YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 22

22
1“Basajja abooluganda, bakitange, mumpulirize nga neewozaako gye muli kati.” 2Bwe baawulira ng'ayogera gye bali mu Lwebureeyi, ne bongera okusirika. N'agamba nti: 3#5,34-39.“Nze ndi musajja Muyudaaya; nazaalibwa Taruso eky'omu Silisiya, ne nkulira mu kibuga kino ku bigere bya Gamalyeli, ne ŋŋunjulibwa mu butuufu ddala ng'amateeka ga bajjajjaffe bwe gali, era ne ntakabanira Katonda nga nammwe mwenna bwe mukola kati. 4#8,3; 26,9-11.Ekkubo eryo ne ndiyigganya okutuusa ne ku kutta, nga nsiba, nga ntwala mu makomera abasajja n'abakazi, 5nga kabona omukulu bw'ayinza okunjulira n'olukiiko lwonna olw'abakadde. Bo bankwasa ebbaluwa nzitwale mu booluganda, ne ŋŋenda e Damasiko nzigyeyo abaali eyo, mbaleete e Yeruzaalemu nga basibe, babonerezebwe.
6“Bwe nali ntambula, nga ndi kumpi n'okutuuka e Damasiko, nga mu ttuntu, amangu ago ne ndabira awo ekitangaala ekinene nga kyaka okuva mu ggulu, ne kinneebungulula, 7ne ngwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti: ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?’ 8Nze ne nziramu nti: ‘Ggwe ani, Mukama?’ N'anziramu nti: ‘Nze Yezu ow'e Nazareti gw'oyigganya.’ 9Abaali nange ekitangaala baakiraba, naye eddoboozi ly'oyo eyali ayogera nange tebaaliwulira. 10Ne ŋŋamba nti: ‘Nkole ki, Mukama?’ Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Situka, ogende mu Damasiko; eyo gy'onoobuulirwa byonna by'otegekeddwa okukola.’ 11Kubanga nali sikyalaba olw'ekitangaala ekyo ekiyitirivu, abaali nange ne bankwata ku mukono ne bantwala, ne ntuuka mu Damasiko.
12“Awo omusajja omu Ananiya, omusajja omusomi okulabira ku Tteeka, ayogerwako obulungi Abayudaaya bonna ab'eyo, 13n'ajja gye ndi, n'ayimirira kumpi nange, n'aŋŋamba nti: ‘Sawulo owooluganda, ddamu okutunula.’ Amangu ago ne nziramu okutunula, ne mmulaba. 14N'agamba nti: ‘Katonda wa bajjajjaffe yakulonderawo omanye ky'ayagala, era olabe ne ku Mutuukirivu, owulire eddoboozi eriva mu kamwe ke. 15Kubanga olibeera mujulirwa we mu bantu bonna ku byonna by'olabye ne by'owulidde. 16Ye ate kati okyalinda ki? Situka obatizibwe, weenaazeeko ebibi byo ng'oyatula erinnya lye.’
17“Nga mmaze okudda mu Yeruzaalemu, bwe nali neegayirira mu Kiggwa, ne mbulawo mu mwoyo, 18ne mmulaba ng'aŋŋamba nti: ‘Yanguwa ove mu Yeruzaalemu kubanga tebajja kukkiriza by'onjulirako.’ 19Ne ŋŋamba nti: ‘Ayi Mukama nabo bamanyi nga mu buli sinaagooga abakukkiriza nabasuulanga mu makomera, ne mbakuba. 20#7,58.N'omusaayi gwa Stefano omujulizi wo bwe gwali guyiibwa, nange era nali awo, ne nkakasa, ne nkuuma n'ebyambalo by'abo abaamutta.’ 21N'aŋŋamba nti: ‘Genda; nkusindise mu b'amawanga abali ewala eyo.’ ”
Pawulo Omuroma
22Ne bamuwuliriza okutuusa ku kigambo ekyo; awo ne bakangula amaloboozi gaabwe, ne bagamba nti: “Ow'engeri eyo muggye ku nsi. Kubanga tasaanye na kubeera mulamu.” 23Bwe baali bakyawowoggana, nga bayuza ebyambalo byabwe, nga bafuumuula enfuufu mu bbanga, 24omukulu w'abaserikale n'alagira okumuyingiza mu kigo n'okumukuba enkoba, alyoke amanye ensonga ebaleekaanya batyo olw'okubeera ye. 25Bwe baamala okumuswanyuula, Pawulo n'agamba senturiyo eyali amuyimiridde okumpi nti: “Mukkirizibwa okukuba omusajja Omuroma, atannasalirwa na musango?” 26Senturiyo bwe yawulira ebyo, n'agenda eri omukulu w'abaserikale n'amugamba nti: “Ogenda kukola ki? Ono omusajja Muroma.” 27Omukulu w'abaserikale n'ajja, n'amugamba nti: “Mbuulira, oli Muroma?” N'agamba nti: “Yee.” 28Omukulu w'abaserikale n'addamu nti: “Obutuuze obwo nabugula omuwendo munene.” Pawulo n'addamu nti: “Nze nno nazaalibwa ndi Muroma.” 29Amangu ago abaali bagenda okumwekebejja ne bamuvaako. Omukulu w'abaserikale yennyini bwe yategeera nga Muroma, ate nga yali amusibye, n'atya.
Pawulo bamusimba mu lukiiko olukulu
30Enkeera, olw'okwagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya kwe baali basinziira okumuvunaana, n'amusumulula, n'alagira bakabona abakulu n'olukiiko lwonna olukulu okukuŋŋaana; n'aleeta Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe.

Currently Selected:

Ebik 22: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in