Ebik 24
24
1Bwe waayitawo ennaku ttaano, kabona omukulu n'aserengeta n'abakadde abamu, ne munnamateeka omu Terutullo. Ne bayanjulira owessaza ensonga zaabwe ku Pawulo. 2Bwe yayitibwa, Teritullo n'atandika okumuwawaabira, n'agamba nti: “Tufunye emirembe mingi olw'okubeera ggwe, era mu bantu bo bingi biruŋŋamye olw'obulabalaba bwo; 3bulijjo na buli wantu, tubifuna n'okusiima kwonna, ayi Felikisi Omutiibwa. 4Naye obutakulwisa, nkwegayiridde olw'ekisa kyo tuwulirizeeko katono. 5Tusanze omusajja oyo nga kawumpuli mulamba, omuleesi w'obwegugungo mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, era lukulwe w'ekibiina ekijeemu ekya Banazireewo. 6Yageza okwonoona Ekiggwa, ne tumukwata.#24,6 Ezimu zongerako: …ne twagala okumuwozesa okusinziira ku mateeka gaffe. 7 Naye Lisiya omukulu w'abaserikale n'ajja n'amutuggya mu ngalo n'amaanyi. 8a N'alagira abaamuwawaabira bajje gy'oli. 8Naawe bw'onoobuuza, ojja kumanya byonna bye tumuvunaana.” 9N'abayudaaya ne bamuwagira, nga bakakasa nti ddala ebintu bwe bityo bwe biri.
10Owessaza bwe yamutemyako okwogera, n'agamba nti: “Kubanga mmanyi ng'omaze emyaka mingi ng'olamula eggwanga lino, nzija kwewolereza nga ndi musanyufu. 11Naawe nga bw'oyinza okumanya, ennaku zaakayita kkumi na bbiri zokka okuva lwe nayambuka e Yeruzaalemu okusoma. 12Abo tebansanganga nga mpakana n'omuntu n'omu, obanga ngugunga ekibiina mu Kiggwa oba mu sinaagooga, oba mu kibuga. 13N'ebyo bye banvunaana kati, tewali na kimu kye bayinza kukuwaako bukakafu. 14Naye kino kye nkukakasaamu, nti Ekkubo, bo lye bayita ekibiina ekijeemu, mwe mpeerereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna nga bwe biri mu Tteeka oba nga bwe byawandiikibwa mu Balanzi, 15n'essuubi lye nnina mu Katonda nabo lye balina nti abatuukirivu n'abatali batuukirivu balizuukira. 16Mu ebyo nfaabiina okuba n'emmeeme entereevu mu maaso ga Katonda n'ag'abantu. 17#21,17-28.Nga wayiseewo emyaka, najja okuleetera eggwanga lyange obuyambi n'ebitone. 18Ekyo kye nali nkola we bansangira mu Kiggwa nga neetukuza, tewaali kibiina yadde akajagalalo, wabula Abayudaaya abamu ab'omu Aziya, 19bandibadde mu maaso go ne bannumiriza, obanga baliko kye banvunaana. 20Yadde bano bennyini oba bandabamu ekibi lwe nayimirira mu lukiiko, boogere; 21#23,6.wabula mpozzi ekigambo kino kye naleekaana nga mbayimiriddemu wakati, nti: ‘Olw'ensonga y'okuzuukira kw'abafu kyenvudde nnyimirira wano mu maaso gammwe okuwozesebwa.’ ”
Pawulo mu busibe e Kayisariya
22Naye Felikisi eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n'agira ng'abayimiriza ng'agamba nti: “Lisiya omukulu w'abaserikale bw'alijja eno, ndiwa ensala yange ku nsonga zammwe.” 23N'alagira senturiyo okumukuuma, wabula ng'alekerwa eddembe, n'obutaziyiza n'omu ku babe kujja kumulabirira. 24Ennaku ne ziyitawo ntono, Felikisi n'ajja ne Durusilla mukazi we eyali Omuyudaaya, n'atumya Pawulo, n'amuwuliriza ng'ayogera ku kukkiriza Kristu Yezu. 25Naye bwe yatandika okwogera ku butuukirivu, ku kwetangira ne ku kulamulibwa okujja, Felikisi ne yeekanga, n'agamba nti: “Kaakano ogira ogenda; bwe ndifuna akadde, ndikutumira.” 26Yali mu kaseera ke kamu asuubira nga Pawulo anaamuwa ku ssente, kyeyavanga amutumya olunye, n'anyumya naye. 27Emyaka ebiri bwe gyayitawo, Felikisi n'asikirwa Porikiyo Festo; Felikisi olw'okwagala okusanyusa Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe.
Pawulo ajulira ewa Kayisari
Currently Selected:
Ebik 24: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.