YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 19

19
1Apollo yali akyali mu Korinti, Pawulo n'ayita mu masaza ag'engulu, n'atuuka mu Efezi, eyo n'asangayo abayigirizwa abamu. 2N'ababuuza nti: “Bwe mwakkiriza, mwafuna Mwoyo Mutuukirivu?” Ne bamugamba nti: “Tetuwuliranganako nti oba waliyo ne Mwoyo Mutuukirivu.” 3N'abagamba nti: “Kale mwabatizibwa mu ki?” Ne bamugamba nti: “Mu batismu ya Yowanna.” 4#Mat 3,11; Mar 1,4.7-8; Luk 3,4.16; Yow 1,26-27.Pawulo n'agamba nti: “Yowanna yabatizanga na batismu ya kubonerera, ng'agamba abantu okukkiriza oyo eyali ow'okumuddirira, kwe kugamba nti Yezu.” 5Bwe baamala okuwulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya ly'Omukama Yezu. 6Pawulo bwe yabassaako emikono, Mwoyo Mutuukirivu n'abajjamu, ne boogera ennimi, ne balanga n'okulanga. 7Bonna wamu baali bawera abasajja nga kkumi na babiri.
Ayigiriza mu Efezi
8Awo n'ayingira mu sinaagooga, n'ayigiririzaayo emyezi esatu n'obuvumu, ng'awakana ate ng'afuba okukkirizisa obwakabaka bwa Katonda. 9Naye kubanga abamu baali bakakanyavu, ate nga n'okukkiriza tebakkiriza, era nga bavuma Ekkubo mu maaso g'ekibiina, ye kwe kubavaako; n'agenda n'abayigirizwa, n'awakaniranga buli lunaku mu kigango kya Turanno. 10Kino yakikolera emyaka ebiri; bonna abaali mu Aziya, Abayudaaya n'Abagereeki, ne bawulira bwe batyo ekigambo kya Katonda.
Ebyewuunyo bya Pawulo mu Efezi
11Katonda n'akola ebyewuunyo ebyenjawulo n'omukono gwa Pawulo: 12Obutambaala n'ebiremba byaggyibwanga ku mubiri gwe ne bitwalibwa ku balwadde, endwadde ne zibata n'emyoyo emibi ne gibamaamukako. 13Abamu mu Bayudaaya abagobi b'emyoyo emibi abaagendanga bayitaayita, ne beetumiikiriza okwatula erinnya ly'Omukama Yezu ku abo abaaliko emyoyo emibi nga bagamba nti: “Mbalagira ku lwa Yezu Pawulo gw'ayigiriza.” 14Batabani ba Sikeva musanvu, omukulu wa bakabona, baakolanga batyo. 15Naye olumu omwoyo omubi ne gubagamba nti: “Yezu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi; naye mmwe mwe baani?” 16Awo omuntu eyalimu omwoyo omubi n'ababuukira, n'abanyweza bonna n'abamala amaanyi, ne bafubutuka mu nnyumba nga bali bwereere, ate nga baliko n'ebiwundu. 17Kino ne kimanyibwa bonna abaali mu Efezi, Abayudaaya n'Abagereeki; bonna ne bakwatibwa entiisa, erinnya ly'Omukama ne ligulumizibwa. 18Bangi mu abo abaali bakkirizza ne bajja, ne baatula, ne boogera bye baakolanga. 19Bangi mu bo abaakolanga eby'obulaguzi ne bakuŋŋaanya wamu ebitabo byabwe, ne babyokera awo mu maaso ga bonna. Bwe baabalirira omuwendo gwabyo nga gukunukkiriza eyo mu bitundu bya ffeeza emitwalo etaano. 20Ekigambo kya Katonda ne kigenda nga kyeyongera n'amaanyi okubuna n'okunywera.
Akajagalalo ka Demeturiyo omuweesi
21Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'ateesa mu Mwoyo Mutuukirivu okuyita mu Masedoniya, ne Akayiya agende e Yeruzaalemu, ng'agamba nti: “Bwe ndimala okubeera eyo, nteekwa okulaba Roma.” 22N'atuma babiri ku bayambi be, Timotewo ne Erasto, mu Masedoniya, ye n'agira ng'asigala mu Aziya akabanga.
23Mu bbanga eryo, ne wabaawo akeegugungo kanene nga bakaayana ku Kkubo. 24Kubanga omusajja ayitibwa Demeturiyo, omuweesi wa ffeeza, eyakolanga obusabo bwa ffeeza obwa Aritemi, abafundi yali abafunidde omulimu munene. 25Bano yabakuŋŋaanya wamu n'abalala abaakolanga omulimu ogw'engeri eyo, n'abagamba nti: “Bassebo, mumanyi nga mu mulimu guno mwe muva amagoba gaffe. 26Sso mulaba, n'okuwulira muwulira nga Pawulo ono afukuutirira n'akyusa abantu nkumu, si mu Efezi mwokka, naye ne mu Aziya yonna, ng'agamba nti balubaale abakolebwa n'engalo si balubaale. 27Awo nno si mulimu gwaffe gwokka gwe gunaafeeba, naye n'ekiggwa kya Aritemi kyennyini kijja kuggwaamu ensa, naye yennyini ajja kufiirwa ekitiibwa kye, sso nga Aziya yonna n'ensi yonna gwe bisinza.”
28Bwe baawulira ebyo, ne bajjula obusungu, ne bayoogaana nga bagamba nti: “Aritemi ow'ab'omu Efezi mukulu!” 29Ekibuga kyonna ne kijjula akajagalalo, abantu ne bafubutukira wamu nga balaga mu luggya lw'emizannyo, nga bawalaawala Gayiyo ne Aristariko, Abamasedoni, banne ba Pawulo abaamuwerekeranga. 30Pawulo n'ayagala okugenda mu kibiina, naye abayigirizwa ne batamuganya. 31Abamu ku bakungu ab'omu ttwale lya Aziya abaali mikwano gye ne bamutumira nga bamwegayirira aleme kwetantala luggya lwa mizannyo. 32Ne bayoogaana, abamu kino, abalala kiri, kubanga ekibiina kyali kitabanguse, ate abasinga obungi baali tebamanyi na nsonga ebakuŋŋaanyisizza. 33Abamu mu kibiina ne bawa Alekisanduro amagezi, anti Abayudaaya baali bamusindikirizza mu maaso. Alekisanduro n'abawenyaako n'omukono, ng'ayagala okubayitira mu nsonga. 34Naye kyazira kumanya nga Muyudaaya, bonna ne bayoogaanira waggulu okumala ng'essaawa bbiri nti: “Aritemi ow'ab'omu Efezi mukulu!” 35Omuwandiisi w'ekibuga bwe yamala okukkakkanya ekibiina, n'agamba nti: “Basajja ab'omu Efezi, muntu ki atamanyi ng'ekibuga ky'ab'omu Efezi kye kikuuma ekiggwa kya Aritemi n'ekifaananyi kye ekyava mu ggulu ne kigwa? 36Awo nno obanga ebyo tebiwakanyizika, nammwe nno mukkakkane muleme kumala gagwira bigambo. 37Kubanga muleese abasajja bano wano abatajaajaamizza kiggwa kya Aritemi, lubaale wammwe, wadde okumuvuma. 38Obanga Demeturiyo n'abafundi abali naye baliko gwe bavunaana ekigambo, embuga gyeziri, n'abalamuzi nabo gyebali; bawozaŋŋanyize eyo. 39Naye obanga muvunaana kirala, kijja kumalirwa mu lukiiko olutongole. 40Kubanga naffe tuli mu kacwano, bayinza okutuvunaana olw'akajagalalo olwa leero, kubanga tewali nsonga gye tusobola kuwa olw'olukuŋŋaana luno.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'ayabula olukuŋŋaana.
Ava mu Efezi n'alaga mu Masedoniya

Currently Selected:

Ebik 19: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in