Mat OKWANJULA EKITABO
OKWANJULA EKITABO
Ebyafaayo by'Ekitabo: Ekitabo ky'Evangili ya Matayo kirowoozebwa okuba nga kyawandiikibwa Matayo Omutume mu mwaka gwa AD 80. Ekitundu kinene eky'Evangili ye yakiggya mu Vangili ya Mariko (obunyiriri nga 600 ku bunyiriri 661 obuli mu Mariko); obunyiriri obulala nga 235 yabuggya awantu ne Luka we yaggya obubwe. Evangili zino essatu kyeziva zifaanagana. Matayo yali awandiikira Abayudaaya abaali bafunye obuzibu mu kusalawo wakati w'okugoberera Kristu n'okugoberera eddiini yaabwe ey'ekiyudaaya, abo abaali basiimye okugoberera Kristu naye nga babooleddwa bannaabwe Abayudaaya, kino nga kibaleetera ekikemo eky'okudda mu kiyudaaya. Matayo abagumya nti eby'edda byatuukiririra mu Yezu, ye Messiya Abayudaaya gwe baali balindirira, era n'Ekleziya mwe bali yatondebwawo Katonda yennyini ng'agenderedde esikire Yisirayeli, era obutume bwayo butongole era mwe muli obutuukirivu obwa nnamaddala.
Entereeza y'ekitabo: Matayo anyumya ebikolwa bya Yezu ate n'awa enjigiriza ye mu njigiriza ttaano: mu kuyigiriza ku lusozi (5-7), mu kubuulirira abatume (10), mu ngero (13), mu kubuulirira okussa ekimu n'okufaŋŋanako mu Bakristu (18), ne ku by'oluvannyuma (24-25). Ekitabo kino kigabanyiziddwamu kiti: I. Ekifaayo ky'okuzaalibwa kwa Yezu n'obuto bwe (1,1–2,23); II. Okulangirira obwakabaka bwa Katonda (3,1–4,11); III. Yezu ayigiriza mu Galilaaya (4,12–18,35); IV. Yezu ayigiriza mu Buyudaaya ne mu Yeruzaalemu (19,1–25,46); V. Eby'okubonaabona, okufa, n'okuzuukira kwa Yezu Kristu (26,1–28,20).
Enjigiriza y'ekitabo: Matayo agenderera okutuyigiriza nti Yezu ye musuubize abalanzi gwe baalanga, ye Kristu (Messiya), nti era okujja kwe kitegeeza okujja kw'obwakabaka bwa Katonda (oba ye nga bw'abuyita, obwakabaka bw'omu ggulu) n'okutuukirira kw'ebyo ebyalangibwa. Evangili ya Matayo efuba nnyo okuyigiriza empisa ennungi omukristu z'alina okulwanirira ezisimbuka ku butuukirivu obw'omunda (5-7). Bwe buwulize eri Katonda era n'okumutya nga tuyita mu tteeka lya Kristu ery'obutuukirivu, ery'okwagala n'obusaasizi, tulyoke tufune obulamu obuggya. Evangili ya Matayo y'esinga okwogera ku Ekleziya. Ekleziya kye kibiina ky'abakkiriza, obwakabaka bwa Katonda mwe bulabikira. Bannakibiina kino ekibalindiriddwamu bwe butuukirivu obusinga n'obw'Endagaano Enkadde; ekibasiba awamu kwe kwagalana n'okufaaŋŋanako, ababakulembera be batume nga bakulemberwamu Petero; ate omulimu gw'Ekleziya omukulu kwe kulangirira mu nsi yonna ekigambo n'obutuukirivu eby'obwakabaka bwa Katonda (10; 28,19-20). Ekleziya wa Kristu y'asikira eggwanga lya Katonda ery'Endagaano Enkadde, kubanga bano tebaawulira, tebaaleeta bibala (25).
Omugaso gw'Ekitabo mu nsangi zino: Ebimu ku bitendesa Evangili ya Matayo kwe kubeera ng'ewa bulungi ennono ya Kristu Kabaka (Messiya oba Kristu), era n'ennono n'amakulu g'Ekleziya, n'obulungi bw'empisa enkristu, oba nga ye bw'aziyita, obutuukirivu bw'omu bwakabaka obw'omu ggulu (5-7).
MATAYO
Currently Selected:
Mat OKWANJULA EKITABO: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.