Ebik 20
20
1Akajagalalo bwe kaggwa, Pawulo n'ayita abayigirizwa, n'abagumya, n'abasiibula, n'asitula okulaga mu Masedoniya. 2Bwe yamala okulambula ebitundu ebyo, n'okubagumya n'ebigambo bingi, n'ajja mu Bugereeki. 3Eyo yamalayo emyezi esatu. Bwe yali ali kumpi okusaabala okugenda mu Siriya, Abayudaaya ne bamusalira enkwe, kwe kusalawo adde ng'ayitira mu Masedoniya. 4Sopateri ow'e Beroya, mutabani wa Purro, n'amuwerekerako, ne Aristariko ne Sekundo ab'e Tessalonika, ne Gayiyo ow'e Derube, era ne Timotewo, ssaako ne Tukiko ne Turofimo ab'omu Aziya. 5Abo ne batukulemberamu, ne batulindirira e Turowa.
Pawulo asiibula ab'e Turowa
6Ennaku ez'Emigaati Egitazimbulukuse bwe zaayita, naffe ne tusaabala okuva e Filippi, ne tubatuukako e Turowa mu nnaku ttaano; eyo ne tumalayo ennaku musanvu. 7Ku lunaku olusooka mu wiiki, bwe twakuŋŋaana okumenya omugaati, Pawulo kubanga nga yali wa kusitula nkeera, n'awanvuya ku kuyigiriza kwe okutuusiza ddala mu ttumbi. 8Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettawaaza nnyingi. 9Omulenzi omu, erinnya lye Ewutuko, yali atudde awo mu ddirisa, otulo tungi ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng'ayigiriza, olw'otulo okumugonza, n'awanuka ku mwaliiro ogwokusatu, n'agwa wansi, ne bamusitulawo kumpi ng'afudde. 10Pawulo n'akka gy'ali n'akutama w'ali n'amuwambaatira, n'agamba nti: “Muleke kutya, akyalimu akalamu.” 11N'ayambuka waggulu, n'amenya omugaati, nalya, n'ayogera nabo ebbanga ddene okutuusa obudde okukya, n'alyoka agenda. 12Omulenzi ne bamuggyayo nga mulamu, ne bakubagizibwa nnyo.
Okuva e Turowa okulaga e Mileto
13Ffe ne tweyongerayo, ne tusaabala mu lyato, ne tulaga mu Asso, nga twagala Pawulo tumuggye awo, kubanga yali ateesezza kuyita ku lukalu. 14Bwe yatusisinkana e Asso, ne tumusaabaza, ne tujja e Mitulene. 15Ne tusaabalira eyo; olunaku olwaddirira ne tutuuka emitala wa Kiyo. Ate olwaddako ne tugoba e Samo; enkeera w'olwo ne tutuuka e Mileto. 16Pawulo yali ateesezza mu Efezi ayite buyisi, aleme kulwa mu Aziya, kubanga yali yeeyuna okubeera mu Yeruzaalemu ku lunaku lwa Pentekooti singa aba asobodde.
Asiibula ab'omu Efezi
17Awo n'ayima e Mileto n'atuma mu Efezi, n'ayita abakadde b'Ekleziya bajje gy'ali. 18Bwe baatuuka w'ali, n'abagamba nti: “Mumanyi nga bwe nayisanga mu mmwe ebbanga lyonna, okuviira ddala ku lunaku lwe nalinnya ekigere kyange mu Aziya, 19nga mpeereza Omukama n'obwetoowaze bwonna, mu maziga n'ebigezo bye nasanga olw'enkwe z'Abayudaaya, 20nga bwe saddirira mu kubategeeza ekyandibagasizza, n'okubayigiriza mu lwatu nga nva nnyumba ku nnyumba, 21nga njulira n'amaanyi eri Abayudaaya n'Abagereeki beenenye, badde eri Katonda, bakkirize Omukama Yezu Kristu. 22Kale nno nzuuno ŋŋenda e Yeruzaalemu, nga nsibiddwa mu Mwoyo; simanyi na birintuukirira nga ndi eyo, 23wabula Mwoyo Mutuukirivu ankakasa kino mu buli kibuga nti nvuba na nnaku bye binnindiridde. 24#2 Tim 4,7.Naye obulamu bwange sibulabamu kantu, si bwa muwendo gye ndi, kavuna mmaliriza olugendo lwange n'omulimu gwange Omukama Yezu gwe yankwasa, anti kwe kutegeeza Evangili y'eneema ya Katonda. 25Wuuno kati nze mmanyi nga mmwe mwenna be nayitaayitamu nga mbayigiriza obwakabaka bwa Katonda temukyaddayo kulaba ku maaso gange. 26Kyenva nkakasa mu maaso gammwe olwa leero nti sivunaanibwa musaayi gwa muntu n'omu ku mmwe, 27kubanga saddirira mu kubabuulira byonna Katonda bye yateesa. 28Mwekuumenga ku lwammwe ne ku lw'eggana lyonna Mwoyo Mutuukirivu lye yabassaako ng'abalabirizi mulyoke mulunde Ekleziya wa Katonda gwe yeefunira n'omusaayi gwe. 29Mmanyi nga bwe ndimala okugenda, emisege emikambwe giribayingirira nga tegisaasira ggana; 30ne mu mmwe mwennyini mulisibukamu abasajja abayigiriza ebikyamu, basikirize abayigirizwa babagoberere. 31Awo nno mutunule nga bwe mujjukira nga bwe namala emyaka esatu nga soosa kubabuulirira buli omu mu mmwe, ekiro n'emisana, nga kwe ntadde n'amaziga. 32Na kaakano, mbakwasizza Katonda n'ekigambo ky'eneema ye ekiyinza okubazimba n'okubawa obusika mu abo bonna abaatukuzibwa. 33Ssegombanga ffeeza oba zaabu yadde ekyambalo ky'omuntu yenna. 34Nammwe mumanyi, nti emikono gyange gino gye gyanfuniranga bye neetaga, awamu n'eby'abo abaalinga nange. 35Mu byonna, nabalagirira nti tuteekwa okutegana tutyo okujuna abateeyinza, nga tujjukira ekigambo ky'Omukama kye yagamba nti: ‘Okugaba kwesiimisa okusinga okufuna.’ ”
36Bwe yasirissa ebyo, n'afukamira ne yeegayirira nabo bonna. 37Bonna ne bakaaba, ne bamugwa mu kifuba, ne bamunywegera. 38Ekyasinga okubanakuwaza kye kigambo kye yali abagambye nti tebakyaddayo kulaba ku maaso ge. Ne bamuwerekera okumutuusa ku lyato.
Pawulo alaga e Yeruzaalemu ng'ayitira e Kayisariya
Currently Selected:
Ebik 20: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.