Ebik 21
21
1Bwe twamala okubaawukanako, ne tuvugira ddala butereevu, ne tutuuka mu Kosi. Olwaddako, ne tutuuka e Rodo; eyo gye twava ne tulaga e Patara. 2Bwe twasanga eryato eriraga mu Fenisiya, ne tusaabala, ne tugenda. 3Bwe twamala okwerula Kupuro, ne tukireka ku gwa kkono, ne tulaga mu Siriya, ne tugoba e Tiiro; kubanga eyo eryato gye lyali lijja okutikkulirako ebintu. 4Bwe twamala okuzuula abayigirizwa, ne tumalayo ennaku musanvu. Mu Mwoyo ne bagamba Pawulo aleke kwambuka Yeruzaalemu. 5Ennaku zaffe bwe zaggwaako, ne tusitula twongere olugendo lwaffe; bonna n'abakazi n'abaana, ne batuwerekera okutuusa nga batumazizzaako ekibuga kyabwe. Ne tufukamira ku lubalama, ne twegayirira, ne tusiibulagana. 6Ne tusaabala mu lyato, bo ne baddayo eka. 7Bwe twamaliriza olugendo lw'ennyanja olwatuggya e Tiiro, ne tugoba e Putolemayi. Ne tulamusa ku booluganda, ne tumala nabo olunaku lumu.
Pawulo e Kayisariya
8 #
6,5; 8,5. Enkeera ne tusitula, ne tugenda e Kayisariya; ne tuyingira mu nnyumba ya Filippo omuyigiriza w'Evangili eyali omu ku Musanvu, ne tusigala naye. 9Yalina bawala be bana embeerera abaalanganga. 10#11,28.Twali twakamalawo ennaku ntono, ne watuukawo omulanzi, erinnya lye Agabo, ng'avudde engulu mu Buyudaaya. 11Bwe yatutuukako, n'akwata ekimyu kya Pawulo ne yeesiba ebigere n'emikono ng'agamba nti: “Mwoyo Mutuukirivu bw'ati bw'agamba, nti: ‘Omusajja nnannyini musipi guno Abayudaaya bwe bajja okumukola bati mu Yeruzaalemu, bamuweeyo mu mikono gy'ab'amawanga.’ ” 12Bwe twawulira ebyo, ffe n'abatuuze b'awo ne tumwegayirira aleme kwambuka Yeruzaalemu. 13Pawulo n'addamu nti: “Mubadde mutya okukaaba n'okuntengula omutima? Manyanga nze neetegese si kusibibwa kyokka, naye n'okufiira mu Yeruzaalemu olw'erinnya lya Yezu Kristu.” 14Bwe twalemwa okumukkirizisa, ne tubivaako, ne tugamba nti: “Omukama ky'ayagala kikolebwe.”
15Oluvannyuma lw'ennaku ezo, ne twetegeka, ne twambuka e Yeruzaalemu. 16Abayigirizwa abamu ab'e Kayisariya baagenda naffe, ne batutuusiza ddala ku nnyumba ya Munasoni ow'e Kupuro, omu ku bayigirizwa abaasooka, tusulenga ew'oyo.
