2 Bamak 14
14
1 #
1 Bamak 7,1-21. Nga wayise emyaka esatu Yuda ne basajja be ne bakimanyaako nti Demeturiyo, mutabani wa Selewuko, yali agobye ku mwalo e Turipoli ng'alina eggye ddene n'empingu; 2nti n'ekitundu ekyo yali akikutte, oluvannyuma lw'okuggyawo Antiyoko ne Lisiya omukuza we. 3Kati nno omusajja omu Alikimo, eyaliko kabona omukulu, eyasalawo okweyonoona mu budde bw'akasambattuko, yalaba nga tekyali ssuubi lya kuwona yadde okuddamu okuba ku mwaliiro omutukuvu, 4n'ajja ewa kabaka Demeturiyo, nga mu mwaka ogw'ekikumi mu ataano mu ogumu, n'amuleetera engule eya zaabu n'olusansa, era ng'empisa bwe yali, n'amatabi g'oliva okuva ku Kiggwa; ku olwo teyaliiko kye yayogera.
5Olumu yafuna akabanga akatuufu ak'entegeka ze ez'ekiralulalu, Demeturiyo bwe yamuyita mu lukiiko n'abuuzibwa ku ntegeka z'Abayudaaya n'ebigendererwa byabwe. Ye n'ayanukula nti: 6#1 Bamak 2,42; 7,13.“Abo Abayudaaya abayitibwa Abakasidaayi, abakulemberwa Yuda Makkabeewo, batanula entalo n'obujeemu, tebagenda kuganya bwakabaka kutebenkera. 7#1 Bamak 7,14.N'olw'ekyo nze ntadde ku bbali ekitiibwa kya bajjajjange, ntegeeza obwakabona obukulu, ne nzija wano, 8okusookera ddala kubanga nfaayo ku kabaka ky'ayagala, n'ekirala kubanga nnumirwa bannansi bannange; kubanga olw'okubeera obusiru bw'abo be njogeddeko, eggwanga lyaffe liri mu nnyiike si ntono. 9Kale nno, ayi kabaka, nga ggwe bino byonna bw'obimanyi obulungi, laba ky'onookolera ensi yaffe n'eggwanga lyaffe ebizibu bye lyezinzeeko ng'oyita mu kisa kyo ky'ogirira bonna. 10Kubanga Yuda ng'akyaliwo, ensi tesobola kubeera mu ddembe n'akatono.”
Enkolagana ne Nikanori
11Bwe yamala okwogera ebyo, mikwano gya kabaka abaali bataagala Yuda ne bongera okusiikuula Demeturiyo. 12#1 Bamak 7,26.Amangu ago Demeturiyo n'addira Nikanori, eyali aduumira ekibinja ky'enjovu, n'amulonda abeere owessaza mu Buyudaaya, n'amusindikayo 13ng'amulagidde atte Yuda, ate basajja be abasaasaanye, ne Alikimo amufuule kabona w'Ekiggwa ekikulu. 14Ab'amawanga okuva wonna mu Buyudaaya abaali badduse Yuda, ne bajja bangi okweyunga ku Nikanori, nga basuubira nti obulemu n'endasano z'Abayudaaya bo binaabaviiramu mikisa.
15 #
1 Bamak 7,27-28. Abayudaaya bwe baawulira nti Nikanori ajja era nga n'ab'amawanga beekuŋŋaanyizza, ne beeyiira enfuufu, ne beegayirira oyo eyassaawo eggwanga lye emirembe gyonna, era oyo bulijjo akuuma omugabo gwe nga yeeyoleka. 16Omugabe bwe yamala okubaduumira, ne basitula amangu ago, ne babambalira ku kyalo ekiyitibwa Dessawu.#14,16 Oba: Adasa. 17Simoni muganda wa Yuda yali asisinkanye ne Nikanori, naye olw'abalabe okubagwako ekibwatukira, ne bakuba mpola akaddannyuma.
18Nikanori bwe yawulira ku buzira bwa Yuda ne basajja be nti mu kutaasa eggwanga lyabwe balwana bwezizingirire, n'ava ku ky'ebigambo okubimala n'okuyiwa omusaayi. 19Kyeyava atuma Posidoniyo, Tewodoto ne Mattatiya bagende bawanyisaganye ne bali emisingo gy'entegeeragana. 20Nga bamaze okukkaanya ku bye baateesaako, buli mugabe n'abitegeeza abantu be, bonna bwe balabika nti babisembye, ne bakkiriza okukola endagaano. 21Abagabe baateesa olunaku lwe banaabeerako we basisinkana bokka; ku buli ludda waavaayo ebigaali, entebe ne zissibwayo. 22Yuda yategekawo mu bifo ebyesiifu abasajja abaalina ebyokulwanyisa, okwerinda abalabe singa bakolawo mangu ekikolwa eky'enkwe. Baateesa bulungi.
23Nikanori yasigala mu Yeruzaalemu, teyalina kitatuuse kye yakolayo, n'ebibinja by'abantu ebyali bikuŋŋaanye n'abisiibula. 24Bulijjo yakuumiranga Yuda kumpi, kubanga mu mutima omusajja oyo ng'amwagala. 25Yamwegayirira awase omukazi, azaale abaana. Yuda n'awasa, n'abaako w'akkalira, nadda mu bulamu obwa bulijjo.
