YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 23

23
1Pawulo, amaaso ng'agasimbye abaali mu lukiiko, n'agamba nti: “Basajja abooluganda, nze n'okutuusa ku lunaku lwa leero mbadde neeyisa mu maaso ga Katonda n'emmeeme entereevu.” 2Awo Ananiya kabona omukulu n'alagira abaamuli okumpi okumukuba emimwa. 3#Mat 23,27-28.Pawulo n'amugamba nti: “Naawe Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekimaale ennoni!#23,3 Ekisenge ekimaale n'ennoni: kitegeeza amalaalo amamaale n'ennoni, mayonjo kungulu naye munda ŋŋumbagumba. Otudde okunnamula ng'osinziira mu Tteeka, ate n'olagira okunkuba, ekintu ekikontana n'Etteeka?” 4Abaali bayimiridde awo ne bagamba nti: “Ggwe ovuma kabona wa Katonda omukulu?” 5#Okuv 22,28.Pawulo n'abagamba nti: “Abooluganda, mbadde simanyi nga ye kabona omukulu; kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Toyogeranga bubi ku mufuzi w'abantu bo?’ ”
6 # 26,5; Fil 3,5. Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu kya Basaddukaayo ate ekirala kya Bafarisaayo, n'ayogera n'eddoboozi ddene mu lukiiko nti: “Abooluganda, nze ndi Mufarisaayo, omwana w'Abafarisaayo; mpozesebwa olw'ensonga y'okusuubira n'okuzuukira kw'abafu.” 7Bwe yasirissa ebyo, ne wasituka empaka wakati w'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo; ekibiina ne kyesalamu. 8#Mat 22,23; Mar 12,18; Luk 20,27.Kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, newandibadde malayika, newandibadde omwoyo; sso ng'Abafarisaayo bakkiriza byonna. 9Ne wabaawo oluyoogaano lunene. Abamu ku bawandiisi b'ekibiina ky'Abafarisaayo ne bayimirira, ne bawakana nga bagamba nti: “Tetulaba nsobi mu muntu ono; oboolyawo mwoyo gwe gwayogedde naye, oba malayika?” 10Empaka bwe zeeyongera okukaalaama, omukulu w'abaserikale, olw'okutya nti Pawulo bayinza okumutaagulataagula, n'alagira abaserikale okukka, bamubaggyeko, bamuyingize mu kigo.
11Mu kiro ekyaddirira, Omukama n'ayimirira w'ali n'amugamba nti: “Guma; kubanga nga bw'onjulidde mu Yeruzaalemu, bw'olinjulira ne mu Roma.”
Abayudaaya beekoba okutta Pawulo
12Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne bakuŋŋaana, ne bakola olukwe, ne balayira obutalya n'obutanywa nga tebannatta Pawulo. 13Abeekoba bwe batyo baali ng'amakumi ana n'okusoba. 14Ne bagenda eri bakabona abakulu n'abakadde, ne bagamba nti: “Twerayiridde obutakomba ku kantu nga tetunnatta Pawulo. 15Awo nno kaakano mmwe n'olukiiko mutegeeze omukulu w'abaserikale amubaweereze, ng'abagenda okwekkanya ensonga ze n'obwegendereza okusingawo. Ffe twetegese okumutta nga tannatuuka.”
16Mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yawulira ku kumuteega, n'agenda, n'ayingira mu kigo, n'abuulira Pawulo. 17Pawulo n'ayita omu ku basenturiyo, n'agamba nti: “Omulenzi ono mutwale eri omukulu w'abaserikale; alina ky'ayagala okumugamba.” 18Oli n'amuddira n'amutwala eri omukulu w'abaserikale, n'agamba nti: “Pawulo omusibe ampise n'ansaba nkuleetere omulenzi ono, aliko ky'ayagala okukugamba.” 19Omukulu w'abaserikale n'amukwata ku mukono n'amuzza ku bbali, n'amubuuza nga bali bokka nti: “Kiki ky'oyagala okuŋŋamba?” 20N'agamba nti: “Abayudaaya bateesezza okukusaba oleete Pawulo mu lukiiko enkya, nga beefaananya ng'abaliko kye beetaaga okumwekkaanyaako okusingawo. 21Ggwe tobakkiriza, kubanga waliwo abasajja amakumi ana n'okusoba abamuteeze; beerayiridde obutalya yadde okunywa nga tebannamutta. Era na kati beeteeseteese nga balindirira ky'onoosuubiza.” 22Omukulu w'abaserikale n'asiibula omulenzi, nga bw'amukuutira nti: “Tobaako gw'ogamba nti kino okintegezezzaako.”
23N'ayita babiri ku basenturiyo, n'abagamba nti: “Ku ssaawa eyookusatu ey'ekiro, mutegeke abaserikale ebikumi bibiri, n'ab'embalaasi nsanvu n'ab'amafumu ebikumi bibiri, bagende okutuukira ddala e Kayisariya. 24Era musseewo n'embalaasi kwe banaatwalira Pawulo, bamutuuse bulungi ewa Felikisi owessaza. 25N'awandiika n'ebbaluwa ng'erimu ebigambo bino:
26“Kulawudiyo Lisiya, eri Omutiibwa Owessaza Felikisi, nkulamusizza. 27Omusajja ono Abayudaaya baamukwata; baali bagenda okumutta, ne mbasanga nga ndi n'abaserikale, bwe nategeera nga Muroma, ne mmuwonya. 28Nze olw'okwagala okumanya ensonga gye bamuvunaana, ne mmutwala mu lukiiko lwabwe. 29Ne nzuula nga bamuwawaabira lwa bigambo bya mateeka gaabwe, naye nga taliiko kimuwawaabirwa kimussisa, yadde kimusibisa. 30Bwe banzibiddeko ku lukwe lwe bamusalidde, kwe kumusindika gy'oli amangu ago. Ne ndagira abamuwawaabira bajje basimbe ensonga ze bamulinako w'oli.”
31Abaserikale ne batwala Pawulo ekiro e Antipaturi, nga bwe baali balagiddwa. 32Ate enkeera ne baddayo mu kigo, ne bamulekera ab'embalaasi bagende naye. 33Bwe baatuuka e Kayisariya, ne bakwasa owessaza ebbaluwa, ne Pawulo ne bamumussa mu maaso. 34Bwe yagisoma, n'abuuza essaza gy'ava. Bwe yamanya nga wa mu Silisiya, 35n'agamba nti: “Ndikuwulira ng'abakuwawaabira bazze.” N'amulagira akuumirwe mu Purayitoriyo ya Erode.
Pawulo awoza mu maaso ga Felikisi

Currently Selected:

Ebik 23: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in