2 Bamak 13
13
1Mu mwaka ogw'ekikumi mu ana mu omwenda Yuda ne basajja be baategeezebwa nti Antiyoko Ewupatori yali ajja n'eggye ddene okulumba Buyudaaya. 2#1 Bamak 6,30.Yali ajja wamu ne Lisiya omukuza we era katikkiro. Buli omu yalina eggye ly'Abagereeki omuli ab'ebigere akasiriivu kamu mu omutwalo gumu, abeebagazi enkumi ttaano mu bisatu, enjovu amakumi abiri mu bbiri n'ebigaali ebikumi bisatu okuli najjolo.
3Ne Menelawo n'abegattako; n'adyekadyeka nnyo Antiyoko agende mu maaso, naye nga tagenderera kuwonya ggwanga lye, wabula kulyamu bwami. 4Naye nno Kabaka wa bakabaka n'asikuula obusungu bwa Antiyoko ne busitukira ku mugwagwa ono. Lisiya n'ategeeza kabaka nti Menelawo oyo y'ensibuko ya buli kabi konna. Antiyoko n'alagira atwalibwe e Berowe attibwe ng'empisa y'eyo bwe yali. 5Anti mu kifo ekyo mwalimu omunaala gwa mikono makumi ataano nga gujjudde evvu; munda mwalimu omugo ogwetooloola ku njuyi zonna nga gusulinka mu vvu. 6Eyazzanga ogw'okujaajaamya Ekiggwa oba omusango omulala gwonna omunene baamusulinkanga eyo n'afa. 7Ne Menelawo, omusajja empongabyoya, bwe yafa atyo; teyafuna na kitiibwa kya kuziikibwa mu ttaka. 8Kino kyali kituufu, kubanga omwaliiro yagukolako ebibi bingi, sso ng'omuliro gwakwo n'evvu byali bitukuvu; naye kyeyava afiira mu vvu.
Ebikwekweto mu bitundu by'e Modeyini
9Kabaka ng'ajjudde obukambwe n'okwekuza yali ajja alage Abayudaaya ebibi n'okusinga bye baalaba mu budde bwa kitaawe. 10Yuda bwe yakimanya, nalagira abantu bakowoole Omukama ekiro n'emisana, ayambe n'okusinga bwe yali akoze abantu abaali bali okumpi okuggyibwako Etteeka lyabwe, eggwanga lyabwe n'Ekiggwa kyabwe ekitukuvu, 11n'abantu abaali baakaddamu okwezimba aleme kubaleka kugwa mu mikono gy'ab'amawanga abavuma Katonda. 12Abantu nga bamaze bonna wamu okumwegattako mu kuwanjaga n'okwegayirira Omukama omusaasizi nga bwe bakaaba, bwe basiiba era nga bwe beeyaze wansi okumala ennaku ssatu awatali kusalawo, Yuda n'abakuutira n'abalagira babe beetegefu.
13Ng'amaze okubaako by'ateesa mu kafubo n'abakadde, yasalawo bagende balwane ebintu babimale n'obuyambi bwa Katonda ng'eggye lya kabaka terinnalumba Buyudaaya na kukwata kibuga. 14Obulabirizi bwonna ng'abutadde atyo mu Mutonzi w'ensi, ng'amaze okukuutira basajja be balwane n'obuzira oba kufa bafiirire amateeka, Ekiggwa, ekibuga, eggwanga n'eby'obuwangwa, olwo olusiisira n'alukuba mu bitundu by'e Modeyini. 15#8,23.Basajja be n'abawa ekigambo ekibawenyaako: 'Obuwanguzi bwa Katonda'; ng'ali n'abavubuka abalondobe abasingamu obuzira, n'alumba olusiisira lwa kabaka, n'attamu abasajja ng'enkumi bbiri, n'afumita n'enjovu ekulemberamu, n'omwebagazi waayo n'amutta. 16Oluvannyuma olusiisira ne balujjuza okutya, ne lutabukatabuka, bo ne bavaayo n'obuwanguzi. 17Ekyo kyaliwo ng'obudde bukya, kubanga Katonda yamuyamba n'amukuuma.
Endagaano n'Abayudaaya
18 #
1 Bamak 6,48-63. Kabaka bwe yalega ku buvumu bw'Abayudaaya, n'ayiiya amagezi ag'okulumba ebifo byabwe. 19#1 Bamak 4,29.Yalumba Beti-Zuru, ekigo ky'Abayudaaya ekinyweze obulungi, naye n'awangulwa; n'addamu n'alumba, era n'awangulwa. 20Yuda n'aweerezanga abatabaazi abaali munda byonna ebyetaagibwa. 21Omusajja omu Rodoko okuva mu ggye ly'Abayudaaya yali akettera abalabe; baamunoonya, ne bamukwata, ne bamuggalira.
22Kabaka n'ateesa ogwokubiri n'ab'omu Beti-Zuru, ne bawaanyisaganya emisingo gy'okutegeeragana, n'avaayo, n'alumba Yuda ne basajja be, naye n'awangulwa. 23Bwe yawulira nti ne Filippo gwe yali alekedde okukulembera eggwanga yali ajeemye mu Antiyokiya, n'awulira ennaku, n'ayita Abayudaaya, n'afootoka, n'alagaanya okubalekera eddembe lyabwe, n'atabagana nabo, n'aweereza ekitambiro, n'assaamu ekitiibwa Ekiggwa n'ekifo ekitukuvu n'akitonera ebirabo. 24Yasiima Makkabeewo, n'alekayo Egemonide ng'owessaza#13,24 Enkyusa endala: Yasiima Makkabeewo, n'amulekayo ng'owessaza… okuva e Putolemayi okutuuka ku nsi y'Abagerreni, 25n'agenda e Putolemayi. Ab'e Putolemayi ne banyiiga olw'endagaano eyo. Kyo kituufu baanyiiga, kubanga baatuuka n'okwagala ebyakkaanyizibwako byonna bisazibwemu. 26Lisiya n'alinnya akadaala n'alwanirira endagaano nga bw'asobola, n'abawooyawooya ne bamatira. Bwe yamala okubakkakkanya n'okuzza emitima gyabwe gy'ali, n'agenda e Antiyokiya.
Eby'okulumba kwa kabaka n'okuddayo kwe bwe bityo bwe byagenda.
VII. ENTALO ZA YUDA NE NIKANORI
Alikimo aleeta okutabulatabula
Currently Selected:
2 Bamak 13: BIBU1
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.