Pawulo mu Yeruzaalemu ewa Yakobo
17Bwe twatuuka e Yeruzaalemu, abooluganda ne batwaniriza n'essanyu. 18Enkeera Pawulo n'agenda naffe ewa Yakobo; n'abakadde bonna bajja. 19Bwe yamala okubalamusa, n'abanyumiza byonna kinnakimu Katonda bye yakola mu b'amawanga olw'emirimo gye. 20Bo bwe baawulira, ne bagulumiza Katonda, ne bamugamba nti: “Owooluganda, naawe olaba nga waliwo nkumi na nkumi mu Buyudaaya abakkiriza, naye bonna nga bakyatakabanira Etteeka. 21Sso baababuulirako ku ggwe nti Abayudaaya abali mu mawanga obayigiriza okwawukana ku Musa, ng'obagamba obutatayirira baana baabwe n'obutagoberera bulombolombo. 22Kale tukole tutya? Kyo kituufu bajja kuwulira nti ozze. 23#Emiw 6,13-21.Awo nno kola kino kye tukugamba: tulina wano abantu bana abaakuba obweyamo. 24Baddire ogende weetukuze nabo, obasasulire n'ebisale, basobole okumwebwa emitwe. Bonna lwe banaamanya ng'ebyo bye bawulira ku ggwe si bituufu, wabula nga naawe mu mpisa ogoberera Etteeka. 25#15,29.Naye bo ab'amawanga abakkiriza, twabawandiikira ku kye twateesa nti beewale ebiwongeddwa balubaale, omusaayi, ensolo entuge n'obwenzi.” 26Pawulo n'atwala abasajja, ku lunaku olwaddako ne yeetukuza nabo, n'ayingira mu Kiggwa okutegeeza ennaku ze banaamala mu kwetukuza, n'ekitone lwe kinaaweerezebwa ku lwabwe kinnoomu.
IV. PAWULO MU BUSIBE
Pawulo akwatibwa
27Naye ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okuggwaako, Abayudaaya ab'omu Aziya bwe baamulaba mu Kiggwa, ne basasamaza ekibiina kyonna, ne bamukwata 28nga bwe baleekaana nti: “Abasajja Abayisirayeli, mutuyambe. Ono ye musajja ayigiriza obubi abantu buli wantu ku ggwanga, Etteeka n'ekifo kino. Ate yayingizizza n'Abagereeki mu Kiggwa, era ajaajaamizza ekifo kino ekitukuvu.” 29#20,4.Mu kusooka baali balabye Turofimo ow'omu Efezi ng'ali naye mu kibuga, ne balowooza nti Pawulo y'amuyingizizza mu Kiggwa. 30Ekibuga kyonna ne kigugumuka, abantu bonna ne badduka wamu, ne bakwata Pawulo, ne bamuwalaawala okumufulumya mu Kiggwa; amangu ago enzigi ne ziggalibwa. 31Baali bakyayiiya ag'okumutta, ne babuulira omukulu w'abaserikale nti Yeruzaalemu kyali mu katabanguko. 32Mangu ddala n'alondamu abaserikale ne basenturiyo, n'akkirira bunnambiro gye bali. Bwe baalaba omukulu w'abaserikale n'abaserikale, ne balekera awo okukuba Pawulo. 33Omukulu w'abaserikale n'asembera, n'amukwata, n'alagira asibwe n'enjegere bbiri. N'abuuza ono yali ani era yali akoze ki? 34Naye abamu mu kibiina nga bayoogaana kino, abalala kiri. Yalaba tasobola kufuna kikakafu olw'oluyoogaano, n'alagira atwalibwe mu kigo. 35Bwe yatuuka ku madaala, abaserikale ne bamwebagajja olw'ekibiina okuleeta amaanyi, 36anti ebbiina ly'abantu lyali ligoberera nga lireekaana nti: “Muggyeewo.”
37Pawulo bwe yali ng'anaatera okuyingizibwa mu kigo, n'agamba omuduumizi nti: “Nzikirizibwa okubaako kye nkugamba?” N'agamba nti: “Omanyi Olugereeki? 38Si ggwe Mumisiri gye buvuddeko eyajagalaza abasajja Abasikari#21,38 Abasikari: Baali bannalukalala abakambwe abalwanyisanga Abaroma, nga bafumita n'ebiso. Ekigambo kiyinza n'okutegeeza Abatemu. enkumi ennya n'abatwala mu ddungu?” 39Pawulo n'amugamba nti: “Nze ndi Muyudaaya ow'omu Taruso eky'omu Silisiya, munnakibuga ow'omu kibuga ekitali kitene. Nkwegayiridde, mpa mbeeko kye ŋŋamba abantu.” 40Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala, ekibiina n'akiwenyako n'omukono. Bwe wajjawo akasiriikiriro ak'amaanyi n'ayogera gye bali mu Lwebureeyi, n'agamba nti:
Pawulo yeewozaako eri Abayudaaya
Currently Selected:
Ebik 21: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.