Nikanori yeefuula n'atandika okutiisatiisa
26Alikimo bwe yalaba bakkaanya bulungi, n'akwata endagaano gye baali bakoze, n'agitwala ewa Demeturiyo, namugamba nti Nikanori yajeemera eggwanga, nti yali alonze eyalya mu bwakabaka olukwe y'aba abeera omusika we. 27Kabaka n'asiikuuka olw'ebigambo by'omubi ono bye yali akonjedde oli; n'awandiikira Nikanori ng'amutegeeza nga bwatasanyukidde ndagaano, n'amulagira aweereze Makkabeewo e Antiyokiya nga musibe awatali kulwa. 28Nikanori bwe yakitegeera n'asoberwa, ne kitamusanyusa okusazaamu endagaano sso ng'omusajja teyalina kabi k'akoze. 29Naye kubanga yali tasobola kuwakanya kya kabaka, yanoonyereza akabanga akeesiifu asale amagezi ag'okukituukiriza.
30 #
1 Bamak 7,29-30. Makkabeewo n'alaba nga Nikanori agenda addirira mu nkolagana yaabwe, nga bwe basisinkana aba mukambwe okusinga bwe yeeyisanga bulijjo. N'ategeera nti buno obukambwe si bwa mirembe; kwe kukuŋŋaanya bangi mu basajja be, n'agenda yeekweka Nikanori. 31#1 Bamak 7,33-38.Nikanori bwe yakimanya nti omusajja amusinzizza amagezi, nagenda eri Ekiggwa ekikulu ekitukuvu, nga bakabona baweereza ebitambiro ebya bulijjo, n'abalagira baweeyo omusajja oli. 32Bwe baalayira n'okulayira nga tebamanyi musajja oyo eyali anoonyezebwa gy'ali, 33Nikanori n'agololera omukono eri Ekiggwa, n'alayira nti: “Bwe mutampa Yuda nga musibe, kino ekigango kya Katonda nzija kukiseeteeza ku ttaka, n'omwaliiro ngumenyewo, wano nteekewo ekiggwa kya Diyoniso amakula.” 34Bwe yamala okwogera ebyo n'agenda. Bakabona ne basitulira emikono waggulu, ne bamukoowoola bulijjo ataasa eggwanga lyaffe mu bigambo bino nti: 35“Ggwe Omukama wa byonna, atalina kye weetaaga, wayagala ekiggwa mw'osula kikolebwe mu ffe. 36Kale nno, ayi Omutuukirivu, Omukama w'okutukuzibwa kwonna, ennyumba eno gye twakamala okutukuza gikuume emirembe gyonna nga tejaajamiziddwa.”
Ekifaayo kya Razi
37Waaliwo Razi, omu ku bakadde b'omu Yeruzaalemu, yaloopebwa ewa Nikanori nti yali musajja ayagala eggwanga lye, ng'ayogerwako bulungi nnyo, era olw'okubaagala, yayitibwanga kitaawe w'Abayudaaya. 38Gye buvuddeko mu biseera eby'okusosola, yavunaanibwa omusango ogw'okuyimbirira Obuyudaaya, era olw'okubeera Obuyudaaya, yeewaayo n'obumalirivu omubiri n'omwoyo. 39Nikanori, olw'okwagala okulaga obukyayi bwe yalina ku Bayudaaya, yatuma abasajja ebikumi bitaano n'okusingawo bamukwate. 40Yali alowooza nti oyo bw'amukwata, Abayudaaya bajja kukosebwa. 41Eggye bwe lyali liri kumpi okuwamba omunaala, nga bakaaka omulyango oguyingira mu luggya, ne balagira baleete omuliro enzigi zookebwe. Razi bwe yalaba yeetooloddwa wonna, ne yeesuula ku kitala kye, 42nga ky'ayagala kwe kufa mu kitiibwa okusinga okugwa mu mikono gy'ababi n'ajaajamizibwa mu ngeri etesaanira muntu eyazaalibwa mu lulyo olw'ekitiibwa. 43Naye mu kavuvuŋŋano wakati, bwe yeefumita teyeeteeba bulungi, ate n'ogubiina gwali gutandise okweyiwa mu mulyango; n'alinnya n'obuzira ku bbugwe waggulu ne yeesuula masajja mu gubiina. 44Naye bwe beesega amangu ago, ne wajjawo ebbanga, n'agwa mu bbanga kkalu. 45Yali akyalimu akalamu, naye ng'obusungu bumwesera, n'asituka, newandibadde ng'omusaayi gwali gumufumbukukamu, nga n'ebiwundu binene, n'adduka n'ayita mu gubiina, n'ayimirira waggulu ku lwazi olwesimbye. 46Kumpi nga n'omusaayi gumuweddemu, n'asikayo ebyenda bye, n'abikwata n'emikono gye gyombi, n'abikasuka mu gubiina nga bw'akoowoola Omukama nnannyini bulamu nti abimuddizanga. Bw'atyo bwe yafa.
Ebivumo bya Nikanori
Currently Selected:
2 Bamak 14: BIBU1
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.