansaba e Yeruzaalemu na wano, nga baleekaana nti tasaanye kusigala nga mulamu. 25Naye nze nasanga nga taliiko kye yakola kimugwanyiza kufa, naye kubanga yajulira Kabaka Omutiibwa, nange nakkiriza okumuweerezaayo. 26Naye nno, siraba bikakafu ku ye bye mpandiikira mukama wange; kyenvudde mmuleeta mu maaso gammwe, naddala mu maaso go, Kabaka Agrippa, ng'amaze okubuuzibwa, nfune kye mpandiika. 27Anti ndowooza nga tekiriimu makulu okuweereza omusibe n'ototegeeza bimuvunaanibwa.”
Pawulo awoza mu maaso ga Agrippa

Currently Selected:

Ebik 25: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in