YouVersion Logo
Search Icon

2 Bamak 15

15
1Nikanori bwe yawulira nti Yuda ne basajja be bali mu bitundu by'e Samariya, n'alowooza okubazinduukiriza ku lunaku olw'okuwummula nga tasobezeddwa. 2Naye Abayudaaya abaali bawaliriziddwa okumugoberera ne bagamba nti: “Tobazikiriza bw'otyo ng'omuntu omukambwe ataliimu ka buntu; ssaamu ekitiibwa olunaku Oyo Alaba Byonna lwe yatukuza n'alussukkulumya ku ndala.” 3Omubi ono era omuvumirire mu bavumirire n'abuuza oba mu ggulu waliyo ow'obuyinza eyalagira okukuza Sabbaato. 4Ne bamuddamu nti: “Ye Mukama omulamu, Ow'obuyinza mu ggulu, eyatulagira okutukuza olwomusanvu.” 5Naye ye n'agamba nti: “Nange ndi wa buyinza ku nsi; ndagira mukwate ebyokulwanyisa, mutuukirize kabaka ky'ayagala.” Kyokka bye yali ateesezza okukola eby'akabenje teyabikola.
Yuda agumya basajja be
6Nikanori, mu kwekuza okw'ekitalo, nga yeewaga, yali alowoozezza eky'okuzimba ekijjukizo ky'olukale okujjukiranga obuwanguzi ku Yuda ne basajja be. 7Naye Makkabeewo yali tata kwesiga ng'asuubirira ddala nti Omukama ajja kumuyamba. 8Yagumyanga basajja be baleme kutya ab'amawanga ababalumbye, wabula bajjukire mu biseera ebyayita emirundi gye badduukiriddwa n'obuyambi obuva mu ggulu, awo nno okusuubira bakusse ku buwanguzi Omuyinza wa buli kantu bw'anaabawa. 9Ng'abakuutira n'ebiva mu Tteeka ne mu Balanzi n'okubajuliza entabaalo ze bawangudde, n'abongerangamu ebbugumu bw'atyo. 10Bwe yamalanga okubakalangula atyo, n'abawa ebiragiro era nga bw'abategeeza obunnanfuusi bw'ab'amawanga n'engeri gye bamenya ebirayiro. 11Buli omu yamuwanga ebyokulwanyisa, ebitaali ngabo na mafumu kyokka, naye n'ebigambo ebizzaamu omutima; bonna n'abakuumanga nga bacamufu, ng'abanyumiza ekirooto n'ekifaayo ky'okulabikirwa ebisaanye okukkiriza.
12Kino kye yali alabye: Oniya eyali kabona omukulu, omusajja ow'ekitiibwa era omulungi, omwegendereza mu ndabika, omuwombeefu mu mpisa, ayogeza essimbo, eyagunjulibwa mu mpisa ennungi okuva mu buto bwe, yali yeegayirira ng'emikono agigololedde waggulu ng'asabira abantu bonna Abayudaaya. 13Ate omusajja omulala naye n'alabika mu ngeri ye emu, ng'awuniikiriza olw'envi n'ekitiibwa, ng'alabikako obukulu n'obuyinza. 14Oniya n'ayogera n'agamba nti: “Ono ye musajja ayagala baganda be, asabira ennyo abantu n'ekibuga ekitukuvu, Yeremiya omulanzi wa Katonda.” 15Yeremiya n'agolola omukono ogwa ddyo n'awa Yuda ekitala ekya zaabu. Bwe yali akimukwasa, n'amugamba nti: 16“Kwako ekitala ekitukuvu, ekirabo okuva ewa Katonda, ky'oneeyamba okukuba abalabe bo.” Okuwangulibwa n'okufa kwa Nikanori 17Nga bamaze okuguma olw'ebigambo bya Yuda ebyali ebirungi era eby'omugaso mu kuzzaamu abavubuka omutima ogw'obuzira n'obuvumu, baasalawo bave ku bikwekweto, wabula balumbire ddala n'obuzira, ebintu babimale luggwe nga bakwataganira ddala n'omulabe, kubanga ekibuga, Ekitukuvu n'Ekiggwa byali mu kabi. 18Baali batiiririra kitono bakazi baabwe, abaana, baganda baabwe n'ab'eŋŋanda zaabwe; ekyasinganga okubeeraliikiriza ky'Ekitukuvu ekyali kitukuziddwa. 19Naye n'abo abaali basigadde mu kibuga emitima nga gibeewanise kye kimu, nga beeraliikirira okukwatagana okunaabeera eyo mu byalo. 20Bonna nga balindirira akadde nsaleesale, omulabe n'asembera, eggye lye nga litaze, enjovu nga ziteekeddwa mu bifo byazo n'abeebagazi nga babatadde mu mbiriizi z'eggye. 21Makkabeewo ng'atunuulidde obunene bw'eggye erimuli mu maaso ge, n'ebyokulwanyisa ebitali bimu ebitegekeddwa, n'obukambwe bw'enjovu, yasitulira emikono gye eri eggulu n'akoowoola Omukama akola ebyamagero, ng'amanyi nti awangula si na byakulwanyisa, wabula ng'Omukama bw'aba asazeewo olw'abo abagwanidde obuwanguzi. 22#2 Bak 19,35; 1 Bamak 7,40-42; Yis 37,36.N'amukoowoola mu bigambo bino nti: “Ayi Mukama, watuma malayika wo mu budde bwa Kezekiya kabaka wa Buyudaaya n'atta mu nsiisira za Sennakeribu akasiriivu kamu mu emitwalo munaana mu enkumi ttaano. 23Kale nno, ayi Ggwe Afuga Eggulu, tuma Malayika wo omulungi akulemberemu n'entiisa n'okutekemula. 24Bakavumira bano abalumba eggwanga lyo ettukuvu bakubwe n'obuyinza bw'omukono gwo.” Bw'atyo bwe yamaliriza essaala ye.
25 # 1 Bamak 7,43-50. Nikanori ne basajja be ne bajja nga bwe bafuuwa amakondeere n'okuyimba ennyimba ez'omu ntabaalo. 26Naye Yuda ne basajja be ne babasisinkana okukwatagana nga bakoowoola Omukama wamu n'okumwegayirira. 27Bwe batyo nga balwanyisa mikono gyabwe kyokka nga mu mitima gyabwe beegayirira Katonda, baamegga ku ttaka abatakka wansi wa mitwalo esatu mu enkumi ttaano; engeri Katonda gye yeeyolekamu n'ebasanyusa nnyo.
28Okulwana bwe kwaggwa, bwe baali bakomawo mu kujaguza, ne balaba Nikanori ng'agudde awo mufu n'ebyokulwanyisa bye byonna. 29Ne baleekaana n'okuyisa ekivvulu nga bagulumiza Omukama Omuyinza wa buli kantu mu lulimi lwa bajjajjaabwe. 30Omusajja oyo mu byonna omubiri n'omutima eyataasa bannansi banne, oyo okuva mu buvubuka bwe atawugukangako mu kwagala abantu b'eggwanga lye, yalagira basonjoleko omutwe gwa Nikanori n'omukono gwe babitwale e Yeruzaalemu. 31Bwe baatuukayo, n'akuŋŋaanya bannansi banne, n'alagira bakabona bayimirire mu maaso g'omwaliiro, n'atumya abaali mu kigo. 32Awo n'abooleka omutwe gwa kafulu Nikanori n'omukono gw'omubi gwe yagololeranga eri ennyumba entukuvu eya Katonda Omuyinza wa buli kantu nga yeewaga. 33N'asalamu olulimi lwa Nikanori omukafiiri, n'agamba nti ajja kulugabula ebinyonyi ng'alukutuddemu ebitundutundu. N'omugabo gw'eddalu lye aguwanike wamberi w'Ekiggwa. 34Bonna bwe batyo nga batunuulidde eggulu, ne bagulumiza Omukama eyeeyoleka nga bagamba nti: “Agulumizibwe Omukama eyakuuma ekifo kye ne kitoonoonebwa.”
35Makkabeewo n'asiba omutwe gwa Nikanori ku kigo waggulu ng'akabonero akenkukunala eri buli muntu akalaga nti Omukama ye yayamba. 36#Esit 9,19.31; 10,3k.Bwe baamala okukuba akalulu, bonna ne bassa kimu nti olunaku olwo terusaana kuyitiranga awo nga terukuziddwa, bakuzenga olunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, mu Lwarami oguyitibwa Adari, olukulembera olunaku lwa Morudekayi.
VIII. OKUFUNDIKIRA
37Ebya Nikanori bwe byaggwa bwe bityo; n'okuva olwo ekibuga ne kidda mu mikono gy'Abeebureeyi. Nange nzija kukomya wano ekifaayo kyange. 38Oba kiwandiikiddwa bulungi nga kituuka ku nsonga, ekyo nange kye nayagala; oba kibadde kityokityo nga kiyabayaba, ekyo kye nsobodde okukola. 39Nga bwe kiri eky'omutawaana okunywa evviini yokka, oba amazzi gokka, sso ng'evviini entabulemu ku tuzzi esanyusa okunywa, ewooma era ecamula obulamu, bwe kiba ne ku kifaayo ekisengekeddwa mu ngeri ennungi, kisanyusa amatu g'ababa basomye ebiwandiikiddwa. Ka nkome wano.

Currently Selected:

2 Bamak 15: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in